TOP

Nigeria ne Morocco zaagala kukiika

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2017

TTIIMU z’Afrika ez’amannya zoolekedde okulabira World Cup y’omwaka ogujja e Russia ku ttivvi singa tezirinnyisa mutindo gwazo mu mipiira egizannyibwa leero n’enkya ku Lwokubiri.

Obi1 703x422

Simon Moses, Obi Mikel ne Odion Ighalo aba Nigeria nga basanyukira emu ku ggoolo ze baakubye Cameroon. Badding'ana nkya e Cameroon.

Egyazannyiddwa mu World Cup:  Uganda Misiri  Guinea Libya  Ghana Congo  Nigeria Cameroon  Cape Verde South Afrika  Tunisia DR Congo  Morocco Mali  

Leero (Mmande);  

Cameroon - Nigeria, 2:00 SS3  

Libya - Guinea, 4:00 SS3  

Lwakubiri;  

Congo - Ghana, 11:30  

South Afrika - Cape Verde, 2:00 SS4  

Congo DR - Tunisia, 2:30  

Ivory Coast - Gabon, 2:30  

Burkina Faso - Senegal, 3:00  

Misiri - Uganda, 3:00 SS3  

Mali - Morocco, 4:00  

Algeria - Zambia, 4:30 Select  

TTIIMU z’Afrika ez’amannya  zoolekedde okulabira World Cup  y’omwaka ogujja e Russia ku ttivvi  singa tezirinnyisa mutindo gwazo  mu mipiira egizannyibwa leero  n’enkya ku Lwokubiri.

Ttiimu okuli;  Cameroon, Algeria ne Ghana zonna  ezaakiikirira Afrika mu World Cup  ya 2014 e Brazil, ziri mu buzibu era  bwe zitawangula mipiira gyazo giddako,  ebintu bijja kuzibijjirira.

Tunisia eriisa buti mu kibinja A:  Mu kibinja kino, Tunisia, eri bulungi  era bw’ekuba DR Congo gy’egenda  okukyalira enkya, ejja kuba eyitamu  okugenda e Russia.

Mu mipiira  esatu Tunisia gye yaakazannya, erinamu  obubonero mwenda ate nga  ne DR Congo bwe bavuganya mu  kibinja kino, yakubiddwa omupiira  ogwasembyeyo nga Tunisia erina  kugwa maliri okubeera n’enkizo mu  kibinja kino.

Ttiimu endala eziri mu  kibinja kino kuliko Guinea ne Libya  nga zino ne bwe kubaako awangula  munne (battunka enkya) tebasobola  kuggya Tunisia ku ntikko.

Cameroon by’esiba bye bikutuka:  

Mu kibinja B, Nigeria nayo eyabaddeyo  mu World Cup ya 2014, eyolekedde  okulemesa Cameroon (bwe  baaliyo) singa egiggyako akabonero  mu nsiike ya leero egenda okuzannyibwa  mu kibuga Yaoundé ekya  Cameroon.

Mu gwazannyiddwa ku  Lwokutaano e Nigeria, bannyinimu  baawuttudde Cameroon ggoolo 4-0  ne baweza obubonero mwenda mu  mipiira esatu nga Zambia ebaddiridde,  eri ku buna.

Kitegeeza  nti Nigeria yeetaaga kuwangulayo  omupiira gumu gwokka yeesogge  ez’akamalirizo. Algeria, ye ttiimu endala  eri mu buzibu mu kibinja kino.  

Yakubiddwa Zambia ggoolo 2-1 ku  Lwomukaaga nga kati mu mipiira  esatu gye yaakazannya, erinamu  akabonero kamu kokka ekimalawo  emikisa gyayo egy’okuyitawo.

Algeria  ne bw’ewangula emipiira gyayo  esatu eweza obubonero 10 ekiyinza  okuba ekizibu kuba mu mipiira  egyo esatu, ne Nigeria ekulembedde  mw’eri.  

Morocco ne Ivory Coast battunka:  

Ekibinja C kikyalimu enkalu nga bakirimaanyi  ababiri, Morocco ne Ivory  Coast buli omu akyali ku mbiranye  mu kulwanira ekifo ekisooka.

Ivory  Coast yeekulembedde ekibinja kino  oluvannyuma lw'okukuba Gabon  (3-0) ku Lwomukaaga n'egenda ku  bubonero 7 ate Morocco eyatimpudde  Mali ggoolo 6-0, eri mu  kyakubiri n’obubonero 5.

Kitegeeza  nti Morocco erina okugenda mu  kibuga Bamako ekya Mali eggyeyo  obuwanguzi bw’eba yaakutangaaza mikisa gyayo okuyitamu mu kibinja  kino.

Emikisa gya Mali ne Gabon  okukiika mu World Cup mitono ddala  kuba zirina okusabirira be zivuganya  bakubwe ate zo ziwangule emipiira  gyazo gyonna egibulayo mu kibinja.  

South Afrika egutuddemu;  Wadde nga ye yasoose okuteeba  ng’ekyalidde Cape Verde ku bizinga,  ebintu byefuukidde South Afrika  n’ekubwa omupiira ogwabadde omukulu  ennyo.

South Afrika yazze mu mupiira  gwa Cape Verde ku Lwokutaano nga  yeetaaga buwanguzi bwokka eggyeyo  Burkina Faso ku ntikko y’ekibinja D  kyokka ne bigaana.

Burkina Faso yakoze  amaliri ne Senegal (0-0) nneesigala nga  yeetisse ekibinja.

Omutendesi wa South  Afrika, Stuart Baxter yagumizza bannansi  nti alina essuubi nti bagenda  kukuba Cape Verde gye bakyaza  awaka batangaaze emikisa  gy’okuyitamu okuzannya  World Cup.

South Afrika yasemba okuzannya  World Cup mu 2010 mu mpaka  ezaali ku butaka era bannansi bagamba  nti ennyonta y’empaka zino ebatta.  

Ghana bw'etekuba Congo ewa nduka:  Mu kibinja E, ensiike zombi ezigenda  okuyinda enkya zigenda kubeerako  n'obugombe.

Ghana egenda kuba  erwana okufiirawo ewangulire Congo  Brazzaville omwayo sso nga ne Uganda  yaakusiitaana okulaba ng'ewangulira  e Misiri okusigala mu kibalo  ky'okuyitamu.

Ghana yalemaganye ne  Bungereza togyesiga  Woodburn ayingidde ebyafaayo  Simon Moses, Obi Mikel  ne Odion Ighalo aba Nigeria  nga basanyukira emu  ku ggoolo ze baakubye  Cameroon.

Badding'ana  nkya e Cameroon.  Congo (1-1) n'esigala mu  kyokusatu ku bubonero 2  sso nga Misiri okukubwa  Uganda (1-0) ku Lwokuna,  kyagikoze bubi kuba yavuddeyo  ku ntikko y'ekibinja.

Ghana bw'ekubwa Congo  emikisa gy'okuyitamu gijja  kuba giweddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...