TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Munnyingize poliisi mbayambe okukwata ababbi’

‘Munnyingize poliisi mbayambe okukwata ababbi’

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

POLIISI ekutte omuvubuka ow’omutawaana gwe balumiriza okunyoola abantu ensingo mu Kawempe n’awa abaserikale akakwakkulizo k’okumuyingiza poliisi bwe baba baagala ave mu bumenyi bw’amateeka.

Pata 703x422

Ongom ng’ali ne Kawooya eyakwatiddwa mu bubbi.

Abaserikale ku poliisi y’oku Kaleewe n’abasuubuzi abakolera mu katale ka Kizito baawuniikiridde, Brian Kawooya 18, amanyiddwa nga Tawuki bwe yagambye nti ssinga ayingira poliisi asobola okubayambako okunoonya abakyamu kuba ab’omu Kawempe bonna abamanyi.

Yabagambye nti bwe banaamusiba tebajja kufunamu kuba olunaava e Luzira, ajja kutandikira we yakoma.

Abapoliisi abakulira poliisi okuli Kanyanya, Kaleerwe, Mulago ne Bwaise bazze bamukwata ku misango gy’okukuba abantu obutayimbwa n’okunyakula amasimu kyokka buli lw’ava e Luzira addamu buto okubba.

Yanokoddeyo ababbi ab’omutawaana b’abba nabo okuli Marvin, Ashiraf, Ronald olwo bye babbye ne babitwalira Joel.

Edward Musisi ow’e Kanyanya yagambye nti, Kawooya ekimwagaza okuyingira poliisi, ayagala kufuna mmundu agende mu maaso n’omulimu gwe.

Yagasseeko nti Kawooya y’omu ku bavubuka abatigomya Bannakawempe ekiro ng’emisana avuga bodaboda y’eggaali.

Isaac Ongom atwala poliisi y’oku Kaleerwe yategeezezza nti Kawooya baludde nga bamunoonya.

Yaguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD:27/19/08/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kayihura avuddemu omwasi: 'Bankijjanya,...

OMUSASI wa Bukedde ayogedde ne Gen. Kale Kayihura ku kkoligo lye baamutaddeko obutaddamu kulinnya kigere mu Amerika...

Ssaavabugingonakiwala4 220x290

Nakiwala atadde ku Bugingo obukwakkulizo...

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atadde ku Paasita Aloysius Bugingo obukwakkulizo ku ngeri...

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...

Funanga 220x290

Abaserikale abayambye Amerika okufuna...

OBUMU ku bujulizi Abamerika bwe beesigamyeko okussa nnatti ku Gen. Kale Kayihura, baabuggye mu lipoota eyakolebwa...