TOP
  • Home
  • Agawano
  • Landiroodi ayokyezza enju y'omupangisa omuliro ne gukwatiramu omwana

Landiroodi ayokyezza enju y'omupangisa omuliro ne gukwatiramu omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2017

MUSA Kisekka ow’e Nabweru South Zooni mu munisipaali y’e Nansana, asaba poliisi n’ebitongole ebikwatibwako okumuyamba ku landiroodi we gw’alumiriza okwokya enju mwe yali asula.

Wamba 703x422

Kisekka ne muwala eyayokeddwa omuliro

Agamba nti, enju olwayokebwa yafiirwa ebintu ebibalirirwamu obukadde 30 n’okusoba kyokka landiroodi n’aggula ku Kisekka omusango ng’alaga nti ye (Kisekka) ye yayokya enju!

Agamba nti landiroodi ye Jamirah Nakyejwe ng’okutabuka kyaddirira okwongeza enju olwo esulwamu n’eva ku 100,000/- n’edda ku 200,000/- ate edduuka n’aliggya ku 150,000 okudda ku 300,000/-.

Kisekka agattako nti, yamusaba amuweemu akadde anoonye w’alaga, yasalawo kwokya nju, ne muwala we Ibin Musa Nakayenga 3, omuliro ne gumwokya.

Agamba nti, edduuka lye lyasaanawo olw’omuliro era talina w’aggya ssente zimubeezaawo.

Asaba abakulu mu poliisi ne Gen. Salim Saleh okumuyamba yeebeezeewo n’okujjanjaba muwala we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kim1 220x290

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero...

Minisita Muyingo akubirizza amatendekero okussa essira ku masomo agalina akatale

Det22 220x290

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior...

Ssemaka ow'emyaka 56 atudde senior 6 ne mutabani ne basibagana mu bubonero.

Nom1 220x290

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka...

Poliisi ennyonnyodde entabula y'ebidduka ku mukolo gw'okutuuza omulabirizi

Grave1 220x290

Abaffamire ya Nkoyooyo batabuse...

ABA FFAMIRE y’eyali Ssaabalabi­rizi w’ekkanisa ya Uganda, omu­genzi Bp. Livingstone MpalanyiNkoyoyo baguddemu ekikang­abwa...

Sit24 220x290

Abawala babuutikidde abalenzi mu...

Abawala babuutikidde abalenzi mu bya senior 6