TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyizi w'ekyambogo afumitiddwa ebiso mu bbaala ya Massi e Banda

Omuyizi w'ekyambogo afumitiddwa ebiso mu bbaala ya Massi e Banda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2017

Omuyizi w'ekyambogo afumitiddwa ebiso mu bbaala ya Massi e Banda

Do1 703x422

Omuyizi eyafumitiddwa ebiso ng'apooca n'ebiwundu ku kitanda

Bya Prossy Kalule

OMUYIZI w’e kyambogo afumitiddwa ebiso mu ndira ekyenda ne kifuluma bw’abadde mu ndongo ne banne e Banda.

Bwe bamaze okumufumita kwe kumuwalula okumufulumya mu Bbaala nga bwe bamwambula engoye mwabadde kyokka abayizi banne babalabuukiridde ne bamubasiko wakati mu kukuba enduulu kwe kumuta ne badduka.

Albert Oluka omuyizi mu yunivasite y’e Kyambogo ng’akola ssomo lya BAF (bachelor of accounting and Finance )y'aleeteddwa mu dwaliro e Mulago nga yenna aleebaleeba oluvannyuma lw’okufumitibwa ekiso mu ndira ne kimuyuza ekyenda.

 

Bino by'abaddewo ku ssaawa 6:00 ez’ekiro ky’o Lwokuna mu kifo ekibeeramu endongo ne bbaala nga bakiyita  Massi e Banda omuyizi bwe yabadde ne banne abantu b’ettima kwe kumufumita ekiso mu ndiira.  

Kigambibwa nti Oluka yabadde ava ku mupiira gwa Namboole  ne banne kyokka  Uganda bwe yawangudde ttiimu endala abayizi ababadde ku kisaawe kwe kusalawo okugya mu kifo kino olusanyuka.

Mukwano gwe Micheal Egongo ng’ono bwe basula mu kisenge ekimu ategeezezza nti yabadde y’esudde akabanga ku kifo kino kwe kulengera abasajja basatu nga bawalula omuntu okumugya mu bbaala eno kyokka nga bwe bamwambula engoye.

‘’Nnalabye bamuwalula banguwa okumwambula kyokka nga waliwo abayizi ababagoberera  kwe kusembera wano we nalabidde nga  ye mukwano gwange ,wano we yawogganidde n’atugamba n’abayizi bwe twabadde nti bamukutte n’okumwambula be bamufumise kyokka tayina bw’abayita era yabadde tamanyi gye bamutwala.”  

Abayizi olw’awulidde kwe kutandika okukuba enduulu nga bwe basikambula munnaabwe ku gasajja kyokka bwe babasinzizza amaanyi abasajja kwe kubulawo n’engoye.

Bafunye piki piki eyabatutte mu ddwaliro e Nsambya kyokka olw’embeera embi gye yabaddemu abasawo kwe kubalagira okumuleeta e Mulago kati jajanjabibwa mu waadi y’abebisago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe