TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwawule n’afiira mu ssabo ne wabulawo avunaanibwa!

Omwawule n’afiira mu ssabo ne wabulawo avunaanibwa!

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

EMYAKA etaano okuva eyali omusumba w’ekkanisa ya St. Phillips & Andrew emanyiddwa nga Lutikko e Mukono, Rev. Jonathan Kimera Kayiwa afiira mu ssabo mu ngeri etaategerekeka, aba famire ye baalemwa okukwatagana na buli kati n’abatemu tebaasibwayo wadde omwezi!

Manda1 703x422

Kimera ne bakyala be mu biseera byabwe eby’eddembe.

Bya Joseph Makumbi ne Eric Yiga

EMYAKA etaano okuva eyali omusumba w’ekkanisa ya St. Phillips & Andrew emanyiddwa nga Lutikko e Mukono, Rev. Jonathan Kimera Kayiwa afiira mu ssabo mu ngeri etaategerekeka, aba famire ye baalemwa okukwatagana na buli kati n’abatemu tebaasibwayo wadde omwezi!

Kimera yali mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti era yali amanyiddwa nnyo ng’omusajja omugagga olw’ebintu ebikalu omuli amayumba, ebisulo by’ababayizi ba Uganda Christian University (UCU) n’ettaka eddene bye yalina.

Enfa ya Kimera yeewuunyisa buli muntu, yabula okuva ku famire ye okumala ennaku nnya (4) bwe baagezaako okumunoonya, baasanga mulambo mu ggwanika e Mengo!

Poliisi y’e Mukono yatandika okunoonyereza ku butemu buno n’ekwata abantu basatu abagambibwa okubeera nga be beenyigira mu butemu.

Abaakwatibwa kwaliko eyali muganzi we, omusamize n’owa bodaboda eyabatwala mu ssabo ku lw’e Masaka.

Kimera yafa August 8, 2012 era okusinziira ku mwannyina Dr. Ritah Musoke, baabagamba nti yagwa mu mulyango gw’essabo ne bamuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro e Mengo kyokka tewali kituufu kyali kimututteyo kyabannyonnyolwa.

Engeri Kimera gye yabulamu

Phiona Nassolo Kimera, omu ku baana b’omugenzi yagambye nti, kitaawe yava awaka n’ekisawo kya ssente 90,000,000/- n’amutegeeza nti yali agenze Masaka kugula ttaka.

Yagambye nti, bwe yatuukayo, yamukubira ku ssimu ne boogera wabula enkeera bwe yaddamu okugikuba, omukazi gwe yali amanyiiko erya Nagawa ng’olumu bamuyita maama Saul, ye yagikwata n’amutegeeza nti kitaawe mulwadde.

Agamba yamusaba batwale emmotoka bamutwale mu ddwaaliro wabula Nagawa n’agaana.

 maka ga imera kyafuuka kifulukwa Amaka ga Kimera kyafuuka kifulukwa.

Yagasseeko nti enkeera, Peter Mukasa eyali ddereeva wa kitaawe, yagenda awaka n’amusaba engoye za kitaawe n’amugamba nga bwali omulwadde kyokka bwe yamusaba bagende bonna gy’ali, Mukasa n’agaana!

Agamba nti, mu kiro kitaawe yamuloosa n’awawamuka n’agenda n’abibuulirako omugenyi eyali akyadde n’afunamu n’ekirowoozo okugenda ewa Mukasa amubuuze kitaawe gy’ali wabula ekyamumala enviiri ku mutwe, yasanga muka Mukasa be baali baawa omuzigo awaka asibamu bintu kudduka.

Yagasseeko nti awo we baakwatira Mukasa ne bamutwala ku poliisi y’e Mukono kyokka bwe baali bamutwala, yagenda yeerogozza nga bwe yeeyogeza nti, ‘Kimera nvaako bw’oba wafa nze onjagaza ki’ era bwe baatuuka ku poliisi, yasaba essimu n’abaako omuntu omu gw’akubira n’amugamba nti, ‘Abaana ba Kimera bakambwe nnyo nze mbivuddemu!’.

 hionah assolo Phionah Nassolo

 

Ku Lwomukaaga nga wamaze okuyita ennaku nnya, baamukubira essimu okuva mu ddwaaliro e Mengo nga bamutegeeza nti waliwo omuntu gwe baali basudde mu ddwaaliro ng’atandise n’okuvunda nga bamutaddeko ennamba y’essimu ye ne bamubuuza oba ye Phiona Nassolo Kimera.

Agamba nti yagwawo ekigwo era bw’atyo n’adduka za mbwa okutuuka e Mengo gye yasanga omulambo gwa kitaawe n’ategeeza abehhanda abalala.

Oluvannyuma, agamba nti waliwo omusawo w’eknnansi gw’amanyiiko erya Male eyamukubira n’amugamba nti Nagawa yali ali mu ssabo ewuwe ayagala amuyambeko okutta omusango era bw’atyo n’afuna abaserikale ne bamukwata.

Ekiri mu famire kika

Okuva lwe baaziika, abaana n’aba famire abalala bali mu kusika muguwa ku mmaali omugenzi gye yaleka.

Mu kiraamo kya Kimera, yalonda abakuza 6 okuli; Omulabirizi wa Mukono James Williams Walusimbi Ssebagala, nnyina Elizabeth Nanyonjo, Dr Ritah Namaalwa Kibuuka, Albert Walugembe, Meera Immaculate Mary ne Dr. Diana Harriet Nabaloga Musoke okubeera abakuza n’okulabirira emmaali ye.

Hudson Robert Wampamba 23, (amanyiddwa nga Bob) omu ku bamulekwa alumiriza bassengaabe Dr. Diana Harriet Nabaloga ne Dr. Ritah Namaalwa Musoke okwekobaana ne bezza emmaali ya kitaabwe.

Yannyonnyodde embeera gy’ayitamu ey’obuzibu omuli n’okusibwa ku poliisi y’e Mukono enfunda eziwera ng’agezaako okulwanirira emmaali ya kitaawe obutatwalibwa bantu.

Phionah Nassolo naye alumiriza nti bassenga baabwe baatunda pikipiki, emmotoka kika kya Elf Bob ne bamuwaako 5,000,000/- zokka ne poloti mu maaso ga ofiisi za ‘Works’ e Mukono ssente ne babagamba nti baazikozesa mu kusasula amabanja g’olumbe!

Kyokka Dr. Ritah Namaalwa Musoke eyabadde agaanye okwogera ku nsonga zino yagambye nti, Bob ye yatabula ebintu byonna okuva lwe yagaana okusoma n’asalawo okubeera awaka.

Yagambye nti, kituufu baalondebwa okubeera abakuza wabula ebintu bya mwannyinna byabalema ne babivaamu oluvannyuma lwa Bob okuwera nti ajja kutemaatema buli muntu eyeefuula nti alabirira ebintu bya kitaawe.

 mulabirizi sebaggala ku kkono imera ku ddyo ne mukwano gwabwe nga bakyali baawule Omulabirizi Ssebaggala (ku kkono), Kimera (ku ddyo) ne mukwano gwabwe nga bakyali baawule.

Yagambye nti waliwo emmotoka omugenzi gye yali yagula n’agiteeka mu mannya ga Bob eyo gye yasooka okukaayanira oluvannyuma lw’okwewaggula n’ava ku ssomero era baamuwa kkaadi yaayo n’aagenda ew’omusajja eyali agirina ne bamuwa ssente ng’agamba nti ayagala kukola bizinensi tewali amanyi kye yazikolamu.

Yagasseeko nti ng’ebyo tebinnaba kubeerawo, ssengaawe omulala Dr. Diana Harriet Nabaloga eyali atambuza ennyo ensonga yamuwa obuyinza okuddukanya ebintu by’omugenzi omuli ennyumba z’abapangisa, ebisulo by’abayizi n’ettaka wabula ssente zonna ng’alya ndye.

Dr. Diana Harriet Nabaloga yagambye nti, “Kimera yali mwannyinaze, namuziika ne mwabiza olumbe ne kiggwa, ebya famire abaana be be babimanyi.”

Yagasseeko nti, mukulu we Ritah Musoke ekyamuggya mu nsonga za mwannyinaabwe yali Bob okufuuka ekizibu n’agamba nti naye kye kimu ekyabimuggyamu.

“Abaana bye bakola ne bye boogera ku ssaawa eno battattana mannya ga bantu, nze bantutte ne mu kkooti, looya yakedde kunkubira ng’antegeeza nti bampaabidde nninda lwe banampita hhendeyo.” Nabaloga bwe yategeezezza.

Omunene mu magye ayagala kutwala ttaka

Dr. Ritah Musoke yagambye nti, tamanyi ngeri Bob gye yakwataganamu n’omu ku banene mu magye ali ku ddaala lya Maj. (amannya gasirikiddwa) amuyimiridde emabega okukola effujjo lyonna ly’akola.

Yagambye nti, n’olumu omujaasi ono yakuba essimu ya Bob ng’agyerabidde awaka omu ku bannyina n’agikwata kyokka eyali akubye teyamanya nti Bob si y’agikutte era byonna bye yayogera kwe baamanyira nti, waliwo ddiiru wakati wa Bob n’omujaasi ono gwe yali yasuubiza yiika ttaano ku ttaka.

Phiona Nassolo mwannyina wa Bob yagambye nti, bwe baasiba muto we omulundi ogwasooka, gye yasisinkana omusajja eyamutegeeza nti ye George era n’amugamba nti asobola okumukwataganya ne munnamagye ono amuyambeko.

Yagasseeko nti, bwe bakkiriza, munnamagye yabagamba bawandiike ebbaluwa nga bamusaba mu butongole okubayamba.

Yagambye nti baba bali awo nga bakyayiiya eky’okukola omujaasi n’abasindikira omukazi gwe baategeerako erya Nanfuka eyamweyimirira ne basasula 250,000/- era oluvannyuma ne babayita e Kampala ne basisinkana Major ono.

Yagambye nti, oluvannyuma yakizuula nti mu nkolaga muto we gye yalina n’omujaasi ono, baali batuuse ku nzikiriziganya z’okumuwa yiika ttaano ku ttaka ekyamuwaliriza okugenda mu ofiisi ekola ku nsonga z’abafu n’asaba obutabaako gwe bakkiriza kugaba ttaka lya kitaawe.

Abatemu bayinaayina

Dr. Ritah Musoke yagambye nti, omusango baali bagulekedde Dr. Nabaloga kubanga ye munnamateeka wabula naye baamulemesa.

Yagambye nti, ekyasooka okubamalamu amaanyi, bye bizibiti bye baggya ku mulambo gwa mwannyinaabwe ne babitwala ew’omukugu wa Gavumenti e Wandegeya okubikebera ne bimala emyezi mukaaga nga tebikeberebwanga.

Yagambye nti, baakuba amasimu, ne beewuba ku Gavument Analytical Laboratory (GAL) e Wandegeya ne bakoowa bwe batyo omusango ne baguvaako.

Poliisi y’e Mukono yakwata Nagawa eyali muganzi wa Kimera eyamutwala mu ssabo, Peter eyabavuga ku bodaboda n’omusamize nnannyini ssabo Kimera gye yafiira wabula tebaaweza wadde wiiki ku poliisi ne babata.

Yagasseeko nti, omukazi yagenda yeewera nti tebajja Phionah Nassolo kumusobola ne bwe banaakola batya era bwatyo tebaamusobola na buli kati Nagawa ne banne balya butaala.

“Omusamize yatugamba nti mwannyinaffe teyafiira mu ssabo lye, yafiira mu mulyango nga bamuyingiza n’agamba nti, Nagawa yali yatta bba eyasooka omuzimu gwe gulabika gwe gwatuga mwannyinaffe.” Dr. Ritah Musoke bwe yagambye.

Ssentebe w’ekyali annyonnyola

Romano Valentino, ssentebe w’ekyalo Nabuti yagambye nti, Kimera we yafiira yali takyalina mukazi nga yafunayo Nagawa agira amulabirira.

Yagambye nti bwe yafa, yaleka alaamye mutabani we Titus Walugembe okumusikira ate Jonathan Jjemba okubeera ssentebe n’alonda n’abakuza wabula ekiseera kyatuuka abakuza ne basuulawo obuvunaanyizibwa.

Yagambye nti, abaana baasaba okweddukanyiza ebintu byabwe era n’awandiika ebbaluwa ng’abayita mu lukiiko bonna n’abakuza wabula tebaalinnyayo era mu kiseera kino ye abadde amanyi nti Bob y’alabirira ebintu bya kitaabwe.

Yagasseeko nti, obuzibu Bob bw’asinze okusanga bwa mupangisa alina essomero ku ttaka lya Kimera gw’amanyiiko erya Mutagaya atayagala kusasula ssente era nga yasalawo buli lw’agendayo okubeera ng’abanja ng’amuwendulira abaserikale nga bamukwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo