TOP
  • Home
  • Agawano
  • " Baze asibiddwa mayisa ani anaatulabirira!"

" Baze asibiddwa mayisa ani anaatulabirira!"

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

ABA famire ya Sheikh Siraje Kawooya eyasibiddwa amayisa ekyasobeddwa eky’okukola oluvannyuma lw’abantu omuntu waabwe be yali yasibwa nabo okuteebwa ye n’asingisibwa omusango.

Pampa 703x422

Amaka ga Sheikh Kawooya ( mu katono) agali e Luteete. Mu katono waggulu ye Aisha Kawooya

Sheikh Kawooya yasibiddwa n’abalala bataano okuli Sheikh Yunus Kamoga eyali akulira Abatabbuliiki mu ggwanga, Murta Mudde Bukenya, Abdul Hamid Ssematimba ne Yusufu Kakande, Fahad Kalungi.

Abalamuzi ba kkooti ya ‘International Crimes Division’ basatu okuli Ezekiel Muhanguzi, Jane Kiggundu ne Percy Tumuhaise ku Lwokubiri baasalidde Kawooya, Kamoga, Bukenya ne Fahad Kalungi ekibonerezo kyakusibwa mayisa ate Ssekayanja ne Kakande ne babasiba emyaka 30.

Aida Kawooya muka Sheikh Kawooya bwe yabadde ayogeramu ne Bukedde nga kkooti tennasalira bba kibonerezo ku Lwokubiri yategeezezza nti, okuva bba lwe yakwatibwa, embeera gye bayitamu mbi nnyo.

Yagambye nti, abaana baabaggya mu masomero ge baalimu olw’ebbula lya ssente ne babateeka mu masomero aga ssente entonotono ze basobola ekintu ekikosezza ennyo okusoma kwabwe.

Okuva Abasiraamu bano lwe baakwatibwa nga bavunaanibwa emisango gy’okutta Sheikh Mustapha Bahiga gwe baakubira amasasi ku muzikiti ku lw’e Ntebe, Sheikh Hassan Kirya gwe battira ku ttaawo e Bweyogerere, okutiisatiisa okutta Sheikh Haruna Jjemba n’ogw’obutujju, Abasiraamu mu mizikiti ogwa Nakasero ne William babadde beesondamu ssente okulabirira famire zaabwe.

Muka Kawooya yagambye nti, bizinensi bba gye yaleka egenda esaanawo mpolampola kubanga nnyini yo taliiwo n’agamba nti baliwo lwa kisa ky’Abasiraamu bannaabwe ababalumirirwa.

Ono yagenze ku kkooti ng’alina essuubi nti osanga bba banaamuwa ekibonerezo ekisaamusaamu atere adde eka alabirire famire ye omukyala gye yayogeddeko nti nnene nnyo wabula tekyasobose.

Kawooya yakwatibwa ne mukyala we okuva mu maka ge e Luteete ku lw’e Gayaza mu December wa 2014 era ebbanga lino abadde Luzira okutuusa lwe baamusalidde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

dith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...