TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baloopedde Museveni abaagala okubba ettaka ly’abasikawutu

Baloopedde Museveni abaagala okubba ettaka ly’abasikawutu

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2017

Museveni mu kumwanukula, yagambye nti tayinza kuteeka basikawutu mu minisitule y’abavubuka n’abaana, n’abateeka mu minisitule y’ebyenjigiriza.

Scouts1 703x422

Pulezidenti Museveni nga bamwambaza omudaali okumusiima olw’emirimu gy’akoledde obusikawutu mu Uganda.

Bya Joseph Makumbi

PULEZIDENTI Museveni alagidde ettaka ly’Abasikawutu e Kaazi lissibweko olukomera okusobola okutangira abaagala okulibba abagamba nti baaligula mu 1984.

Museveni ekiragiro kino yakiwadde ku Lwokutaano bwe yabadde aggalawo olukuhhaana lw’Abasikawutu olumaze wiiki nnamba ng’Abasikawutu okuva mu masomero 263 babangulwa mu bintu eby’enjawulo e Kaazi.

Museveni ye muluhhamya w’Abasikawutu era okuggalawo olukungaana luno, yabadde mu biti bibiri okuli eky’omuluhhamya n’ekya Pulezidenti w’eggwanga.

Baamuwadde n’omudaali okumusiima olw’emirimu gy’akoledde obusikawutu mu Uganda.

Yagambye nti okuva obuto ng’awulira nti ettaka ly’e Kaazi lya basikawutu ate kijja kitya okuba nga waliwo abagamba nti baaligula era balina n’ekyapa!

Yagasseeko nti, ettaka lino abadde yaakalisuuza ababadde baagala okulibba, kwe kulagira lissibweko bbugwe mu bwangu nga tewannavaayo balala baagala kulitwala mu mankwetu.

Era yalagidde ssentebe w’ekibiina ekigatta Abasikawutu mu ggwanga, Lucy Nakyobe okufuuyira ensiri mu kibira ky’e Kaazi abaana abagendayo okutendekebwa baleme kulwalirayo musujja.

Kaminsona w’abasikawutu mu ggwanga, Gen. Katumba Wamala, yamusindidde ennaku gye balimu n’amutegeeza nti balina olukungaana lwe bategeka mu December nga beetaaga obukadde 750 wabula tebamanyi waakuziggya kuba tebalina minisitule mwe bagwa.

Museveni mu kumwanukula, yagambye nti tayinza kuteeka basikawutu mu minisitule y’abavubuka n’abaana, n’abateeka mu minisitule y’ebyenjigiriza.

“Okuva leero, abasikawutu bali wansi wa minisitule y’ebyenjigiriza kubanga ebisinga obungi ebikolebwa mu busikawutu byanjigiriza,” Museveni bwe yabategeezezza.

Katumba Wamala yagambye nti, bafunye ku buweerero kubanga we babadde, bulijjo tebalina bajeti ate nga balina abakozi ab’okusasula era ne bye baagala okukola bituuse okutambulanga obulungi.

Katumba Wamala yayanjulidde Museveni enteekateeka ze balina ne mikwano gyabwe egibayambyeko okukulaakulanya Kaazi omuli n’Abachina abaabazimbidde ekidiba ekiwugirwamu kye yatongozza nga yaakatuuka e Kaazi.

Bwe yamaze okutongoza ekidiba, Museveni yasimbye omuti n’oluvannyuma n’alambula ennyiriri z’Abasikawutu n’abawa obukadde 50 n’ateeka n’omukono ku kiwandiiko oluvannyuma nabo ne bamuwa ebirabo okwabadde entebe, ebifaananyi okwabadde ekikye n’ekya mukyala we Janet

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...