TOP

KENYA; Okusalawo kwa kkooti kye kutegeeza

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2017

KKOOTI ya Kenya Ensukkulumu okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku Bwapulezidenti kweraliikirizza abantu nti kugenda kukosa ebyenfuna by’eggwanga naye abalala ne bakisanyuki­ra nga bagamba nti kkooti yeenunudde era obwenkanya buwangudde.

Uhuruto1 703x422

Uhuru ng'ayogerako eri Bannamawulire ku byavudde mu kkooti. Amudiridde ye mumyuka we Ruto

Bya MUSASI WAFFE

KKOOTI ya Kenya Ensukkulumu okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta ku Bwapulezidenti kweraliikirizza abantu nti kugenda kukosa ebyenfuna by’eggwanga naye abalala ne bakisanyuki­ra nga bagamba nti kkooti yeenunudde era obwenkanya buwangudde.

Kyokka bo abawagizi ba Uhuru nabo bongedde kuwaga era nga bakulemberwa Mwangi Kiunjuri bagamba nti Pulezi­denti waabwe akalulu baakamuwa mu bwesimbu era kabakaddemu balage ensi nti Uhuru ye muwanguzi.

Amangu ddala nga kkooti yaakalangirira okusazaamu, ssente ya Kenya yasse bbeeyi n’akatale k’emigabo ne kakka ekyawalir­izza abakaddukanya okusooka okukaggala okumala ekiseera ku Lwokutaano.

Naye bino byonna bitegeeza ki eri Ke­nya, baliraanwa baayo omuli Uganda n’ensi yonna okutwalira awamu?

 bawagizi ba dinga nga bawaga Abawagizi ba Odinga nga bawaga

 

AKAKIIKO K’EBYOKULONDA

Oluvannyuma lw’obuwanguzi bwe yatuuseeko mu kkooti, Raila Odinga yavuddeyo n’ategeeza nga bwe batakyalina bwesige mu kakiiko k’ebyokulonda aka Kenya era n’ategeeza nga nabo bw’agenda okubakuba mu kkooti bavunaanibwe olw’okuvuluga okulonda.

Kino bwe kinaakolebwa, kyanditaataaganya okud­damu okulonda kkooti kwe yalagidde ne kutasobola kubaawo mu nnaku 60. Kyo­kka omubaka wa palamenti Kanini Kega yategeezezza nga Palamenti bw’etegenda kukkiriza Raila okusindiikiriza akakiiko k’ebyokulonda.

Kenya efuuse kyakulabirako mu Afrika

Ekibaddewo tekibangawo mu Afrika, kkooti okusazaamu okulonda kwa Pulezi­denti n’esalawo kuddibwemu. Okuddamu okulonda kugenda kuwa amawanga ga Afrika amalala essuubi nti obutak­kaanya mu by’okulonda omukulembeze w’eggwanga busobola okumalirwa mu kkooti mu bwenkanya.

Abakulira okulonda beetaaga bbiriyooni 1500 okutegeka okulonda okulala

Akalulu k’Obwapulezidenti akaakaggwa (akaasaziddwaamu eggulo) kaataddewo likodi bwe kaafuuse akalulu akakyasinze okuba ak’ebbeeyi mu Afrika mwonna.

Abatunuulizi b’ebyokulonda baabalirira nga bbiriyooni ddoola emu ye yasaasaa­nyiziddwa mu kulunda okwo.

Gavumenti ya Kenya yalaga nti akakiiko akatwala ebyokulonda aka Independent Elec­toral and Boundaries Commision (IEBC) kaali kaakukozesa doola obukadde 413 (1,490,930,000,000 mu za wano) nga zino bagamba zibayamba okufuna abakozi, okugula ebikozesebwa mu kulonda, kw’ossa n’okutambuza obululu.

Kino kitegeeza nti gavumenti ya Kenya erina okuddamu okunoonya ssente zino oba n’okusingawo okusobola okuddamu okutegeka okulonda. Mu Kenya buli mulonzi bamubalirirwa okuba nga ba­musasanyako doola 25 n’obutundutundu 4 (91,694 mu za wano) era ly’eggwanga erisinga okusaasaanya ssente ennyingi ku buli mulonzi.

Mu Uganda babalirira okuba nga buli mulonzi gavumenti emusasanyako doola 4 (14,440 mu za wano).

Ebyenfuna bigenda kukosebwa

Nga tebannagenda mu kalulu kano, ebyenfuna by’eggwanga byaserebye olwa bbeeyi y’ebintu okulinnya nad­dala bbeeyi y’emmere eyabadde efuuse ey’ekkekwa.

Okulonda bwe kwatuuse bamusigansimbi abamu beeteguddeko ne bayingira mu Uganda n’amawanga amalala olw’okwekengera ebinaddirira okulonda.

Kati okulangirira okuddamu okulonda kyongera mbiranye mu bibiina ebivuganya n’okussa abantu ku bunkenke.

Okutambuza ebyamaguzi

Omwalo gw’e Mombasa gwe gusinga okukozesebwa wano mu buvanjuba bwa Afrika.

