TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni akungubagidde munnansiko eyabafumbiranga emmere

Museveni akungubagidde munnansiko eyabafumbiranga emmere

By Muwanga Kakooza

Added 5th September 2017

Museveni akungubagidde munnansiko eyabafumbiranga emmere

Mag2 703x422

Mini owa Gunoi naguli El'Hajji Nadduli ng'assa ekimu ku kkeesi y'omugenzi

PULEZIDENTI Museveni agambye nti bannansiko abeetaba mu lutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza beetaaga okuweebwa ekitiibwa olw’okununula eggwanga n’okuleeta emirembe Bannayuganda mwe beeyagalira. 

Museveni yagambye nti bannansiko bano abamu bayinza okuba nga ssi baggagga era nga tebalina bifo bisava mu gavumenti n’agamba nti abantu nga bano ekinene kye beetaaga kwe kussibwamu ekitiibwa.    

Bino byabadde mu bubaka obwamusomeddwa minisita atalina mulimu gwa nkalakalirira Haji Abdu Nadduli ku mukolo gw’okuziika Nnalongo Dorotia Kalibbala omu ku bannansiko abaafumbiranga abayeekera emmere.

Omugenzi ye maama wa munnamawulire omukubi w’ebifananyi owa Pulezidenti Jacob Kato. Okuziika kwabadde Buggala mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Pulezidenti yagambye Nnalongo yali mulwanyi atatya era eyawanga abayeekera emmere  mu lutalo lw’e Luwero olw’okulwanyisa omugenzi Obote olwaliwo wakati wa 1981 ne 1986.

Yagambye nti Nnalongo yawa abayeekera emmere mu lutalo luno olwafiiramu bba nenganda ze n’agamba NRM afiiriddwa omuwagizi n’omukunzi w’abantu atazzikewo.

Abamu ku bakungubazi kwabaddeko minisita wa pulayimale Rose Sseninde, omukungu w’amaka g’obwa pulezidenti  Maj. Gen. Proscovia Nalweyiso n’abakulembeze abalala bangi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...