TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali ebweru balaajanidde Gavumenti ya kuno ku butuuze ne vviza

Bannayuganda abali ebweru balaajanidde Gavumenti ya kuno ku butuuze ne vviza

By Muwanga Kakooza

Added 5th September 2017

Bannayuganda abali ebweru balaajanidde Gavumenti ya kuno ku butuuze ne vviza

Kub2 703x422

Rebecca Kadaga ng'ayogera ku mbeera ya vvisa etawaanya bannayuganda abali ebwweru w'eggwanga

BANNAYUGANDA abali ebweru bakukkulumidde gavumenti olw’okubakanda ssente z’okufuna obutuuze obw’emirundi ebiri (obwa Uganda n’obwe nsi gye babeera) wamu n’eza vviza nga bakomawo wano ze bagamba nti nnyingi nnyo.  

Kyokka nampala w’ababaka ba palamenti aba NRM era minisita Ruth Nankabirwa yagambye nti gavumenti erowooza ku ky’okukendeeza ku nsimbi za vviza z’esaba Bannayuganda abakomawo eka.

Bino byabadde mu lukung’ana lwa Bannayuganda ababeera ebweru olwa ‘’Uganda North American Association (UNAA)’’ Bannayuganda bwe beemulugunyizza ku nsimbi ezibasabwa okufuna obutuuze obw’emirundi ebiri ze bagamba nti nnyingi.

Bannayuganda bano  basabwa ddoola 400 (eza Uganda akakadde kamu n’emitwalo 40) ze bagamba nti nnyingi bw’ogattako n’eza vviza z’okujja wano. ‘’ Nze Albert Bakasabara, ndi mutooro wadde mbeera mu Amerika era seeganangako kya kuba Munnayuganda. Lwaki mwanziggyako eky’okuba Munnayuganda.

Okunsaba ddoola 400 okufuna obutuuze bw’e Uganda kingi nnyo era abantu bangi abatazisobola’’ omu ku Bannayuganda bano bwe yalaajanye.

Kyokka sipiika Rebecca Kadaga yagambye nti ddoola 400 ntono nnyo bw’ogeraageranya n’omusimbi Bannayuganda bano gwe bawa Amerika mu misolo.

Wabula minisita Nankabirwa n’abagumye nti eza vviza ziyinza okukendeerako.  Kadaga yagambye nti amanyi ebizibu Bannayuganda ababeera ebweru bye bayitamu okufuna obutuuze obw’emirundi ebiri wano n’okukomawo okukyalako awaka era waliwo entegeka ez’okulaba nga gavumenti ebuwewula.

Kyokka yagambye nti kyetaaga Bannayuganda bano okuba ne mwoyo gwa ggwanga nga basasula ssente ezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...