TOP

Omukazi agabye omulambo mu kika ekirala

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2017

Oluvannyuma lw’okukakasa nti, Ssettuba azaalibwa mu kika kirala abatuuze abaabadde tebannaba kuwa mabugo baagaanyi okuddamu okugawa.

Nabakooza 703x422

Nabakooza (ku ddyo) ng’akaabira mutabani we.

Bya HENRY KASOMOKO

OMUKAZI awuniikirizza ekyalo bw’akawangamudde nti omwana Isma Ssettuba 19, gwe bazze balaba mu maka ga bba olufudde n’ategeeza nti wa musajja mulala.

Amawano gano gabadde ku kyalo Bujuuko ku luguudo lw’e Mityana ku Lwokuna.

Ssettuba abadde muvuzi wa bodaboda ku siteegi y’e Bujuuko. Yafudde oluvannyuma lw’okupangisibwa abatemu ku Lwokusatu okubatwala e Kisammula ne bamukuba.

Ssettuba yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago eno maama we Norah Kayongo Nabakooza mukyala wa Sayid Kayongo omutuuze w’e Bujuukko - Naalya gye yakawangamulidde nti, Ssettuba yamuzaala Lugazi ew’omugenzi Jodolosi Ssebayigga.

 

Kyokka Sayid Kayongo yabadde amaze okukola entegeka nga batandise n’okusima entaana e Mukono - Mbizzinnya aziikibwe.

Nabakooza yalabye entegeka z’okuziika zitambula bukwakku n’amira ppini n’akawangamula nti omugenzi yamuzaala ew’omugenzi Ssebayigga e Lugazi.

Wano abantu abaabadde bavudde e Bujuuko okunona omulambo gwa mutuuze munnaabwe ebintu ne bibasobera.

BAGOBYE OMULAMBO MU NNYUMBA

Omulambo nga gumaze okuggyibwa ku ggwanika nga gutuuse e Bujuuko, mu maka ga Kayongo, abatuuze baaguziyizza obutayingizibwa mu nnyumba nti lino liba jjoogo.

Edward Ssebwere omu ku batuuze yategeezezza nti, amaze emyaka 19 ng’alaba abafumbo bano nga bali bombi era kyamwewuunyisizza okuwulira nti ono yamuzaala mu kika kirala.

MAAMA W’OMWANA AYOGEDDE

Nabakooza yategeezezza nti kitaawe w’omugenzi omutuufu ye Jodolosi Ssebayigga nga yali abeera Lugazi ku kyalo Mbubbu n’ategeeza nti omwami we yagenda okumufuna ng’ali lubuto lwa myezi esatu.

Yannyonnyodde nti, yali abeera Kasubi yekka era lumu enkuba yatonnya n’emenya ennyumba ye Kayongo n’amutwala ewuwe e Nateete ne bafuuka bafumbo kati emyaka gyekulungudde 19.

KAYONGO ATANGAAZA

Yategeezezza nti yali tamanyi nti ebigambo mukazi we bye yamugamba mu kusaaga nti bituufu.

Kayongo yategeezezza nti baakamala ne Nabakooza emyaka 19 era nti buli kyama kye akimubuulira.

BAGAANYI OKUWA AMABUGO

Oluvannyuma lw’okukakasa nti, Ssettuba azaalibwa mu kika kirala abatuuze abaabadde tebannaba kuwa mabugo baagaanyi okuddamu okugawa.

Era baagaanyi n’okuwerekera ku mutuuze munnaabwe Nabakooza okuziika mutabani we e Lugazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191122at145535 220x290

Amataba gasazeeko enkulungo y'oku...

Enkuba efudembye mu Kampala n'emiraano mu budde bw'amalya g'ekyemisana egootaanyizza entambula ku nkulungo y'oku...

Mosesmagogo 220x290

Ebya Moses Magogo bibi!

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying....

Klezia etegese okusabira Novena...

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena...

Film1 220x290

Embooko z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...