TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Lutaaya gy’azimbye Da Nu Eagles mu myaka esatu

Engeri Lutaaya gy’azimbye Da Nu Eagles mu myaka esatu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2017

Engeri Lutaaya gy’azimbye Da Nu Eagles mu myaka esatu

Nu1 703x422

Irene Namatovu (ku kkono) ne Lutaaya (owookusatu ku ddyo) nga bali n’abayimbi baabwe mu kutendekebwa.

GIWEZE emyaka esatu bukya Geoffrey Lutaaya ne mukyala we Irene Namatovu batandika band ya Da Nu Eagles. Era mu njogera ennyangu ogamba nti Da Nu Eagles esajjakudde.

Lutaaya agamba nti erinnya lya Eagles lyali lumuluma okusaanawo ng’ate baaliggya wala n’asalawo okulizza obuggya n’omulamwa gw’okutumbula ebitone by’abaana abato.

DA NU EAGLES ETANDIKA

Lutaaya ne Namatovu be badayirekita. Ekibiina bakizimbidde ku bayimbi bato ng’era mu 2014 baayita abaana abalina ebitone abasukka mu 500 ne basunsulamu abayimbi 21 be bazze bazimba nga kati muvuddemu abayimbi ab’amaanyi okuli:

Betina Namukasa eyayimba ‘Emikisa gy’abakazi, Necklase, Ompalula buwaluzi’ n’endala era ali ku mwanjo.

Engeri gy’ayimba ku mukwano ng’ate eddoboozi lye ddungi, muganzi mu bantu.

Jovan Luzinda ayimba ‘Nninga mutamiivu, Embooseera, Ng’enda Naawe ne True Love’’. Ono bw’alinnya ku siteegi taleka bakyala wansi era bamwagala nnyo. Lutaaya agamba nti ssinga tafuna malala, Luzinda muyimbi mulungi nnyo era y’omu ku baasibiddeko olukoba.

Sasha Brighton ayimba ‘So lucky, Nina amaalo ne Swiiti swiiti, Kambite n’endala. 

Henry Mwanje naye w’amaanyi nnyo. Alina ennyimba nga ‘Abalya mmere, Ng’enda naawe, Oli mugole, Sijja kulabankana n’endala era bw’abeera ku siteegi amanyi okukwata abantu omubabiro.  Grace Khan alina ennyimba nga Nja kufa naawe, Nenoonya, Mu ddungu n’endala.

Lutaaya yagambye nti bano be bamu ku bayimbi be yatandika nabo ng’era kati bayimbi ababeezaayo ekibiina kyabwe.

Kyokka alina n’abalala baazimba nga Aidah Muggo eyayimba Ntwala ne Racheal Namiiro eyakuba Akatambaala, Mung’ambire ne Ngenderaayo ate mwanamulenzi Izon T alina ennyimba nga Layira, Lwaki onumya, Ez’okukameeza, Omugenyi ne Tasemba ono yayingirawo ng’alina ke yeekoledde. Geoffrey Lutaaya ne Irene Namatovu baagambye nti balina ebintu bye batunuulira nga bazimba abaana bano okulaba nga babatuusa ku ntikko n’okubeezaawo ekibiina.

Mu bino mulimu ekitone. Bagamba nti bwe bakufuna basooka kukola kunoonyereza ku kiki ky’osobola okukola ng’okuwandiika ennyimba, okukuba ebivuga, okuzina era bw’oba tobirina bakufunira abakugu ne bakuyambako.

Empisa: Lutaaya yategeezezza nti bw’oba tolina mpisa, kizibu okuwangaalira mu Da Nu Eagles. Omanyi Katonda bw’akukwatirako ennyimba zo ne zikwatayo olina engeri gy’owulira amaanyi. Kati bw’otofuga linnya n’oyagala okulinnyirira bano oyinza okwesanga ng’ogudde era bano tetubagumiikiriza.

Da Nu Eagles eringa famire era abayimbi bonna basula wamu. Kino kibayamba okukwatagana, okufuna obudde okwegezaamu n’okukolera awamu.

Omuyimbi ateekwa okuba ng’asobola okukolagana n’abantu abalala kubanga ekibiina tekiriimu bayimbi bokka. Ekyo bw’oba tokisobola ekibiina kiba kikulemye.

Baayongeddeko nti ekibiina bagizimbidde ku musingi omugumu n’okukola ekintu kye balinamu obukugu. Bwe kuba kuwandiika nnyimba, okubatendeka n’okubateekamu ssente byonna babisobola kubanga banoonya bayimbi abanaabasikira. ‘Tukulembeza mpisa ebirala ne bigoberera’ Ebbinu ly’endongo ku La Bonita Lutaaya yagambye nti okulaga Bannayuganda nti basajjakudde, bategese ebbinu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.