TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obujulizi bwongedde okweyoleka mumusango gwa Judith Babirye

Obujulizi bwongedde okweyoleka mumusango gwa Judith Babirye

By Musasi wa Bukedde

Added 25th August 2017

Obujulizi bwongedde okweyoleka mumusango gwa Judith Babirye

Ju2 703x422

Judith Babirye

JUDITH Babirye bongedde okumuteeka mu kattu ku musango gw’okutunda ettaka emirundi ebiri gwe baamugguddeko. Babirye omuyimbi era omubaka wa Buikwe mu Palamenti, attunka ne Joseph Ojok ku by’ettaka eriri ku Block 383 ku poloti 9660 e Kawotto Kitende mu Wakiso.

Ojok ng’ayambibwako Godwin Tashobya, yagenze mu kkooti ng’ayagala Babirye amuddize ensimbi ze obukadde 100 ze yamuwa ng’amuguza ettaka eryo, kw’ossa obukadde 20 ezisaasaanyiziddwa ku musango n’amagoba ga bukadde 40 ku bbanga ly’amaze ng’akozesa obukadde 100 ezaamusasulwa.

Oluvannyuma lwa Babirye okutegeeza Bukedde nti talina ky’amanyi ku bya ttaka lino eryogerwako, Ssentebe w’ekyalo Kitende B, David Ndugga yagambye nti bazze bafuna obuzibu obw’enjawulo ku ttaka eryo nti era olumu baamutwalira n’ensonga mu ofiisi ye nga beemulugunya ku muvubuka Babirye gwe yali atadde ku ttaka eryo okulikuuma, wabula ng’asula mu kifulukwa ekyeraliikiriza ennyo abantu nga bamuteebereza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Ndugga yavumiridde abagagga abagula ettaka nga beeyambisa ofiisi za balooya ne batafaayo kwebuuza ku bakulembeze ba kitundu era bagenda okutegeera ensonga, ng’enkaayana zimaze kubalukawo. Ettaka lino liriko ennyumba etannamalirizibwa wabula Ojok agamba nti yazimbibwako muntu mulala, ng’ono y’agambibwa nti Babirye gwe yaguza ku mulundi ogwokubiri.

Ennyumba eno eri mu Canan Estate era Ojok agamba nti bakkaanya obukadde 220 wabula n'amusasulako 100 nga March 31, 2015 kyokka Babirye mu kiseera kye kimu n’aguzaawo omuntu omulala. Abalala baategeezezza nti Babirye bwe yalaba ekiseera kye yawa Ojok kiweddeko, kwe kusalawo aguze omuntu omulala.

Ndugga yategeezezza nti bwe baamuloopera akayumba ak’obulabe yabuuza nnannyini nnyumba eyo ne bamugamba nti ya Judith Babirye era abadde amulinda lw’alijja amweyanjulire ate yazzeemu kuwulira nti Babirye bamututte mu kkooti.

Yawabudde nti ebyo byonna osanga tebyandibaddewo ssinga abaagulanga ettaka beeyanjulanga. Ssentebe wa Kajjansi Town Council, Patrick Nelson Byekwaso naye ategeezezza nti yawulidde kipya nti Judith Babirye yagula ettaka mu Kitende, n’asaba abantu abagula okwongera okukozesa LC okwewala okubabba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....