TOP

Biibino Kamoga bye yeesigamyeko okujulira

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

SHEIKH Yunus Kamoga yataddeyo dda ebiwandiiko ebitegeeza kkooti ejulirwamu nga bw’atali mumattivu ku byasaliddwaawo era ebetegeke okuwulira okujulira kwe.

Kamogaconvicted109 703x422

Sheikh Kamoga ng'alinnya bbaasi okuzzibwa mu kkomera e Luzira

BYA ALICE NAMUTEBI

Kamoga, muganda we Murta Mudde Bukenya, Siraje Kawooya ne Fahad Kalungi kkooti emanyiddwa nga International Crimes Division yabasingisa omusango gw’obutujju era abalamuzi basatu ne babasiba obulamu bwabwe bwonna.

Abalamuzi bagamba nti engeri gye baali abakulembeze mu ddiini, bwali buvunaanyizibwa bwabwe okusomesa abantu obumu n’okusonyiwagana naye bo baasomesanga bukyayi bwe baakubanga enkuhhaana ne boogerera bannaabwe amafuukuule n’okubalaga ng’abalabe b’Obusiraamu abalina okufa, ne bakola enkalala zaabo be baali tebakkiriziganya nabo ekyaviirako Sheikh Mustapha Bahiga ne Hassan Kirya okuttibwa.

Ye Yusuf Kakande ne Abdul Salam Sekayanja baasibwa emyaka 30 kuba tebaali bakulembeze (Sheikh), bwe batyo nga bagendera ku bigambo bya Kamoga ne banne. Kamoga okutegeeza kkooti nti bagenda kujulira, bayise mu looya waabwe Fred Muwema.

ENSONGA KWE BEESIGAMYE

Ekibonerezo ky’okusibwa amayisa kye kikyasinze obunene mu bibonerezo byonna era nga kino kiweebwa omuntu eyazza omusango mu ngeri etetera kusangibwa nga bwe kyali ku batujju abaatega bbomu e Lugogo ne Kabalagala ne batta abantu abasoba mu 70 abaasibwa amayisa.

Ku Kamoga, engeri kkooti gye yabasingisizzaamu omusango gw’obutujju yagendedde ku bikolwa byabwe omuli ebigambo bye baayogera nti basobola okutta nga bino baabyogerera mu nkuhhaana ne mu mizikiti.

Bagamba nti okwogera obwogezi naye ne batakola kikolwa kya butemu tekiweesa muntu kibonerezo kya kusibwa bulamu bwe bwonna.

Abalamuzi baakuba ebituli mu bujulizi obw’ali babalumirizza nti be batta Sheikh Mustapha Bahiga ne Hassan Kirya ne bagamba nti bwali tebukwatagana era ne babejjeereza omusango gw’obutemu kyokka abalamuzi ne bakozesa obujulizi bwe bumu (bwe baali bakubyemu ebituli) ne babasingisa omusango gw’obutujju!

Bagamba nti enkola eno abalamuzi gye bakozesa ey’okweyambisa obujulizi bwe baali bamaze okubamu ebituli okubasingisa omusango nkyamu.

Balumiriza abalamuzi Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggundu omusango gwabwe okubalema.

Bagamba nti obujulizi n’omusango byabayitirirako obunene ne bateekamu kyekubiira n’okugendera ku bigambo ekyabaviirako okubasingisa omusango gw’obutujju mu bukyamu.

Wadde Kamoga yajulidde, emiziziko mingi egiyinza okulemesa kkooti eno okuwulira okujulira kwe mu bwangu.

Mu kiseera kino, kkooti ekyawulira kujulira kw’emisango gy’okulonda era mu mateeka agafuga kkooti eno, bwe wabaawo emisango gy’okulonda, gy’esooka okumala nga tennakwata ku misango mirala.

Kkooti ejulirwamu erina abalamuzi 10 bokka mu kiseera kino naye nga ku bano Richard Buteera ne Egonda Ntende balondeddwa okugenda mu kkooti ey’oku ntikko ekitegeeza nti tebasobola kuwulira kujulira kwa Kamoga.

Catherine Bamugemereire akyanoonyereza ku mivuyo gy’etakka ate Steven Kavuma ne Remmy Kasule banaatera okuwummula.

Kino kitegeeza nti kkooti ebeera esigazzaawo abalamuzi 5 bokka kyokka ng’okuwulira okujulira balina kutuula abalamuzi 3 ekintu ekiyinza okutwala ekiseera ekiwanvu okuteekateeka.

Waliwo bangi abaasooka Kamoga okujulira naye kkooti tetuulanga kuwulira kujulira kwabwe.

Okugeza, Jackline Uwera Nsenga eyasibwa emyaka 20 olw’okutomera bba n’amutta okujulira kwe kwateekebwayo mu 2014, okw’abatta Kasiwukira okwateekebwayo mu 2016 n’okujulira ku misango emirala mingi okwateekebwayo n’okutuusa kati tegiwulirwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA