TOP

Okusika omuguwa ku mmaali ya Ssebaana kutandise

By Musasi wa Bukedde

Added 25th August 2017

Okusika omuguwa ku mmaali ya Ssebaana kutandise

Seb2 703x422

Ssebaana

AKAGULUMBO ku byobugagga by’omugenzi John Ssebaana Kizito katandise oluvannyuma lw’ekizimbe ekimu okutundibwa mu ngeri eyeewuunyisizza abamu ku ba famire.

Akakuubagano keeyongedde abamu ku ba famire bwe baakitegedde nti ng’oggyeeko ekizimbe ekyatundiddwa, ate n’ebimu ku byobugagga okuli n’ekifo kya Ssebo Green baabitaddeko babbulooka babinoonyeze abaguzi.

Mutabani wa Ssebaana omu yekka gwe yaleka, Joseph Kizito babbulooka abanoonya abaguzi bagamba nti ye yabawadde obuyinza okunoonya abaguzi nga tannasitula kuddayo mu Amerika.

EKIZIMBE E KANSANGA BAKITUNZE

Babbulooka abanoonyeza ebizimbe ebirala akatale era be bamu abaamalirizza ddiiru mwe baatundidde ekimu ku bizimbe bya Ssebaana ekiri e Kansanga.

Baakiguzizza omusuubuzi w’omu Kampala Lozio Ndugu eyakazibwako erya Toyota. Ekizimbe ekyatundiddwa kisangibwa mu Kiwafu zooni B e Kansanga mu Kampala. Kino omugenzi Ssebaana kye yafa asembyeyo okugula.

Yali yakigula mu March 2016 okuva ku musuubuzi Fred Kasisiiri omutuuze w’e Kansanga. Ssebaana yakigula obukadde 600. Yasasula obukadde 550 n’asigala ng’abanjibwayo obukadde 50 era kigambibwa nti abaakitunze beesigamye ku bbanja lino ne bassaawo babbulooka abaafunye Toyota n’akigula.

Ensonda mu famire zaategeezezza nti ekimu ku byayambye abaatunze, kwe kuba ng’ebyapa bibadde tebinnakyusibwa kudda mu mannya ga Ssebaana; nga kuliko ndagaano za bannamateeka ezikakasa okugula era ng’okukyusa ebyapa kulindiridde kumalayo bukadde 50 ezibadde zibanjibwa.

 

Bukedde bwe yatuukiridde Kasisiiri, yategeezezza nti Joseph Kizito mutabani wa Ssebaana ye yalagidde ekizimbe kitundibwe ng’agamba nti ssente obukadde 50 ezimalayo ebbanja teziriiwo.

Ekizimbe kyatundiddwa obukadde 450 wadde nga Ssebaana yakigula 600. Bwe kyamaze okutundibwa, Kasisiiri n’asasulwa obukadde 50 z’abadde akyabanja. Kasisiiri yagambye nti: Sirina kye mmanjibwa era nange sibanja.

Ebyapa byonna nabibawadde ne tukolaganira wamu okukyusa amannya ku byapa ne bidda mu g’omuguzi gwe baafunye. Wabula abamu ku ba famire baategeezezza nti Joseph Kizito okusalawo okutunda yamaze kutuukirirwa bantu abaamumatizza nti kitaawe bwe yali agula ekifo ekyo, waliwo abaamukozesa ensobi ne baduumuula ebbeeyi nga banoonya okufuna ‘enjawulo.’ Ndugga eyaguze ekizimbe kino yatandise dda n’okukiddaabiriza ssaako okukizimbako waggulu.

Muto wa Ssebaana ayitibwa Polof. Phares Mutibwa yagambye nti ye talina ky’amanyi ku kutunda kizimbe kino kubanga entegeka ze bakolako kati za kwabya lumbe n’okutereeza ebintu byonna bwe binaatambuzibwa. “Simanyi ku bya bizimbe okuggyako entegeka z’okwabya olumbe ezitandise okukolebwa.

Naye ebiwandiiko byakyuse ddi?” Polof. Mutibwa bwe yeebuuzizza nga Bukedde emutuukiridde. Yeebuuzizza n’ebiwandiiko ebiwa omuntu obuyinza okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi bwe byakoleddwaako era n’awunzika ng’agamba nti, “Mumbuulira bipya, naye kambuuze ntegeere ebiriwo…” Babbulooka abagenda mu maaso n’okulambuza ekizimbe kya SSEBO GREEN ekisangibwa e Muyenga nti bakiramula obukadde bwa ddoola bubiri (2,000,000 obwa doola) mu za Uganda obuwumbi obusukka mu musanvu.

Bagamba nti kitudde ku yiika z’ettaka taano era bagamba nti Joseph Kizito nakyo ye yabalagidde okukinoonyeza omuguzi. Ssebaana we yafiiridde omwezi oguwedde (July 3, 2017) ng’ekizimbe kino kipangisibwa abasuubuzi okuva mu Eritrea mu nkola ya liizi.

Yali yabawa liizi ya myaka 20 wabula aba famire baagambye nti ginaatera okuggwaako. Joseph Kizito bwe yamaze okukwasibwa ekitiibwa ky’Amafumu n’Engabo (ku lwa kitaawe Ssebaana) mu Lukiiko e Mmengo ku Mmande n’addayo mu Washington DC mu Amerika gy’akolera emirimu gya Bbanka y’ensi yonna era teyafunise kunnyonnyola ku bigenda mu maaso.

OLUMBE BALWABYA NOVEMBER

Owa famire era Katikkiro mu kika ky’Emmamba Kakoboza, Joseph Ssebalamu Nsubuga yatuuzizza olukiiko olwasoose ku Ssande mu maka ge agasangibwa e Namungoona okuteesa ku by’olumbe lwa Ssebaana. Yategeezezza nti bakyakola ntegeka kyokka byonna bwe binaaba bitambudde bulungi basuubira lugenda kwabizibwa mu November w’omwaka guno.

Yagasseeko nti: Twalonze olukiiko n’okukkiriziganya okutambuza olumbe mu ofiisi ez’enjawulo ezikwatibwako era tugenda kulutuusa n’ewa Kabaka.

Olukiiko olwasoose kigambibwa nti lwabaddemu ne jjajja Nankere ssaako abakulu mu kika ky’Emmamba Kakoboza okuli Denis Frank Guweddeko, Kanoonya Mutibwa n’abalala abaaweze 50. Kyokka Joseph Kizito wadde yabadde tannaddayo mu Amerika, olukiiko luno teyalubaddemu.

Abaana abalala okuli Lucy Nassuuna Kizito, Joyce Nankya Kizito, Jennifer Namuyanja Kizito ne Christine Nakyana Kizito nabo baddayo dda e Bungereza gye babeera ne nnyaabwe Christine Namiiro Kizito.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi