TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde abba ‘number plate’ z’emmotoka e Nabweru akwatiddwa

Abadde abba ‘number plate’ z’emmotoka e Nabweru akwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2017

Abadde abba ‘number plate’ z’emmotoka e Nabweru akwatiddwa

Hu1 703x422

Jiboni ng’aggyayo ‘number plate’ gy’azikweka.

OMUVUBUKA aludde nga yeerimbika mu mulimu gw’obuzimbi oluvannyuma n’abba abamuwadde emirimu poliisi emukwatidde mu kibinja ky’abamenyi b’amateeka.

Poliisi eyakedde okukola ekikwekweto ky’okufuuza abamenyi b’amateeka e Nabweru n’emiriraano yakutte abavubuka abawerako nga muno mwe yakwatidde ne Sam Jiboni aludde nga yeefuula omuzimbi kyokka oluvannyuma n’adda w’abadde akolera n’abba ebintu by’omu nnyumba n’ebirala.

Ono okukwatibwa kyaddiridde poliisi okukola ekikwekweto okufuuza abamenyi b’amateeka abaludde nga bakaabya abatuuze be Nabweru nga babbibwako ebintu omuli pikipiki, ‘numbwe plate’ z’emmotoka, ebintu by’omu nju ng’ababibbye babasuulira obupapula obubalabula obutabalondoola .

Bano beekubira enduulu ku poliisi n’etandika omuyiggo okukkakkana ng’abavubuka abawera bayooleddwa. Jiboni yategeezezza nti yava Mbale n’ajja mu Kampala okweyiiya kyokka embeera y’emirimu n’emukaluubiriza olwa KCCA okugobaganya abatembeeyi.

Yakkirizza bw’aludde ng’anyaga abatuuze era n’atwala poliisi mu bifo eby’enjawulo gy’akweka ebintu bye babbye omuli ebiyumba ebitannaggwa, ebifulukwa, kaabuyonjo enkadde n’awalala. Jiboni yakwatiddwa ne ‘number plate’ z’emmotoka, essimu, n’ebikozesebwa mu nnyumba.

Akulira okunoonyerezza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Nabweru, D/ ASP Maniragaba yakakasizza okukwatibwa kw’omuzimbi ono era n’ategeeza nti omuwawaabirwa waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe ogw’obubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko