TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Omuzungu eyatta Abaddugavu bamuwanise ku kalabba mu Amerika

Omuzungu eyatta Abaddugavu bamuwanise ku kalabba mu Amerika

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

OMUZUNGU e Florida mu Amerika bamuwanise ku kalabba lwa kutta Abaddugavu.

4382884c000005780imagem1041503549045089 703x422

Mark Asay eyakubiddwa empiso y'obutwa n'afa

Mark Asay 53 baamukubye empiso z’obutwa ssatu n’afa ng’alaajana, waayiseewo eddakiika 22 ne balangirira nti afudde.

Emisango gy’obutemu gyamukka mu vvi mu 1987, oluvannyuma lw’okutta abasajja babiri okwali Robert Booker ne Robert McDowell.

Amaze emyaka 30 ng’ali mu kkomera alindiridde okutugumbulwa.

EBYABADDEWO NG’ATTIBWA

Ku lunaku Lwokuna lwe baamusse, Mark Asay yakedde okusingako nga bulijjo, abaserikale b’amakomera ne bamutegeeza nti essaawa mulindwa mu bulamu bwe yabadde etuuse.

Baamutuuzizza mu kasenge ne bamunnyonnyola engeri gye yabadde agenda okuttibwamu ng’akubwa empiso ey’obutwa.

Ebyo bwe byawedde, ne basooka bamuwa amakerenda agakkakkanya ebirowoozo n’agamira.

Yasabye okunaabako bulungi, olwo ne bamubuuza ky’ayagala okulya ekisembayo mu bulamu bwe ku nsi nga tannafa.

Yasabye aweebwe ennyama y’embizzi ensiike, Ice cream, sooda, enva endiirwa, byonna ne babimutegekera bulungi n’abirya ng’alabika awoomerwa.

Olwamaze ekijjulo kino, ne bamubuuza oba aliko ekisembayo ky’ayagala okwogera n’agaana era n’abuuzibwa oba yabadde mwetegefu okufa n’akkiriza nti ekyo kituufu.

Wabula yakkiriziddwa okusinsinkana abooluganda lwe okwabadde mwannyina ne mulamu we n’ayogera nabo, wamu ne munnaddiini we, olwamaze bino abaserikale ne bamulagira agende mu kasenge mwe yabadde aw’okuttirwa.

Mu kasenge kano mwakkiriziddwaamu ab’ehhenda z’abagenzi be yatta, bannamawulire era omusibe bwe yatuusiddwaamu, ne bamulagira okulinnya akatanda wakati mu bukuumi obw’ekitalo.

Yakagalamiddeko bugazi olwo abaserikale ne bamusibirako enkoba ne bamunyweza.

Omusawo yasoose kumukuba mpiso emusannyalaza, olwo n’atabula eddagala eddala lya bika bibiri ery’abaddemu obutwa n’alimukuba. Yamaze eddakiika 20 n’akutuka.

Eddagala lino gwe gwabadde omulundi ogusooka okukozesebwa era omukugu yategeezezza nti bwe balikuba omuntu lirumba mutima ne gusirika.

Wiiki ewedde, bannamawulire baagenze mu kkomera ne boogerako ne Asay n’abategeeza nti mu butuufu yali tagenderedde kutta basajja ono omuddugavu naye bwali busungu olw’okumubbako ssente ze doola za Amerika 10.

Asay yatta omusajja ono omulambo gwe n’agusuula mu nnyumba eyali tekyasulamu muntu era obumu ku bujulizi bwe beeyambisa mu kkooti, bye bifaananyi ebyakwata mmotoka ya Asay ebyali biraga ng’eva mu kifo awaasangibwa omulambo.

Asay yayongera okunnyonnyola nti ye si musosoze wa mu langi nga bwe kyamuteekebwako kubanga ebbanga ddene abadde akolagana n’abantu bangi abatali Bazungu era n’ono omuddugavu eyavuddeko okumuwanika ku kalabba yali mukwano gwe naye n’ajja ng’amubbangako ssente ekyamunyiiza n’amukuba amasasi agaamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...