Desire agamba omuwala ow’emyaka 25 abeera akyali mbooko nga n’abasajja bamuyaayanira nga naye bw’ali era emyaka gino giggyayo ffi ga ye, endabika ye, obulungi n’okubeera n’akasusu akaweweevu.
Desire eyayingiddewo mu sswagga ng’akuumibwa bakanyama bana (4) yagasseeko nti abo abamulumba nti asala emyaka bamulinako nnugu naye tabafaako.
OMUGAGGA LWASA AYOGEDDE KU NKOLAGANA YE NE DESIRE
Ku kabaga kano akaabadde ku Space Lounge, omugagga Emmanuel Lwasa yatudde okuliraana Desire(Birthday girl) nga ye Lwasa abantu obwedda bamuyita ‘Birthday boy’ abalala nti ‘Uncle Desire’.
Yalabye ebigambo bimuyitiriddeko kwe kutegeeza nti Desire mukwano gwe n’abayimbi abalala, eky’enjawulo nti yamuwa n’omulimu okutumbula ebbaala ye Club Tavern Kick e Masaka.
MODDO SSEMPAKA ALAZE OMULENZI WE
Debby Ssempaka moddo era omu ku bawala abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala ng’ono mu kiseera kino nnakawere yasinzidde ku kabaga kano okulaga mu butongole bba omugagga omuto Abraham Luzzi amanyiddwa nga Mr. Economy eri abantu abaludde nga bamubuuza omusajja amubiita era bano gwe mulundi gwabwe ogusoose okulabikako bombi mu lujjudde mu kifo ekisanyukirwamu.