TOP

Omusuubuzi w'oku Luwum bamutidde mu buliri

By Vivien Nakitende

Added 5th September 2017

OMUSUUBUZI w’engoye mu Kampala attiddwa mu ntiisa, abazigu bwe bamulumbye mu maka ge e Najjanankumbi ne bamufumita ebiso ebimuttiddewo, ekirese abatuuze nga batankana enfa ye.

Bakebwa1 703x422

Omugenzi Bakebwa (atudde) ne famire ye

Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUSUUBUZI w’engoye mu Kampala attiddwa mu ntiisa, abazigu bwe bamulumbye mu maka ge e Najjanankumbi ne bamufumita ebiso ebimuttiddewo, ekirese abatuuze nga batankana enfa ye.

Sam Bakebwa 54, omutuuze mu Kwota Zooni mu muluka gw’e Najjanankumbi II, mu munisipaali y’e Lubaga, ye yasangiddwa mu buliri bwe ng’attiddwa mu kiro ekikeesezza olwa Ssande.

Bakebwa abadde musuubuzi ng’alina edduuka eritunda n’okusuubuza engoye z’abakyala, engatto z’abakyala n’abaami n’ensawo, ku Luwum Street mu Kampala ku kizimbe kya “The Arcade”.

 oliisi ngeriko byebuuza mutabani womugenzi Poliisi ng'eriko byebuuza mutabani w'omugenzi

 

Yatemuddwa abantu abatannategeerekeka, abaamulumbye mu maka ge mu buliri bwe mu kiro ky’Olwomukaaga ne bamufumitafumita ebiso mu kifuba ne mu lubuto ebyamuggye mu budde.

Denise Kesiime, muwala w’omugenzi, abadde abeera naye awaka agambye nti, nnyina Winfred Kanyaheru Bakebwa abadde taliiwo nga yagenda mu mikolo gya kkanisa egy’ekibiina kya Mothers Union e Kabale gye yagenda ku Lwokuna, ye Denise n’asigala awaka ne kitaawe wamu n'omukozi gwe bamanyiko erya Fred abadde yaakaleetebwa wiiki emu ayambeko ku mirimu.

 

Agamba nti, “Ku Lwomukaaga nava awaka okugenda okukola, taata ne mmulekawo kuba ye abadde amaze ebbanga nga takola okuva bwe yalongoosebwa kkansa w’oku bwongo kati emyaka etaano, nga ku dduuka maama y’abeerayo.

Nakomyewo ekiro ssaawa nga 3:00, nga geeti yonna nzigule n’enzigi n’amadirisa ekintu ekitali kya bulijjo, nayise omukozi Fred nga simulaba ne taata nga simulaba, kwe kusalawo ngira nkola ebyange.

Bwe zaaweze ssaawa 4:00 ez’ekiro ng’omukozi simulaba, kwe kusalawo mbanoonyeko, nazzeemu ne mpita taata nga tanyega, kwe kugenda mu kisenge kye, nasanze ali bwereere nga yeebase kyabugazi mu kitaba ky’omusaayi.

Nafulumye ne mpita abapangisa n’abakozi mu galagi etuliraanye ne bajja, okwekebejja taata nga yatemuddwa, baamufumise ebiso mu kifuba ne mu lubuto, twayise poliisi eyazze ekiro n’eggyawo omulambo.

Omukozi akyabuze

Ekisinze okutwewuunyisa tewali kintu na kimu kye babbye, kuba n’emmotoka ya taata empya ekika kya Klugger UAZ 189E eyabaddewo tebaagitutte okuleka omufaliso gw’omukozi Fred gwokka gwe tutalabako.

Ye Fred teyasangiddwaawo awaka ne kati tetunnaba kumulaba, naye tukyasobeddwa oba yeenyigidde mu kutemula taata, oba nga naye yatuusiddwaako obulabe tetumanyi kituufu, kuba ebintu bye byonna weebiri.

Fred tubadde twakamufuna wiiki emu, waliwo mukwano gw’omugenzi eyamutufunira, naye tetulabawo nsonga yonna ebadde esobola kumukozesa kino.

Abaatemudde taata baatutte obudde bwabwe ne basiimuula omusaayi mu nnyumba n’okwoza amasuuka kwe baamuttidde, ebbaafu y’amasuuka yo esangiddwa mu galagi omukozi gy’abadde asula ne bagenda nga bayiwaayiwa kaamulali buli wamu”.

Daniel Nuwagaba Bakebwa, mutabani w’omugenzi omukulu agamba nti, mwannyina Kesiime yamukubidde essimu ku Lwomukaaga ekiro ng’amutegeeza nti kitaabwe afudde kwe kudduka n’ajja era yasanze nga yattiddwa omulambo ne bagutwala e Mulago.

Muhammad Ssemmambo, atwala poliisi y’e Najjanankumbi agambye nti, bakutteyo omuntu omu ategeerekeseeko erya Dawa ng’ono mukubi wa ngatto, yalabibwako emirundi esatu ng’ayingira mu maka g’omugenzi nga bw’afuluma.

 dduuka lya akebwa erisangibwa ku uwum treet Edduuka lya Bakebwa erisangibwa ku Luwum Street

 

Nti bakyalina ebintu eby'enjawulo bye bakyekkaanya mu kutemulwa kwa Bakebwa, ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso nti era essaawa yonna bayinza okubaako abantu abalala abakwatibwa bayambeko okunoonyereza.

Bagguddewo omusango gw’obutemu n’okubulawo kw’omuntu ku fayiro SD; 03/03/09/2017.

Dawa okukwatibwa ayogedde ebitakwatagana omuli, okusooka okuwakana nti tannajjako waka ate n’amala n’akkiriza nti yazzeewo mulundi gumu kubanja ssente za ngatto kyokka n’atasangawo muntu, ate olwamaze n’akkiriza nti yazzeewo emirundi esatu, ekiraga nti waliwo ky’akimanyiiko.

Ye nnamwandu, Winfred Kanyeheru naye teyasangiddwa waka mu kiseera omugenzi we yatemuliddwa kubanga yabadde aliko emikolo gy’ekibiina kya Mothers Union gye yali yagendako e Kabale, wadde omugenzi yafa ku Lwamukaaga ne bamutegeeza naye yatuuse ku Mmande ku makya ekyalese bangi nga baliko akabuuza.

Omugenzi abadde n’obutakkaanya awaka

Omu ku bakulembeze b’ekitundu ky’e Najjanankumbi, ataayagadde kwatuukiriza mannya agambye nti, omugenzi Bakebwa, yalinako obutakkaanya ne mukyala Kanyaheru, era ensonga ne bazitwalako mu boobuyinza ne zigonjoolwa, ng’entabwe eva ku mupangisa Omucongo, Bakebwa gwe yali yapangisa ennyumba, ng’ono Kanyaheru yali amwekengera okwagala bba kuba yali anyumya nnyo n’omugenzi nga ye taliiwo.

Agamba kino kyatabula amaka gaabwe okutuusa omukyala oyo bwe baamufunira ennyumba endala n’ava mu maka ago.

 muzigo omukozi wawaka mwabadde asula wasangiddwaamu ebbaafu erimu amasuuka gomugenzi nga goozeddwa Omuzigo omukozi w’awaka mw’abadde asula. Mwasangiddwaamu ebbaafu erimu amasuuka g’omugenzi nga goozeddwa.

 

Nti ate ne ssente z’obupangisa bw’amayumba gaabwe, nazo babadde bazirinako obuzibu ng’omukazi ayagala y’aba azivunaanyizibwako, kyokka ng’omugenzi takkiriza kintu kino nti wadde naye yali takyakola abeera waka, naye ng’akyayagala okubeerako ne ssente mu nsawo.

Abamu ku batuuze baagambye nti, obutakkaanya buno bwatuuka wala nti era omukazi olumu abadde tasula waka, nga waliwo e Nyanama gye yafuna ennyumba mw’asula, kye balowooza nti nakyo kyandiba kyavuddeko obuzibu buno.

Nti ate omugenzi alina muwala we abeera ebweru w’eggwanga, abadde yaakamusindikira ssente nnyingi, nazo basuubira nti yandiba ensibuko y’obutemu buno, wabula yo poliisi yabakanye dda n’ogw’okunoonyereza era amaka g’omugenzi gakuumwa poliisi.

Omulambo gukyali mu ggwanika e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano

Educationpanel703422 220x290

Batadde Gav't ku nninga ku by'okusuubiza...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti kagitadde ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo...

Mulagospecialisedwomenandneonatalhospital3 220x290

Eddwaliro ly'e Mulago eppya liseera...

ABABAKA ba palamenti balaze okutya olw’eddwaliro ly’e Mulago eppya erya gavumenti erijjanjaba abakazi okuba nga...

Gamba 220x290

Ababaka beeyongezza ensimbi mu...

ABABAKA ba palamenti bazzeemu okweyongeza ensako. Okusinziira ku biwandiiko ebikwata ku bajeti egenda okusomwa...

Kujjukiralubiri1 220x290

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya...

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote