TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Eyakulembedde Odinga okusazaamu Uhuru azze yeediima okuva mu ssomero

Eyakulembedde Odinga okusazaamu Uhuru azze yeediima okuva mu ssomero

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2017

JAMES Aggrey Orengo munnamateeka eyakulembeddemu Bannamateeka abaawolerezza omukago gwa NASA mu kkooti ensukkulumu okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru.

Orengo1 703x422

Munnamateeka Orengo

JAMES Aggrey Orengo munnamateeka eyakulembeddemu Bannamateeka abaawolerezza omukago gwa NASA mu kkooti ensukkulumu okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru.

Ono azze awakanya buli Gavumenti eri mu buyinza.

Yagenda e Madagascar okusoma ne yeegatta n’abayizi ne bakulemberamu okwekalakaasa okwaggyako Pulezidenti Philibert Tsiranana.

Yali musaale mu kulwanyisa Pulezidenti Daniel Arap Moi okusumulula ebibiina byobufuzi e Kenya.

Orengo yazaalibwa 1951. Yasoma mateeka mu University Of Nairobi nga munnabyabufuzi ali mu kibiina kya Orange Democratic Movement (ODM) ekya Odinga.

Abadde mu bifo eby’enjawulo ng’omubaka wa palamenti, minisita, atwalibwa okubeera omu ku bannamateeka abasinga obulungi e Kenya.

Abawagizi be olumu bamuyita Jim oba Bob ng’era muganzi mu bantu bawansi olw’okulwaniriranga ebibaluma.

Alina abaana musanvu ne mukyala we Betty Murungi naye munnamateeka.

EBYEWUUNYISA MU BULAMU BWA OREMGO:

 • Yava buto nga musajja muwakanyi. Yali ku ssomero mu kisulo ng’awa abakulembeze b’abayizi obuzibu. Olumu yasigalanga mu kisulo ng’agamba nti mulwadde kyokka nga bwe bamugamba okugenda mu ddwaaliro ng’abategeeza nti bw’awummulamu ne yeebaka asobola okutereera.
 • Baamugoba emirundi mingi ku ssomero olw’effujjo n’okujeemera by’alowooza nti bimunyigiriza.
 • Bamwogerako nga munnabyabufuzi asibiddwa ennyo nga tewali kaduukulu ka poliisi e Nairobi ke batamusibiddemu. Yategeeza nti olumu yeeraliikirira poliisi bwe yamukwata n’emukuba nnyo omwana we eyali mu S.3 n’asaba emmundu abakube amasasi.
 • Agamba nti abeera mumativu ng’akulembeddemu ensonga erimu okunyigiriza abalala n’agiwangula awatali kuyiwa musaayi.
 • Ku yunivasite yeenyigira nnyo mu kukulembera abayizi okwekalakaasa olw’ensonga ennene nga lwe baatemula JM Kariuki mu 1975.
 • Ajjukira bwe yali pulezidenti wa University Of Nairobi n’akulemberamu okwekalakaasa nga bawakanya Abayindi n’Abazungu. Abayizi bangi Abafi rika omwaka ogwo baali bagudde nnyo ebigezo.
 • 2007 – 2013 yali minisita mu gavumenti y’omukago gwa Raila Odinga ne Mwai Kibaki wabula yategeeza nti buli lwe yalabanga ebitatambula bulungi ng’ayagala kukunga bantu beekalakaase.
 • Olumu yali mubaka mu palamenti nga balonze Musalia Mudavadi ku bwa minisita. Yagera Mudavadi atudde wakati wa Moi ne Nicholas Biwoti n’amutegeeza nti asobola okukulaakulana n’atuuka ku bifo ebya waggulu ssinga ayawukana ku mpisi ze yali atudde wakati. Sipiika yamuteeka ku nninga akimenyewo n’agaana, bwe yamuteekako akazito n’ategeeza nti: “kale neetondera empisi zonna eziri mu palamenti eno” Sipiika yalagira ne bamukasuka ebweru.
 •  Yabadde musaale mu kuteeka akakiiko k’ebyokulonda ku nninga okuteeka mu nkola enkyukakyuka kkooti ensukkulumu ze yasemba zikolebwe mu musango gwe baawawaabira Uhuru mu 2014.
 • Yatabukako ne Odinga mu gya 1990 ne bava mu kibiina kya Ford Kenya. Yavuganya ku bukulembeze bwa Social Democratic Party, kyokka kati balinnya mu kimu ne Odinga.
 • Emyaka gya 1980 yawangangukira e Uganda, Tanzania ne Zimbabwe.

Abajaasi ba Kenya Air Force abaayagala okuwamba Moi mu 1982 baddukira e Tanzania.

Ab’e Tanzania abaayagala okuwamba Nyerere baddukira Kenya, Moi yawa akakwakkulizo nti okubawaayo ayagala Tanzania esooke emuwe Orengo n’abajaasi.

Kino kyakolebwa ne bamuzza e Kenya ne bamusiba.

Yategeeza nti baamukuba n’okumutulugunya okw’engeri yonna. . Abamawulire abazze batambula naye okukuba ebifaananyi n’okuwandiika ku nkung’aana z’akuba, bwe bataakubibwanga miggo nga babakuba ttiyaggaasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala3 220x290

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza...

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba...

Unity 220x290

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti...

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte...

Kalekayihuraindeepthoughts 220x290

Abaserikale batulugunya batya abantu...

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….....

Nyiiga 220x290

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye...

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza...

Noda 220x290

Mmotoka ya Kitatta nayo eri ku...

ABDALLAH Kitatta we yabeerera omuyima wa Bodaboda 2010, alina abantu naddala aba bodaboda be yanyiiza ne be yakoleranga...