TOP

Engeri abazigu gye basse Omuchina

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2017

Abaddukanya kkampuni ya Nile Still and plastics limited ku kyalo Nangwa ekisangimbwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono n’okutuusa kati bakyasobeddwa engeri abazigu gye baayise ku bakuumi baabwe ne batemula omu ku badayirekita.

Muchina1 703x422

Ambyulensi ya poliisi ng’etwala omulambo gwa Yond Yang Yesu okuva ku ddwaaliro e Mukono.

Bya MUSASI WAFFE

Abaddukanya kkampuni ya Nile Still and plastics limited ku kyalo Nangwa ekisangimbwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono n’okutuusa kati bakyasobeddwa engeri abazigu gye baayise ku bakuumi baabwe ne batemula omu ku badayirekita.

Yadde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura n’atwala poliisi ya Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa baatuuse mu kifo kino ne beekenneenya akatambi ka CCTV kkamera mu kifo kino, we baaviiriddeyo nga bakyatakula mitwe ku ngeri abazigu gye bajjidde ku bodaboda ne bakuba omukazi ate ne batamuggyaako ssente.

Ekirala ekikyabasobedde, ye Muchina alabikira mu katambi ng’agoba abatemu abaabadde ku bodaboda ate n’atalabula abakuumi ba ggeeti okugiggala era ne bafuluma.

Eyakubiddwa amasasi y’abadde atereka ssente mu kkampuni eno era yafudde ng’atuusibwa mu ddwaaliro lya Mukono Church of Uganda.

Omugenzi ategeerekese nga Yond Yang Yesu abadde muka nnannyini kkampuni eno, amanyiddwa nga XU-Zaiwang.

Okusinziira ku kkamera eziri mu kkampuni eno, abazigu bazze mu ssaawa z’amalya g’ekyemisana ne bategeeza omukuumi ku ggeeti ya kkampuni nti bazze kugula mabaati.

Teyabakebedde kulaba kye balina, n’abaleka ne bayingira.

Olwatuuse munda, baatudde bulungi mu ntebe, olwo omu n’aggyayo pisito n’akuba Yang amasasi.

Yamulese agudde ng’obulamu bugenda, ne yeegatta ku munne bakira obwedda ali ku mulyango okulaba nga tewali abalaba.

Baafulumye ne balinnya bodaboda gye bajjiddeko ne beggyawo.

Nga Yang yaakakubwa amasasi, bba yayigidde mu ofiisi n’amusanga ng’ali mu mbeera mbi. Yamuyoddeyodde ne bamuddusa mu ddwaaliro.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura ne Frank Mwesigwa, akulira poliisi mu Kampala n’emiriraano baasitukiddemu ne boolekera Mukono balabe ogubadde.

Baasookedde mu ddwaaliro e Mukono oluvannyuma ne bagenda ku kkolero lino gye baasisinkanidde bannannyini lyo.

Kayihura yalabiddwaako nga yeekenneenya abazigu bano engeri gye basseemu Omuchina.

Ye Frank Mwesigwa yategeezezza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso kuba baafunye ebifaananyi by’omutemu.

Wabula obunafu yabutadde ku bakuumi ba kkampuni eno obutafaayo kwaza bantu abayigira.

Bino we bijjidde nga n’omwaka oguwedde abazigu baalumba kkampuni eno ne bateeka bba w’omugenzi ku mudumu gw’emmundu ne bamunyagako obukadde 170.

Wabula bano oluvannyuma baakwatibwa era ne basibwa emyaka musanvu.

Laba vidiyo wano;

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu