TOP

Owa North Korea aggyeeyo bbomu endala

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2017

AKASATTIRO keeyongedde mu kitundu kya Korea Peninsula bwe kizuuse nti North Korea tennaweera, eteekateeka kutulisa bbomu nnamuzisa endala ekubisaamu emirundi 12 mu bbomu gye yatulisizza ku Lwomukaaga n’ereeta Musisi mu mawanga ag’omuliraano okuli China, Russia ne South Korea.

Mizinga1 703x422

Emizinga gya Hyunmoo II, South Korea gye yatulisizza eggulo.

SEOUL

AKASATTIRO keeyongedde mu kitundu kya Korea Peninsula bwe kizuuse nti North Korea tennaweera, eteekateeka kutulisa bbomu nnamuzisa endala ekubisaamu emirundi 12 mu bbomu gye yatulisizza ku Lwomukaaga n’ereeta Musisi mu mawanga ag’omuliraano okuli China, Russia ne South Korea.

Bbomu ya North Korea gye yatulisizza ku Lwomukaaga ey’ekika kya Hydrogen bomb (H-bomb) yakanze Amerika n’amawanga gakirimaanyi olw’amaanyi n’obulabe bwayo ng’ekubisaamu emirundi munaana bbomu nnamuzisa Amerika gye yakuba n’esaanyaawo ekibuga kya Japan ekya Nagasaki nga August 9, 1945.

 bomu nnamuzisa ekika kya omb ulezidenti wa orth orea im gyategeka okutulisa Bbomu nnamuzisa ekika kya H-Bomb, Pulezidenti wa North Korea, Kim gy’ategeka okutulisa.

 

Era ekubisa emirundi esatu mu bbomu nnamusiza Amerika gye yakuba ekibuga Hiroshina nakyo ekya Japan nga August 6, 1945 nga bbomu zino zombi zaakutula Japan enkizi olwo Ssematalo owookubiri, ‘ World War II’ (1939-45) n’akoma awo.

Amaanyi ga bbomu nnamuzisa Amerika ze yakuba Nagasaki ne Hiroshima galabikira ku bantu be zattirawo Hiroshima (150,000) ne Nagasaki (80,000) ate oluvannyuma abantu abasoba mu kakadde baafa n’abalala ne batuusibwako ebisago eby’olubeerera olw’obutwa mu mibiri n’obulemu obulala.

Omukulembeze wa North Korea, Kim Jong Un olwamaze okutulisa bbomu nnamusiza ne yeewaana nti kati Amerika terina ky’esinga North Korea, kubanga nayo efuuse kirimaanyi era Pulezidenti Donald Trump bw’abaamu akakunkuna mw’ekyo, agezeeko okubalumbagana.

Bbomu eno, H-bomb, Kim Jong Un yagambye nti esobola bulungi okuyungibwa mu mutwe gwa mizayiro eyitibwa Hwasong-12 ey’ekika kya Intercontinental ballistic missile (ICBM) erina obusobozi obukuba n’okusaanyaawo ekibuga kyonna ku ttaka lya Amerika.

CHINA ESABYE OWA NORTH KOREA

China nga ly’eggwanga erisinga okukolagana ne North Korea bw’etegedde ku nteekateeka za Kim Jong Un okutulisa bbomu nnamuzisa endala, Pulezidenti Xi Jinping n’amusaba obutakikola kubanga okugezesa kwa bbomu eyasoose kwaleese obutabanguko mu kitundu okwabadde musisi eyayuuguumizza ebyalo ebyesudde mayiro 1,000 erudda n’erudda.

 akomando ba outh orea nga beetegekera olutalo Bakomando ba South Korea nga beetegekera olutalo.

 

Ng’oggyeeko okuyuuguuma ettaka, bbomu eya nukiriya North Korea gye yagezesezza, yavuddeko okugwa kw’ebbeeyi y’amakampuni ku butale mu mawanga aga Asia agasinga obungi omuli China, South Korea, Japan, Malaysia, Singapore, Taiwan, Hong Kong n’awalala ng’abantu batidde nti North Korea yandisaanyaawo ensi.

Pulezidenti Jingping yasabye Kim Jong Un obutaddamu kugezesa bbomu n’agugumbula ne Amerika olw’okukwata obubi ensonga za North Korea naddala enteekateeka eya Pulezidenti Trump okutiisatiisa okusumulula olutalo ku North Korea ng’akimanyidde ddala nti ekyo tekisoboka.

Jinping yazzeemu n’okuwera nti China tejja kukkiriza bya kussa nnatti z’ebyobusuubuzi ku North Korea kubanga okwo kuba kubonyaabonya bantu ba North Korea abaabulijjo abatalina kakwate ku byabufuzi bya Kim Jong Un.

Gye buvuddeko ekibiina ky’amawanga amagatte kyayisa ekiteeso ekyawagirwa amawanga gonna okuli China ne Russia okukaliga North Korea nnatti z’ebyobusuubuzi n’okussa ebibonerezo ebikakali ku makampuni agakola bizinensi ne North Korea kyokka lipoota eyafulumiziddwa ttivvi ya CNN ey’omu Amerika yalaze ng’ensalo ya China ne North Korea ekyayingiza n’okufulumya ebimotoka ebijjudde ebyamaguzi okuva e China nga biyingira mu North Korea.

S.KOREA NAYO EGGYEEYO MIZAYIRO NE YEEKAALIISA

Amerika n’amawanga bwe balinnya mu kimu nga Japan ne South Korea gaabadde gakyegeyaamu ku ky’okukolera North Korea, ne kizuuka nti Kim Jong Un tannaweera, aliko bbomu endala gy’ateekateeka okugezesa.

 

Kino kye kireeseewo akasattiro mu kitundu ekya Korean Peninsula, nga South Korea ky’ekoze, kwewaggula ku Amerika, Pulezidenti Mooon Jae-In n’alagira bajenero be okukuhhaanya emizinga ne mizayiro ne bazitulisatulisa mu bbanga okumpi n’ensalo yaabwe ne North Korea.

Egimu ku mizinga ne mizayiro South Korea gye yaggyeeyo kuliko ne Hyunmoo ballistic missiles ez’omutawaana nga zino bakira zikubwa okuva mu bimotoka by’amagye ng’egimu gigwa mu mazzi ate emirala nga South Korea yennyini egibaka n’egisaanyaawo nga yeeyambisa ebyuma bya Amerika ebiyitibwa Terminal High-Altitude Area Defense (THAAD).

Ekitongole ky’amawulire mu South Korea ekya Yonhap News Agency kyategeezezza nti ebyokulwanyisa South Korea bye yagezesezza kwabadde kuweereza Kim Jong Un bubaka nti bamwetegekedde ssinga agezaako okubakolako obulumbaganyi.

 TRUMP ATUUZIZZA BAGENERO

Wabula Amerika teyasanyukidde kya South Korea nayo okugezeza ebyokulwanyisa byayo nga kino Minisita wa Amerika ow’ebyokwerinda, Gen. James Mattis agambye nti kikontana n’amateeka g’ekibiina ky’amawanga amagatte.

Gen. Mattis yasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku White House bwe yabadde ava mu kafubo ne Pulezidenti Donald Trump okwegeyaamu ku kiddako oluvannyuma lwa North Korea okugezesa bbomu nnamuziza.

Trump yayise bagenero be ab’oku kitebe ky’ebyokwerinda Pentagon abaakuliddwa omuduumizi w’amagye ga Amerika, Gen. Joseph Dunford Jr. ne beevumba akafubo akeetabiddwamu n’akulira bambega ba Amerika ab’ekitongole kya Central Intelligence Agency (CIA) Mike Pompeo n’omuwabuzi wa Trump mu byokwerinda H.R. McMaster.

Gen. Mattis yategeezezza oluvannyuma lw’akafubo ako nti ekya Amerika okusaanyaawo North Korea ku maapu y’ensi yonna kati kisoboka ssinga Kim Jong Un kamutanda ne yeeyambisa bbomu eya nukiriya ku Amerika oba ensi yonna ey’ekinywi ne Amerika.

Pulezidenti Trump tannavaamu mwasi era akafubo ke ne bajenero bwe kaawedde, teyayogedde eri bannamawulire wadde okussa obubaka ku mukutu ogwa Twitter nga bw’atera okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo