TOP

Abasobya ku baana abato mubalaawe - Maama Fiina

By Joseph Mutebi

Added 26th August 2017

OMUKYALA alumirizza bba okutulugunya muwala we n’okumusobyako n’ekigendererwa ky’okufuna obugagga n’etuttumu mu kuyimba.

Sembera 703x422

Maama Fiina (wakati) ng’akwasa omwana obukadde 2 obw’okumujjanjaba.

Zaina Lari 23, amaze emyaka ena ne bba Charles Miru 38, ab’e Wanyange mu Busoga gye badduka nga poliisi abanoonya ne beekweka e Sseguku ku lw’e Ntebe gye baabakwatidde.

Miru muyimbi eyeeyita ‘Mr Perfect’ ye yakwatiddwa poliisi y’e Lubowa n’emuggulako emisango ebiri: okusobya ku muwala we n’okumutulugunya n’amutuusaako ebisago nga guli ku fayiro nnamba SD/09/20/08/2017.

Omwana gw’abadde asobyako w’amyaka etaano nga kigambibwa nti akikoledde omwaka mulamba.

Zaina yagambye nti, kituufu omusajja abadde abonyabonya omwana we ng’amukuba, amwokya ku sigiri n’okumutuusaako ebisago ku mubiri gwonna era kirabika abadde ayagala kumutta.

“Omusajja ono mumaze, era bwe mpona ekkomera nzira waffe kasita n’akamuzaalamu omwana omu yekka.

Omwana wange muwala siyinza kumumulekera naye ayinza okumusobyako”, Zaina bwe yategeezezza ku poliisi y’e Lubowa.

Miru yagambye nti kituufu muwala we abadde asula naye ku buliri okumala omwaka mulamba buli nnyina omuto lw’abadde tasula waka wabula nga tamusobyako wadde omwana amulumiriza nti amaze ebbanga ng’amusobyako.

Yagambye nti omusawo w’ekinnansi ye yamuwubisa n’amuwa eddagala ly’empeke ly’abade amuwa buli lunaku okumutangira okufa siriimu eyamukwata wadde abasawo baakizudde ng’omwana tamulina.

Wabula Samuel James Kibanga, akulira ekitongole ekirabirira abaana abataliiko mwasirizi ekya “Fruit of Charity Foundation’’ e Sseguku yagambye nti Badeya baamututte ku ddwaaliro lya “Mild May’ ku lw’e Ntebe ne bamukebeera nga talina siriimu wabula yavunda mu lubuto oluvannyuma lw’omusaayi okukwata.

Sofia Namutebi (Maama Fiina) yabawadde ssente z’okujjanjaba omwana ono okutuusa ng’awonye n’okumugulira buli ky’ayagala era n’abasaba nti bw’abeera awonye ajja kumulabirira n’okumusomesa.

Yasabye Gavumenti okwongera amaanyi mu kukangavvula basedduvutto oba okubalaawa kiyambe omuze guno okukendeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina...

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe

Hit2 220x290

Maama tonzita ebbinika nagiryamu...

Maama tonzita ebbinika nagiryamu ekikomando

Enseenene: Omugano gwa November...

AKEETALO akali mu Kampala n’emiraano kati ka nsenene. Enseenene kye kimu ku by’okulya ebisinga okuwoomera Bannayuganda...

Mbarakuzi 220x290

'Abeenyigira mu ttemu mwekube mu...

Yagambye nti abeenyigira mu kutta abalala bakimanye nti Katonda ajja kubasasula nga bwe yakola ku Kaine eyatta...

Nana 220x290

Xhaka yeenyiyiddwa Arsenal: Agenda...

GRANIT Xhaka, eyaggyiddwaako obwakapiteeni bwa Arsenal olw’okuwemula abawagizi ayolekedde AC Milan eya Yitale....