TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Batabukidde omugagga ku ttaka ne bakuulayo ebikondo ne babyokya

Batabukidde omugagga ku ttaka ne bakuulayo ebikondo ne babyokya

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

ABATUUZE 85 ab’e Kabaganda mu disitulikiti y’e Wakiso beekubidde enduulu ku kibbattaka ekisituse mu kitundu kyabwe.

Ttaka1 703x422

Abatuuze nga bakuula ssehhenge Mukalazi gwe yabadde abugirizza ku ttaka ly’omutuuze. Mu katono, ye nnamukadde Hasifah Mbuubi omuggagga gwe yakoonera enju ye

Obubaka bw’okwemulugunya bwe baabadde baagala butuusibwe mu kakiiko k’omulamuzi Bamugemereire baabutisse muyambi wa Pulezidenti ku batalina mwasirizi, Resty Nakayenga Kiguli nga beemulugunya ku nnaggagga nnannyini masomero ga Hormisdallen, Mukalazi Kizito.

Baategeezezza nti osanga omulamuzi y’anaabayamba kuba abakulembeze baabwe abandibayambye tebafaako.

Okutuuka wano, kiddiridde omugagga ono okubagobaganyanga ku bibanja byabwe ng’abagamba nti y’alina ekyapa ekyalo kyonna kwe kitudde.

Baamuloopedde n’abakuumaddembe okutandikira ku poliisi y’e Kasangati nti tebabayamba nga bwe batwalayo ensonga zaabwe tebafaayo nga baziyita obusongasonga era bwe batuuza enkiiiko ne bayita ne poliisi okubawa obukuumi, tejja kyokka ate ye Mukalazi bw’ajja okusenda ennyumba zaabwe n’ebirime ajja ne poliisi n’emuwa obukuumi.

Abatuuze bano oluvannyuma lw’emyaka nga Mukalazi abatiisatiisa, waliwo ne nnamukadde Hasifah Mbuubi 86, gwe yawa wiiki emu ng’ettaka alivuddeko nga tannamutta.

Yagenda mu maaso n’akoona enju ye era n’okuuusa kati omukadde ali mu maziga.

Ate Josephine Mukiibi ne bba Abbas Mukiibi baalumirizza Mukalazi okubatiisatiisa okubabuzaawo oba okubatta ssinga tebamulekera ttaka liweza yiika ssatu.

Mu mbeera eno mwe baayitidde olukiiko, Mukalazi naye yayitiddwa kyokka n’atalabikako. Mu balala abaabaddewo ye mubaka w’ekitundu, Robert Sentamu Kyagulanyi (Kyaddondo East).

Nakayenga yennyamidde olw’engeri enguzi bw’esse n’empeereza ya poliisi.

Yagambye nti kati abantu ba wansi okugenda ku poliisi ne babawuliriza kifuukidde ddala kizibu olw’enguzi efumbekedde mu bifo bino ng’abagagga be babategeerera nga balinga be bakama baabwe?

Yagumizza abatuuze nti ensonga zino zigenda kuggwa mu mirembe era afube okutegeeza buli avunaanyizibwa era mu nnaku ntono agenda kubategeeza olukiiko olulala olunaku lwe lunaatuula.

Omubaka Kyagulanyi olwakutte akazindaalo n’ategeeza abatuuze nti abadde ali mu kkubo ajja asanze waliwo abamuteeze mu kkubo ne bagezaako okumutangira okujja mu lukiiko luno nga bamugamba nti ensonga zino mpanvu tajja kuzisobola era ne bamugamba nti Mukalazi amwetaaga asooke agende awaka amulabe.

Yayongedde okubagumya n’agamba nti abagagga bye bagamba nti omwavu tasinga musango byaliwo ku mulembe guli nga tannajja ku bukulembeze naye ensonga zino kati aziyingiddemu butereevu era agenda kutandika okuzitambulirako afube okulaba nga buli omu afuna obwenkanya nga tewali kuyiwa musaayi.

Olukiiko olwawedde abatuuze ne beekolamu omulimu ne basala sseng'enge Mukalazi gwe yabadde asiba ku ttaka lyabwe ebikondo ne babiggyayo ne babikumako omuliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA