TOP

Biibino ebinaagobererwa mu kulonda LC1

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2017

AKAKIIKO k’ebyokulonda kagenda kuddamu okuwandiika abalonzi ku byalo okwetegekera okulonda abakulembeze ba LC okusuubirwa okubaawo nga November 21, 2017.

Justicebyabakamamugenyi703422703422703422 703x422

Akulira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga, omulamuzi Simon Byabakama

Paul Bukenya, amyuka omwogezi w’akakiiko k'ebyokulonda yategeezezza nti tebagenda kugoberera nkalala nkadde ezizze zikolebwa mu kulonda.

Enjawulo mu kulonda kwa November kwesigamiziddwa ku kyalo omuntu gy'asula.

Abatuuze bonna bagenda kuddamu okuwandiisibwa ku byalo n’oluvannyuma bafulumye olukalala lw'abalonzi olupya. Kyokka omulonzi anaaba ayagadde okusigala ng’alondera ku kyalo gy'atabeera naye ajja kukkirizibwa.

Okulonda kuno kugenda kubeera ku byalo 59,315 mu ggwanga lyonna. Okusinziira ku Bukenya, akakiiko kakyalina ekizibu ky’okusalawo ku byalo ebirina okubeeramu okulonda.

Ekimu ku bikyabatabudde, kwe kubeera nga buli olukya, LC empya zitondebwawo ku byalo, ate nga ssente ze baawa akakiiko zirina ekkomo ku muwendo gwe baabalirira.

Ku lunaku lw’okulonda ssentebe wa LC I, wagenda kusookawo olukiiko lw'ekyalo abatuuze beekenneenye amannya g'abalonzi n’okubalaga abantu abeesimbyewo wadde bajja kuba baabasaba dda obululu.

Ku ssaawa 5:00 zennyini abantu bajja kusimba ennyiriri emabega w’omuntu gwe baagala. Okulonda kwennyini kwakumala eddakiika 30 zokka, nga kye kiseera abantu kye balina okumala mu nnyiriri.

Oluvannyuma ssentebe anaaba alondeddwa agenda kulangirira olukiiko lw'agenda okufuga nalwo.

Olukiiko luno olwa bantu 11, nga ssentebe agenda kweronderako mukaaga ab’okufuga nabo.

Abalala okuli ow'abakyala, abalema, abavubuka n'abalala bo baakwerondera ababakiikirira.

Akakiiko k'ebyokulonda kasabye Gavumenti erangirire olwa November 21, 2017 lubeere lwa kuwummula mu Uganda yonna, kisobozese abantu okujjumbira okulonda.

Bukenya yagambye nti, okulonda tekuliiko buyigirize, oyo aweza emyaka 18 ate nga Munnayuganda alina ne densite y’eggwanga akkirizibwa okwesimbawo.

Akakiiko kaalangiridde nga bwe kagenda okuwandiika abakozi 70,000 bayambeko mu kulondesa okulonda kwa LC kuno.

Omulimu gw'okuwandiika abanaalondesa gwakumala ennaku nnya okuva nga October 11 okutuuka nga October 14, 2017.

Bano mujja kubeeramu abanaalondesa ku byalo, ku miruka, abanaakolera ku magombolola n'abakozi b'akakiiko ab'enkalakkalira.

Bukenya yagambye nti ebyetaagisa okufuna omulimu byakufulumizibwa nga wiiki eno tennaggwaako.

Abanaaba baweereddwa emirimu bajja kutendekebwa nga October 23, 2017.

Abaagala obwassentebe bajja kwewandiisa wakati wa November 15 ne 16, 2017.

Akakiiko kaafuna dda ssente obuwumbi 15 n'obukadde 700 ez'okweyambisa mu kulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo