TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukulu w'omuyimbi Junior Pliers akubye kitaawe omuyini n’amutta

Mukulu w'omuyimbi Junior Pliers akubye kitaawe omuyini n’amutta

By Paddy Bukenya

Added 1st September 2017

OMUVUBUKA akubye kitaawe omuyini ku mutwe n’amuttirawo nga kirowoozebwa nti obuzibu buvudde ku kibanja.

Tta1 703x422

Kaweesi asse kitaawe ngali ku Poliisi e Mpigi. Ku ddyo ye mugenzi Byekwaso

Peter Kaweesi Ssekate 43, mukulu w’omuyimbi Julius Ssekyanzi amanyiddwa nga ‘Junior Pliers’ eyayimba ‘Sugar Mummy’ yakkakkanye ku kitaawe Pasikaali Byekwaso 65, omusomesa mu Klezia n’amukuba n’amutta.

Kaweesi abazizza kitaawe ng’ayoza ngoye n’amusooberera n’amukuba omuyini gw’enkumbi ku mutwe ogumuttiddewo kyokka oluvannyuma n’akkakkana ku mulambo nagwo n’agukuba n’agusuula mu luggya.

Ababadde bayita awaka be baalabye omulambo gwa Byekwaso nga balowooza yeebase ne bamuyita nga tayitaba.

Baayise Junior Pliers eyabadde mu nnyumba ye eyeesuddeko akabanga najja, okukebera ku kitaawe nga mulambo!

Baagenze okulaba nga w’agudde waliwo omuyini gw’enkumbi era bagenze okwekebejja omulambo nga guliko ekiwundu ku mutwe n’amagulu nga bagasensebudde.

Baayise poliisi ye Mpigi kyokka olutuuse n’ekwata Kaweesi abadde mu maka ga kitaawe yekka ne bamutwala ku poliisi gy’ayogeredde nti yaamusse.

muyimbi unior liers asooka ku kkono ngakungubagira kitaaweOmuyimbi Junior Pliers (asooka ku kkono) ng'akungubagira kitaawe.

 

Abamu ku batuuze baategeezeza nti Kaweesi yandiba ng’abadde ayagala kutta kitaawe asigale mu kibanja kino kyokka ng’abalala bagamba nti yandiba ng’abaddeko ekikyamu oba ng’akozesa ku bitamiiza.

Abooluganda lw’omugenzi baasabye poliisi etwale Kaweesi mu ddwaaliro abakugu bamwekebejje omutwe kubanga bwamaze okutta kitaawe tadduse ng’omuntu akoze ekikolobero.

Abatuuze beewuunyizza ekikolwa kya Kaweesi okutta kitaawe nga bagamba nti baludde nga babeera bonna nga bakolagana bulungi nga ne mu Klezia bagenda bombi.

Aduumira poliisi mu Katonga Victor Kule Saasi akakasizza ettemu lino n’agamba nti Kaweesi agguddwaako gwa butemu wabula waakusooka atwalibwe mu bakugu bamukebere omutwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....