TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Mukono beeyiye mu muzikiti gwa Central Market okusaala Iddi

Ab'e Mukono beeyiye mu muzikiti gwa Central Market okusaala Iddi

By Henry Nsubuga

Added 1st September 2017

Ab'e Mukono beeyiye mu muzikiti gwa Central Market okusaala Iddi

Papa0 703x422

Enkumi n’enkumi z’abasiraamu okuva mu munisipaali y’e Mukono n’ebitundu ebirinanyeewo beeyiye mu bungi ku muzikiti gwa Mukono Central okusaala Iddi enkya ya leero.

Ssentebe w’omuzikiti guno Ffeffekka Sserubogo akunze abasiraamu abalina obusobozi olwesimbawo mu kulonda kwa LC1 okunaatera okubeerawo ku nkomerero y’omwezi guno.

She Sheikh Saziri Lumala nga ye disitulikiti khadhi wa Mukono naye akunze abasiraamu okwenyigira mu kulonda okwo. Lumala asabye abasiraamu nti okulonda nga kutuuse baleme kulonda ddiiro ya muntu wabula balonda busobozi.

Agambye nti tekigasa kulonda musiraamu nga kisiraamusiraamu atagya mugamba kutuuka butebenkevu bwa kitundu.

Bano era bavumiridde ettemu erikolebwa ku bannayuganda mu butundu by’eggwanga eby’engyawulo.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...