TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba taxi batubidde n'emigu gy'abasaabaze gye beerabira mu mmotoka

Aba taxi batubidde n'emigu gy'abasaabaze gye beerabira mu mmotoka

By Joseph Mutebi

Added 29th August 2017

Aba taxi batubidde n'emigu gy'abasaabaze gye beerabira mu mmotoka

Kub1 703x422

Ssentebe w'abagoba ba Taxi Mayambala ng'alaga emigu gyebatubidde nagyo

ABAKULIRA  omulimu gw’okusaabaza abantu mu ggwanga ab’ekibiina kya takisi ekya KOTSA batubidde n’emigugu gya basaabaze baabwe egisukka mu 2000 egibalirirwamu obukadde 50, oluvannyuma lw’okugyerabira mu takisi zaabwe.

“Abantu  bangi bawaayiriza nti abagoba ba takisi ne bakondakita babba emigugu gy’abasabaze  wabula ng’ekituufu abasaabaze baffe  abasinga bagyerabira mu mmotoka ate ne bataginoonya” bwatyo Yasin Ssematimba ssentebe waba takisi mu ggwanga bw'ategeezezza.

Bino Ssematimba abyogeredde mu offiisi ye ku ppaaka empya bw'abadde alaajanira abasaabaze baabwe abalungi okujja mu offiisi eno banone  emigugu gyabwe kubanga balina gye bamaze nagyo emyaka egisukka mu ebbiri.

“ffe omuguggu bwe gusigala  mu takisi ddereeva oba kondakita aguleeta ku offiisi yaffe yonna emuli okumpi era bwe bamala okugwekebejja ebigulimu ne babiwandiika ne balyoka bagutwala ku poliisi ne bagulawo omusango olwo ne bagutereeka okutuusa nannyini gwo omutuufu lwalijja” Bwatyo Ssematimba bwakkaatiriza.

Ayongeddeko nti wabula abantu bangi abali bakozesa omukisa guno okulondoola emiguggu egitali gyabwe wabula bwe bakizuula nti sigugwo ng’ebirimu tobimanyi nga bakuyittira poliisi nga bakusiiba era bangi babakutte.

Ssematimba yagambye nti ebimu ku bye basinga okubeera nabyo kuliko kkeesi z’e ngoye, ebitabbo bya bayizi , TV, Densti, Passport,  pamiti ne kalonda omulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...