TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababadde bazze okusengula abantu omu akubiddwa n'afiirawo

Ababadde bazze okusengula abantu omu akubiddwa n'afiirawo

By Paddy Bukenya

Added 26th August 2017

Ababadde bazze okusengula abantu omu akubiddwa n'afiirawo

Nu1 703x422

ABATUUZE bavudde mu mbeera ne batemaatema bakanyama omugagga baapangisizza okubasengula ne battako omu 17 ne baddusibwa mu ddwaliro nga bayiika musaayi.

Attiddwa ye Patrick Birimuye 25 omutuuze we Bwaise mu Kawempe nga kigambibwa okuba nga babadde bapangisiddwa omugagga ategerekeseeko erya Kahigyi bamuyambe bamusengulire abatuuze abasoba mu 300 abaasenga Ku ttaka erikayanirwa Ku kyalo kye Kammengo mu Gombolola ye Maddu mu Gomba ne bakubagana okukakkana nga omu bamusse abalala ne badduka.

Okusinziira kubabaddewo bategeezezza nti ba kanyama bajjidde mu takisi satu nga zikubyeko abavubuka b'emiggo ne batandika okulwanagana okukakkana nga batemaganye amajambiya omu n'afiirawo.  

Poliisi ye Gomba nga ekulembeddwamu DPC John Osese ekutteko abatuuze 14 ne baggalira n'abalumiziddwa n'ebaddusa mu ddwaliro lye Maddu gye bakyajjanjabirwa.  

Abatuuze bano abasoba mu 300 baava mu Disitulikiti ye Kyankwanzi Gavumenti gye yabasengula ne baliyirira  ne bagula ettaka lino eribaddeko enkaayana zino ezivuddemu okutemagana amajambiya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Han1 220x290

Minisita w'ebyemizannyo omuggya...

Minisita w'ebyemizannyo omuggya Hanson Denis Obua asiimye omulimu ogukoleddwa Omugagga Ham ogw'okuzimba ekisaawe...

Bbomu3 220x290

Omuyeekera aweddeyo eby'okulwanyisa...

AGAMBIBWA okubeera omuyekera w’akabinja ka M23 eyayingira mu ggwanga nga yefudde abundabunda ne yewaayo mu mikono...

Poliisi yeezoobye n'aba Bodaboda...

POLIISI ekubye omukka ogubalagala mu bavuzi ba bodaboda mu Kampala okubagumbulula bwe babadde bagezaako okulaga...

Yasanze malaalo ng’atutte ebya...

EYASIBA sumbuusa nga tayogera na mwagalwa we baakamutemye atutte kimuli kya Valentine nti oli yafa dda!

Chrisevans 220x290

Chris Evans agaanyi okuddamu okuyimba...

NGA Chris Evans tannasimbula kugenda Masaka mu kivvulu kya Rema Namakula ekyabadde ku Maria Flo, maneja wa Rema,...