TOP

Kabushenga akyalidde omulongo ow’emyaka 108

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2017

Kabushenga akyalidde omulongo ow’emyaka 108

Kab2 703x422

KKAMPUNI ya Vision Group ekyalidde omulongo eyasinze banne emyaka mu kivvulu ky’abalongo ekyabaddewo ku Ssande e Lugogo. Nnaalongo Aidah Nakato, 108 nga mutuuze w’e Kyebando - Nsooba y’omu ku baacamudde abantu e Lugogo olw’essanyu lye yalaze ng’alabye ku balongo banne.

Akulira kkampuni ya Vision Group, Robert Kabushenga ng’ali wamu n’omukuhhaanya w’akatabo ka TOTO akafulumira mu lupapula lwa New Vision, Jovita Ajuna wamu ne Penlope Nankunda baakyalidde omukadde ono n’alaga essanyu olw’okulaba ku bakozi ba Vision Group mu maka ge.

Nakato yannyonnyodde Kabushenga ebimu ku bimukwatako era n’ategeeza nti yazaalibwa mu 1909 ku kyalo Kitemu mu ggombolola ye Namutamba mu disitulikiti ye Mityana.

Yeebazizza Kabushenga ne Vision Group olw’okutegeka ekivvulu ky’abalongo ekikyasinze okukuhhaanya abalongo abangi era n’asaba enteekateeka eno egende mu maaso kubanga eyunga abalongo, Bassaalongo ne Bannaalongo.

Nakato yazaalibwa omugenzi Paul Katwe ne Erina Nanyonga ng’ono yali azaalibwa mu disitulikiti ye Luweero. Nakato yazaala abaana 17 mu musajja omu Katonda gwe yamuwa wabula agamba nti teyeeyagalidde mu bulamu olw’okubulwa omukwano gwe n’abaana.

“Nnasooka ne nzaala abaana 6 ne baze George Mukasa oluvannyuma n’ankuba empeta mu kkanisa ya Namutamba Catholic Church era kuno kwe nnayongera abaana 11 wabula nga bano bonna tewakyali n’omu mulamu.” Nakato bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti abalongo be Wasswa ne Kato battibwa emirambo gyabwe ne gisuulibwa mu kibira e Matte mu Mityana wabula teyamanya baamutta.

Bano baali baakafa ate abaana be abalala ne babatikka ku bimotoka bya “ppandaggaali” nga bano bonna battibwa. Nakato era yategeezezza nti bba yalwana mu Ssematalo era n’akomawo ng’omuzira, wabula waayitawo ekiseera kitono n’afa.

Nakato yategeezezza nti akaddiye naye akyalina amaanyi nga n’amaaso galaba bulungi n’ategeeza nti okusinza Katonda ssaako okulya enkenene, entuntunu n’ebitaffeeri mu biseera bye eby’ekivubuka bye bimu ku bimuyambye okuwangaala.

Kabushenga yakwasizza omukadde ono ebirabo omwabadde ssabbuuni, butto, ebizigo n’ebirala bingi. Kabushenga yasiimye omukadde okuba ow’amazima mu by’ayogera kuba ebintu byonna bye yayogedde biraga emyaka emituufu gy’ayogera.

Yasabye abooluganda lwa Nakato okumukuuma obulungi kuba ebyafaayo by’alina bingi ebiyinza okuyigiriza abo bonna abataaliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...