TOP

Omuyimbi Judith Babirye bamututte mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2017

Omuyimbi Judith Babirye bamututte mu kkooti

Ba1 703x422

Omuyimbi Judith Babirye

OMUYIMBI Judith Babirye bamututte mu kkooti nga bamuvunaana okutunda ettaka emirundi ebiri. Ettaka lino lisangibwa Bwebajja ku luguudo lw’e Ntebe.

Yasooka kuliguza Joseph Ojok ku bukadde bw’ensimbi 220, kyokka n’asooka asasulako obukadde 100. Ezaasigalayo baalagaana azisasule oluvannyuma lw’emyezi esatu. Kyokka Ojok agamba nti ebbanga lino lyali terinnaggwaako, Babirye ate n’afuna omuguzi omulala n’amuguza ettaka lino.

Ojok bwe yatabuka, Babirye n’amwetondera era n’amusuubiza nti waakumuddiza ssente ze kyokka Ojok agamba nti bukya Babirye yeeyama okuzza ssente zino, takikolanga nga kati kitutte emyaka ebiri ng’abanja.

Ojok yavudde mu mbeera n’atwala omusango mu kkooti ng’ayita mu bannamateekabe aba R. Kasirye & Partners Advocates. Mu mpaaba ye Ojok ayagala Babirye amuddize mu bwangu ensimbi ze obukadde 100, ateekemu amagoba ga bukadde 40, kuno ayongereko obukadde 20 olw’ebyo byonna byafi iriziddwa okumala ekiseera kino kyonna.

Okusinziira ku ndagasano Bukedde gye yafunyeeko kkopi, enjuyi zombi zakkiriziganya nti ssente zino zaalina okumalibwayo olwo Babirye alyoke asse omukono ku biwandiiko okukyusa obwannannyini bw’ettaka. Wabula bakkiriziganya nti ettaka lino tekuteekeddwa kubaako muntu yenna alikaayanira nti era singa wavaayo omuntu n’akaayana nga Babirye amaze okusasulwa, ateekeddwa okuzza ssente zonna ezimusasuddwaako addizeemu n’amagoba.

Babirye bwe yaddamu okutunda ettaka lino omulundi ogwokubiri, Ojok yamutuukirira n’amusaba amuddize ssente ze ze yali yaakamuwaako era Babirye ne yeeyama okuzizza kyokka teyakikola. Ojok yagenda mu bannamateeka be abaawandiikira Babirye ebbaluwa nga June 22, 2017 nga bamujjukiza ebbanja kyokka teyaddamu ekiwalirizza Ojok ensonga okuzitwala mu kkooti. Kyokka Babirye bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yazeegaanyi n’agamba nti ettaka eryogerwako talina kyalimanyiko.

Yagambye nti okuva lwe yafuuka omubaka wa palamenti bingi ebimwogeddwaako okumwonoona naye kati yabyesonyiwa boogere buli kye baagala. Ettaka lino erikaayanirwa lisangibwa ku bbulooka 383, poloti nnamba 9660, e Kitende Kawotto ng’okyamira Bwebajja. Omusango gwakwasiddwa omulamuzi Anna Mugenyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...