Buli Kenya lw’ebeera n’okulonda, amawanga nga Uganda, South Sudan, Rwanda agakozesa omwalo guno okusaa­baza ebyamaguzi byago gafuna obuzibu mu byenfuna . Uganda esobola okukozesa omwalo gwa Tanzania ogwa Dar es Salaam kyokka gubeera wala nnyo ku Bannayu­ganda era gumaliriza ebbeeyi y’ebintu erinnye.

Noolwekyo ennaku 69 ezigenda okuddirira okuddamu okulonda zijja kuba za bwerende naddala mu basuubuzi b’amawanga gano abasaabaza ebyamaguzi okubiggya e Mombasa.

Wiiki ewedde, abasuubuzi be mmotoka bavayo ne balajana nti nnyingi ku mmotoka zaabwe zigenda kufiira e Mombasa kubanga zirud­deyo ekiwalirizza bbeeyi yaazo okulinnya.

Oluvannyuma lw’okuddamu okulangirira okulonda, bangi ku basuubuzi emmaali yaabwe eyinza okulwa ku mwalo.

Kitegeeza ki eri ensi yonna?

Kkooti mu Kenya yeenywezezza era kati etunuulirwa nga eyeetengeredde etetambulira mu birenge bya Pulezidenti. Kino kyongedde okunyweza Kenya nga eggwanga eririmu demokulaasi mu Afrika.

Abatunuulizi b’ebyokulonda abava mu mawanga ag’enjawulo okwali ne Thabo Mbeki baavayo ne balaga nga okulonda kwa Kenya bwekutalimu kyeekubira kwonna kyokka ebivudde mu balamuzi kulaze nti ebintu babiraba bubi.

UHURU AGUMIZZA BANNAKENYA

Uhuru Kinyatta ayogedde eri eggwanga n’agamba nti takkiriziganya na byasalid­dwaawo balamuzi kyokka akkirizza okugondera byonna bye baasazeewo.

N’agamba tuddeyo mu bantu basalewo.’’ Bannakenya baasiiba mu musana olunaku lulamba nga bali mu nnyiriri bakuba akalulu. Abantu mukaaga bokka bakyusa batya ebyas­alwawo obukadde n’obukadde bw’abantu.’’

Obubaka bwe eri Ban­nakenya bwa kukuuma mirembe. N’agamba nti muliraanwa wo wa mugaso gy’oli awatali kufaayo ku ndowooza ya byabufuzi oba eddiini gy’asoma. Noolwekyo kikulu okukolagana n’okwagalana okuny­weza emirembe. 

 Obuwumbi bwa ssente buyiise 

 SSENTE ZE BAAKOZESA OKUTEGEKA AKALULU

Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Daily Nation. Nga bategeka akalulu kano, amawulire agaafuluma mu 2016 nga bategeka embalirira baateekamu obuwumbi 45 obwa ssente za Kenya.

Okusinziira ku mbalirira, obuwumbi bwa Kenya 30 bwakozesebwa kutegeka kulonda obulala 15 ne bukozesebwa mu nteeka­teeka z’akalulu endala. Ebitundu 10 ku 100 ku mbalirira eyo ze zaava mu bagabirizi b’obuyambi.

Kwe kulonda okukyasinze okubeera ok­webbeeyi ennyo mu buvanyuba bwa Afrika. Mu kutegeka okulonda kwa 2013, akakiiko kaasaba obuwumbi bwa Kenya 25 ne babawa obuwumbi 17 okutegeka okulonda kwonna.

Okulonda kuno akakiiko kaalangirira nga Uhuru yafunye obululu 8,203,290 (54.27%) Raila n’afuna 6,762, 224 (44.74).

AKAKIIKO KAGENDA KUVUNAANIBWA

Odinga yategeezezza nti tebakyayinza kwesiga kakiikoo kano ku ngeri gye kakolamu emirimu. “Tetukyalina bwesigwa mu kakiiko k’ebyokulonda, bakoze ebivve bingi. Abakungu baako basaana kuvunaana” Odinga bwe yag­gumizza.

Yagambye nti bangi ku bo bw’abatunuulira alaba nga bawunya ekkomera.

N’olw’ensonga eyo tugenda kusaba bavunaanibwe. Okusin­ziira ku bulamu bwaffe tuteekwa okutangira eggwanga lyaffe, bano baatyobodde Ssema­teeka ne bakuba ebituli mu kulonda kwaffe.

Ebyo yabyogedde tebannaba kusala mu­sango kyokka nga guwedde yategeezezza nti abalamuzi abaasaze nga bagamba nti omusan­go gwe yawaabye temuli, yajulizza ebigambo bya Ssaabalamuzi Maraga nti ka balinde ensala ya kkooti mu bujjuvu mu nnaku 21 ga bwe yasuubizizza.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Wafula Chebukati yategeezezza nti balinda nsala y’akakiiko kyokka singa kinaazuulibwa nga waliwo abakozi b’akakiiko abeenyigira mu mivuyo egyogerwako, buli omu waakuvunaan­ibwa ng’omuntu.

Akatale k’emigabo mu Kenya kaggaddewo okumala eddakiika 30 nga kkooti erangiridde nti basazizzaamu obuwanguzu bwa Uhuru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...