TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akabenje kasse omu e Buloba bataano bapooca n'ebiwundu

Akabenje kasse omu e Buloba bataano bapooca n'ebiwundu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2017

Akabenje kasse omu e Buloba bataano bapooca n'ebiwundu

Kab1 703x422

Omu ku basimattuse okufiira mu kabenje ng'apooca n'ebiwundu mu ddwaliro e Mulago

Bya Prossy Kalule

OMUNTU omu afiiriddewo mu kabenje akagudde e Buloba ku luguudo lwe Mityana bataano ne baweebwa ebitanda e Mulago nga bataawa.

Omwana Hamuza Asiimwe  10, afudde nga yakatuusibwa e Mulago oluvannyuma lwa mmotoka ya takisi mwe babadde nga nnyina amusitudde okukonagana ne Fuso ebadde eva e Kampala okudda e Mityana.

Abalumiziddwa kuliko nnyina w’omugenzi Moureen Atuhirwe 30, owe Makindye, abadde atudde mu maaso dereeva wa takisi  eno Simon Balinga 40 owe Fort portal, Irene Nyiranikujayo owe Kiryandongo , Evelyn Kyalisiima  abadde n’abaana be babiri okuli Christine Natukunda myaka ebiri ne kitundu ne  Ronald Muwangunguzi  ow'omwaka gumu .

Akabenje kano kagudde Buloba ku luguudo lwe Mityana ku ssaawa 11:00 nga bukya ku Lwokusatu era omu kubalumiziddwa MoureenAtuhirwe mmotoka gweyuzizza emimwa ategeezezza nti Takisi ebadde eyisa Fuso ne zitomeregana bwenyi .

Kigambibwa nti dereeva Simon Balinga  mu kuyisa mmotoka emubadde mu maaso yekanze Fuso emukubye amataala nga talina gyadda kwe kutomeregana.  

Abadduukirize be babasise mu mmotoka ya Takisi nga yonna efungaladde kwe kubatwala mu ddwaaliro kyokka omwana n’afa nga bakabatuusa e Mulago 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...