TOP

Omugagga w'e Ntebe bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 1st September 2017

POLIISI ekutte omugagga w’e Ntebe Gen. Kale Kayihura gw’alumiriza okuba mu lukwe olutta abakazi

Ivan1 703x422

Katongole

Bya JOSEPH MAKUMBI, GODFREY SSEMPIJJA, YUDAYA NALWEGAYO NE MAURICE KULABAKO

POLIISI ekutte omugagga w’e Ntebe Gen. Kale Kayihura gw’alumiriza okuba mu lukwe olutta abakazi, agiyambeko mu kunoonyereza ku butemu buno mu Katabi Town Council n’alaajana bwe wabeerawo omuntu yenna alina obujulizi obumuluma ku ttemu lino abuweeyo eri poliisi.

Ivan Katongole 30, nnannyini Guines Investments era nga y’addukanya omwalo gw’e Kasenyi, ye yakwatiddwa poliisi y’e Ntebe ku Lwokusatu n’efuuza amaka ge ne ofiisi ye ku mwalo e Kasenyi kyokka n’ebulwayo ekintu kyonna kw’eyinza okumuyingiriza mu ttemu wabula n’emusigaza agira agiyambako.

Katongole aludde ng’ayogerwako nti y’ali emabega w’okutemula abawala mu Katabi kyokka nga tewali muntu avaayo kumulumiriza ekyamuwaliriza okwesitula n’agenda mu nkiiko za poliisi okuli olw’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura n’olw’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa ze baakuba e Nkumba ku ntandikwa y’omwezi guno.

 biici ya atongole biici ya Katongole

 

Katongole mu nkiiko zombi, yasaba abantu bonna abamulinako obujulizi bagende mu kyama eri poliisi babuweeyo kubanga ye ky’amanyi abantu naddala abatayagala kukola bamuwalana buwalanyi olw’ensonga nti akoze batunula n’agaggawala ate bbo ne basigalira emabega.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Asan Kasingye yategeezezza Bukedde nti, obutazuula kintu kyonna mu maka ga Katongole ne mu ofiisi ye, tekitegeeza nti tebalina bujulizi kwe beesigamye.

Yagasseeko nti poliisi esobola okuba nga baalondodde essimu ye ne basanga ng’erina enkwatagana n’abantu abazze bakwatibwa ku ttemu lyonna eribaddewo e Ntebe.

Yayongeddeko nti, obutemu bwonna obubadde e Ntebe, abaabukola baabakwata ne babatwala mu kkooti n’agamba nti okuggyako obutemu bwa mirundi esatu okuli omuwala eyattibwa ku Kasenyi Road, eyatemuddwa ku Ssande ne Jalia Nalule eyazuuliddwa ku Mmande ng’avunze mu kibira kya Kyewaga mu kirombe ky’e Kayirira.

Katongole agamba nti, abantu bonna abazze bakwatibwa ku butemu bw’e Ntebe, tekuli mukwano gwe, owooluganda lwe oba omuntu yenna gw’alina enkwatagana naye k’ebeere ey’emirimu oba mu biseera eby’eddembe.

Yagasseeko nti, ku ntandikwa ya buli kimu, poliisi yakwata abasajja babiri e Ntebe omu ye Ivan alina ebbaala wabula olw’okuba teyali mumanyifu nnyo nga ye bw'ali, abantu baatandika kulowooza nti ye gwe bakutte.

Agattako nti, yali takwatibwangako poliisi wabula abantu olwawulira Ivan awo we baatandikira era y’engeri gye yajja okuyingizibwa mu by’ettemu ly’e Ntebe.

“Ndi musajja musuubuzi eyeekolera emirimu gyange, nsoma ddiini ya Kikatoliki, sisamirangako, sittangako yadde okusaddaaka simanyi lwaki bannyingiza mu bintu bino ebinzitira erinnya ne bizinensi.” Katongole bwe yategeezezza Bukedde nga tannakwatibwa.

 maka atongol gazimba Amaka Katongol gazimba

 

Yagambye nti, waliwo omukazi Rose Nakasinga omutuuze w’e Nkumba eyali alumiriza nti yazimba ennyumba n’agiteekako ekigambo ‘Nabaana’ wabula bwe yamutuukako ng’ayagala amutwale ku poliisi amulumirize, yasanga omukazi ali mu mbeera mbi nga yeetaaga kuyamba mu kifo ky’okutwalibwa ku poliisi.

Nakasinga bwe twamutuseeko okunnyonnyola ku ky’amanyi ku Katongole n’engeri gy’akwataganamu n’abatemu, yagambye kimu ‘Ebya Katongole sibimanyi nze mundeke’.

Okusinziira ku bibadde biyitingana mu bantu wabula nga teri avaayo mu lwatu kwewayo abyogere, Katongole alina ennyumba gy’azimba eya kalina

Nakasinga kw’agamba nti yawandiikako ekigambo nabaana.

Wabula Katongole yagambye nti, azimba maka ge era tekuli kintu kyonna kye yali awandiiseeko n’ekisinga okumwewuunyisa, Nakasinga tamanyi nnyumba gy’eri ne lwe yagenda ewuwe, yamutuukako naye nga tamanyi muntu gw’ayogera naye, yamala kumweyanjulira nti ye Ivan Katongole.

Era, bagamba nti yatuma abantu n’abasuubiza obukadde 10 ku buli mukazi gwe bamuttira era abatemu babadde bakola butaweera okutta basobole okuweza ennamba kyokka Katongole yeebuuza nti ye afuna ssente mmeka kw'asobola okuwa abantu 10,000,000/- bamuttire abawala.

“Abantu baffe baagala nnyo ebintu by’okweraguza y’ensonga lwaki balina endowooza bwe zityo naye nze ssente ezange ntobye okuva 2008 lwe nnamala S6 okuzifuna era najja ku nnyanja nga sirina wadde ekikumi ssente nziggye mu kuvuba.” Katongole bwe yagasseeko.

Ku ssaawa eno, kiteeberezebwa nti akuumirwa Nalufenya kyokka nga bambega ba poliisi abanoonyereza ku musango guno kye basinze okwesigamako bye bigambo bye bazze bawulira okuva mu batuuze.

Kasingye yagambye nti bakyamukutte kubanga tebannamaliriza kunoonyereza n’agattako nti bwe banaaba bamalirizza, bajja kumutwala mu kkooti.

 akasinga eyegaanye atongole Nakasinga eyegaanye Katongole

 

EBIKWATA KU KATONGOLE

Yazaalibwa ku kyalo Nkumba Bufulu mu 1986, bazadde be ye Rogers Kaweesi ne Robina Nampeera.

Yasoma okutuuka mu S6 nga bw’avuba okutuusa lwe yava ku kusoma mu 2008 n’adda ku nnyanja okunoonya ssente.

Ku ssaawa eno, musajja mufumbo alina omukyala n’abaana n’ebyobugagga okuli bbiici e Kasenyi, amayumba g’abapangisa mu kibuga ky’e Ntebe, Nkumba n’ebitundu ebirala.

Ye nnannyini kkampuni ya Guines Investments esuubula ebyennyanja n’ennuuni.

Y’omu ku baddukanya omwalo gw’e Kasenyi era ssentebe w’abasuubuzi ku mwalo guno, Ronald Namayira agamba nti ssente bwe zibula ku Katongole omwalo gwonna gubeera mwavu.

Musajja mucakaze era anyumirwa nnyo okuzannya omuzannyo gwa Pool Table avuga n’emmotoka za bbeeyi mu kibuga Ntebe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.