TOP

Munnayuganda bamuttidde e Bungereza

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2017

Munnayuganda abadde asomerera okuvuga ennyonnyi ennwaanyi mu magye ga Bungereza asindiriddwa amasasi mu kibuga London n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.

Qweb 703x422

Omugenzi Abdul Mayanja

Abdul Mayanja 19, afiiridde mu ddwaaliro mu East London gye yaddusiddwa oluvannyuma lw’okukubwa amasasi abantu abatannategeerekeka abamuteeze okumpi n’ekibangirizi ekya Queen Elizabeth Olympic Park ku Lwokutaano oluwedde.

Amasasi gaamukubiddwa ku luguudo Well lane e Strafford mu kitundu ekya Newham ku ssaawa nga 4:30 ez’ekiro ku Lwokutaano nga yabadde yaakava awaka e Plaistow ku ssaawa 4:00 ez’ekiro okugenda okusisinkana mikwano gye.

Mayanja ye muvubuka owa 11 okuttibwa n’amasasi mu London okuva omwaka guno lwe gwatandika era poliisi yabakanye dda n’okunoonyereza wadde nga tewannabaawo muntu yenna eyakwatiddwa okuva ku Lwokutaano ettemu lino lwe lyabaddewo.

Okuttibwa kwa Mayanja kwongedde okwewanisa abantu b’omu London emitima olw’engeri abantu naddala abavubuka abato gye batemulwamu nga kigambibwa nti ettemu lino lirina akakwate ku bumenyi bw’amateeka naddala obw’emmundu ez’ejjenjeero mu bantu.

Mayanja nga yasomerako mu Vienna College Namugongo abadde yeegatta ku ggye lya Bungereza ery’omu bbanga erya Royal Air Force (RAF) mu October 2013 n’assibwa mu kibinja ekya 338 West Ham Squadron air cadets .

Banne bwe baali mu kibinja ekya 338 West Ham Squadron air cadets baayogedde ku Mayanja ng’omuvubuka omugezi ennyo era omukkakkamu.

Kitaawe wa Mayanja eyategeerekeseeko erinnya erya Kizza yagambye nti mutabani we abadde ateekateeka kweyongera e Los Angeles mu ssaza ly’e California mu Amerika okumaliriza kkoosi ye ng’ofiisa w’amagye omuvuzi w’ennyonnyi ennwaanyi .

BANNAYUGANDA ABALALA ABATTIDDWA E BUNGEREZA

January, 2017: Quamari Serunkuma-Barnes 15, yafumitibwa ebiso bwe yali ku ssomero erya Capital City Academy mu kitundu ky’e Willesden.

June , 2017: Derick Roy Mulondo, muzzukulu w’omugenzi Rabbi Ezekiel Serunjogi Mulondo yattibwa muganzi we omuzungu mu kibuga London.

July 2017: Ben Sengooba, 33, yawanuka mu kalina mu East London n’afa nga kigambibwa nti waliwo abaamusindika.

June 2016: Matthew Kitandwe muzannyi w’omupiira yafumitibwa ebiso bwe yali ayingira awaka mu London.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kub1 220x290

Emmotoka z'obwannanyini zizzeemu...

Emmotoka z'obwannanyini zizzeemu okutambula

Pliz 220x290

Yinginiya w'ekizimbe ekyatta abantu...

YINGINIYA w’ekizimbe ekyagwa ne kitta abantu 13 e Kansanga asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa emisango 19 egy’okulagajjala...

Church 220x290

Eyavunaanibwa ne RDC Sakwa naye...

OMULAMUZI akulira kkooti ento mu Jinja, Jesca Chemeri ayimbudde omu ku basajja ababiri abavunaanibwa ne RDC wa...

Run 220x290

Owa Poliisi aggyiddwa mu ofiisi...

AMYUKA ddayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Joseph Obwona aggyiddwa...

Ugx 220x290

Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe...

JUSTINE Nameere asonyiye Faridah Nakazibwe omukozi w’oku Ttiivi bwe bamaze ekiseera nga bagugulana kyokka ono amulabudde...