TOP

Owa wiiki emu bamulonze ku kasasiro

By Paddy Bukenya

Added 5th September 2017

OMUKAZI eyasudde bbebi owa wiiki bbiri ku siteegi ya takisi e Mitala Maria ku luguudo lw’e Masaka, poliisi emunoonya.

Weekemu 703x422

Bregina Gini Pulelen n’omwana eyasuuliddwa.

Bya PADDY BUKENYA
 
OMUKAZI eyasudde bbebi owa wiiki bbiri ku siteegi ya takisi e Mitala Maria ku luguudo lw’e Masaka, poliisi emunoonya.
 
Ku ssaawa 1:30 ez’oku makya, ku Mmande, omukazi yagenze ku siteegi y’e Mitala Maria mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi ng’alina omuntu gw’ayogera naye ku ssimu eno nga bwe yeesooza.
 
Yatambudde mpola ne yeetooloola akayumba ka ‘Mobile Money’ omwana gye yamusudde.
 
Gamadrine Makaya, akolera ku siteegi eno agamba nti yawulidde omwana akaaba nga tasalako n’agenda okulaba ekyabadde kimutuuseeko kyokka kyamubuuseeko okusanga ng’asuuliddwa ku kasasiro.
 
Makaya yagambye nti yayise ow’ebyokwerinda naye eyayise poliisi y’e Buwama ne bagezaako okutaayiza omukazi gwe, baabadde basuubira nti yamusudde kyokka n’ababula.
 
Jude Ssemanda, agamba nti yalabye omukazi nga yeetooloola emabega w’akayumba yategeezezza poliisi nti yamuwulidde ng’ayogera ku ssimu ng’alabika yabadde ayogera ne taata w’omwana era baabadde nga abayomba.
 
Ssemanda yagambye nti olwamaze okwogera ku ssimu n’agenda emmanju w’akayumba gye yasudde omwana.
 
Poliisi y’e Buwama yaggyeewo omwana n’emutwala e Mpigi era akola ku nsonga z’amaka n’abaana ASP Glorian Nakiboneka n’amukwasa Bregina Gini Pullen owa The Home of Hope and Dreams e Kyasanku mu Mpigi Town Council bamulabirire nga poliisi bw’enoonya maama we avunaanibwe.
 
Abatuuze b’e Mitala Maria baategeezezza nti kitaawe w’omwana ono yandiba nga wa mu kitundu kino ng’omukazi yabadde amumuleetedde amuwe obuyambi kyokka n’amwekweka kwe kusalawo okumusuula.
 
Baasabye abazadde abakazi okuguma n’abaana baabwe okusinga okubasuula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...