TOP
  • Home
  • Agawano
  • Owa Poliisi abasawo b'e Mulago gwe baasalako ebbere mu bukyamu ayagala eddwaaliro livunaanibwe

Owa Poliisi abasawo b'e Mulago gwe baasalako ebbere mu bukyamu ayagala eddwaaliro livunaanibwe

By Paddy Bukenya

Added 30th August 2017

OWAPOLIISI abasawo b'e Mulago gwe baasalako ebbeere mu bukyamu ayagala eddwaaliro livunaanibwe.

Pampa1 703x422

We baasala ebbeere mu bukyamu. Ku ddyo, ng'alaga ebbaluwa z'abasawo kwe baasinziira okusalako ebbeere lye erimufuukidde ezzike! Ebifaananyi bya PADDY BUKENYA

OWAPOLIISI abasawo b'e Mulago gwe baasalako ebbeere mu bukyamu ayagala eddwaaliro livunaanibwe.

Sgt. Marion Neumbe 38, ng'akolera ku kitebe kya poliisi e Mpigi asiiba akulukusa maziga olw'obulumi bw'alina oluvannyuma lw'okumusalako ebbeere mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago era ayagala eddwaaliro lino livunaanibwe olw'okukosa obulamu bwe n'okumutwalako ssente.

Wadde Neumbe baamusalako ebbeere afune obuweerero, obulwadde obwali bumuluma bwasigala bumulya nga kati baakamutemye nti, bumulidde nnyo tagenda kuddamu kufuna mirembe.

Neumbe agamba nti yasooka kuwulira kakukufa mu bbeere erimu mu 2015 n'agenda mu Uganda Cancer Institute e Mulago ne bamukebera ne bamutegeeza nti, alina kookolo w'amabeere.

Agamba nti, yakkiriza ebbeere ne balisalako kyokka obulumi bwagenda mu maaso ne bweyongera.

Baamuteeka ku ddagala lya kookolo ne limutwalako ssente ne zimuggwaako kyokka nga tafuna nkyukakyuka ekyamuwaliriza okuddayo mu ddwaaliro baddemu bamukebere.

Wabula ku luno baamutegeeza nti baakola nsobi okusalako ebbeere lye kubanga teryalimu kookolo nti n'eddagala ly'abadde amira teribadde na mugaso kubanga kookolo gw'alina wa mu misuwa.

 gt arion eumbe ngali nabaana be abatakyasoma Sgt. Marion Neumbe ng'ali n'abaana be abatakyasoma

Wabula bwe baamukebedde kookolo w'emisuwa baakizudde nti takyasobola kuwona olw'ebbanga ly'amaze nga tafuna bujjanjabi.

TALINA NSIMBI ZA BUJJANJABI

Neumbe agamba abasawo baamutadde ku ddagala lya kookolo w'emisuwa kyokka nga lya ssente nnyingi ng'ate zaamuggwaako ng'agula eddagala lya kookolo w'amabeerE ate nga tamulina.

Agamba nti buli lw'agenda mu ddwaaliro asasula 200,000/- nga tekuli ssente za ntambula.

ABAANA BE TEBAKYASOMA

Neumbe agamba nti alina abaana bana okuli n'ababadde basoma basatu naye okuva lwe yalwala baava mu ssomero, talina fiizi.

Agamba nti ensobi yali ya basawo abaasooka okumukebera ne bazuula kirala nga n'ekimuluma kirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...

Mauriciopochettino2019 220x290

Barcelona eyagala Pochetinno asikire...

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima...

Bwakikola 220x290

Biibino ebitundu ebirala ebyefudde...

NE WANKUBADDE ng’abantu abasinga Bermuda Triangle bamumanyi ng’ekifo ekibuzaawo abasaabaze ababeera mu nnyonyi...

Son 220x290

Taata na yasooka kunkolako byawongo...

OKUSOBYA ku bawala ng’ate ababasobyako bahhanda zaabwe mu maka mwe babeera kikyali kizibu kinene ekyetaaga okunogera...