TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala omulala attiddwa mu bukambwe e Katabi - Ntebe

Omuwala omulala attiddwa mu bukambwe e Katabi - Ntebe

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2017

OMUWALA omulala bamusse omulambo ne bagusuula e Katabi - Ntebe, ekyongedde okutakuza aba poliisi emitwe ku batemu ki abatta abakazi.

Sempi 703x422

Owa poliisi ng’agezaako okutangira abantu okutuuka ku mulambo gw’omukazi.

Abakazi abaakattibwa mu Kampala n’emiriraano mu myezi esatu gyokka kati basukka mu 20 ng’abasinga ku bano babattidde Nansana ne Ntebe.

Poliisi yalwanaganye n’abantu abaabadde bagezaako okutuukira ddala ku kifo omulambo gw’omukazi ono atemera mu myaka 30 we gwabadde.

Abantu baabadde baagala kwetegereza okuzuula oba omukazi ono bamumanyi ku kitundu, kyokka poliisi ng’ebaziyiza okulinnyirira ekifo kubanga kitaataaganya okunoonyereza.

Omuduumizi wa Poliisi mu Kampala South, Siraje Bakaleke bwe yatuuse yategeezezza nti tewali kiraga nti omukazi ono yattiddwa buttibwa era n’agattako nti abadde mulalu ku kitundu era alabika yafudde bulwadde; wabula abatuuze abaasoose okulaba omulambo ne bamuwakanya nga bagamba nti guliko ekiwundu ekinene ku mutwe, gwabaddeko omusaayi, gwayambuddwa era n’enviiri zaabadde zitankuuse nnyo nga n’omubiri gubunye ebikuyiro, ekiteeberezebwa nti yagezezzaako okulwanyisa abatemu abaamusse.

Omulambo gwasuuliddwa okumpi n’emizigo gya Ronald Mutebi e Katabi mu Ntebe era abaabadde bakedde ebweru ku Ssande be baagulabye ne bayita poliisi.

Omukazi ono eyattiddwa alinnyisizza omuwendo gw’abakazi be battidde e Ntebe ne guva ku musanvu ne gutuuka ku munaana wakati wa May 2017 ne August 2017.

Poliisi bwe yakwata Ibrahim Kaweesa gwe boogerako nti yakkirizza nti abadde mu kibinja ekyakatta abakazi 8 e Nansana yalumirizza omugagga Tumuhimbise nti y’abapangisa okutta abakazi balembeke omusaayi bagumutwalire.

Wabula Fred Egesa eyakuguka mu by’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango n’akikubamu ebituli ng’agamba nti abattiddwa babadde batugibwa butugibwa era emirambo gibadde tegisangibwako biwundu we baalembekedde musaayi!

Kaweesa akuumirwa Nalufeenya, kyokka abatemu bakyayongera okutta abalala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emilian Kayima yagambye nti ebikwata ku mukazi gwe basse byabadde tebinnategeerekeka kyokka n’agattako nti omulambo gwabadde gutandise okuvunda era ne baguggyayo ne bagutwala mu ggwanika e Mulago nga bwe bakola okunoonyereza.

Yagambye nti abantu baabulijjo balina okuyambako ennyo mu kuwa poliisi amawulire agakwata ku butemu obw’ekika kino obweyongedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso