TOP

Olutalo wa Lwasa ne Juliana lusajjuse

By Martin Ndijjo

Added 7th September 2017

Amangu ddala ng’ekifaananyi ky’oku nnyonnyi kimaze okusaasaana waliwo abantu abaatandise okubityebeka nga Lwasa bw’ageze ne Juliana mu Amerika era nti alese kuno Desire Luzinda gwe bagamba nti gw’apepeya naye ennaku zino abamu kye baayise okutabula Desire ne Juliana.

Kanyomozi1 703x422

Juliana

Bya Martin Ndijjo

OBUTAKKAANYA wakati wa Juliana Kanyomozi n’omugagga Emmanuel Lwasa bweyongede, Juliana bw’atabukidde Lwasa n’atiisatiisa n’okumukuba mu mbuga z’amateeka ng’amulanga okumukuba ebifaananyi ku nnyonyi ne bisaasaanira ku mikutu gya yintanenti ky’ayise okuyingirira obulamu bwe obw’ekyama n’abantu okumusalako ebigambo.

Kyokka ne Lwasa amuddiza omuliro, amulabudde okukomya okwogera ku linnya lye n’okumuwalampa agamba guno mulundi gwakubiri ng’amuwalampa yandiba ng’alina ekigendererwa ky’okumwonoonera erinnya.

Embeera eno okubaawo kiddiridde Juliana mu kiseera kino ali mu Amerika gye yagenze okuyimba mu lukungaana lwa UNAA e Las Vegas ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook mu kiro ekyakesezza Olwokusatu okuvaayo n’ayanukula ku bibadde biyitingana nti yagenda ne Lwasa mu Amerika wiiki ewedde okulya obulamu nga n’aboogera bakiggya ku bifaananyi bye beekubya nga bali ku nnyonyi.

 kifaananyi wasa kyekubye ne uliana ku  nyonyi Ekifaananyi Lwasa kyekubye ne Juliana ku nyonyi

 

“Ekisooka omusajja ono simumanyi era mbadde muwulira buwulirizi okutuusa lwe nnalabye bye bampadiiseeko naye. Tosobola kumala gakuba kifaananyi kya muntu kubanga otudde okumuliraana nga takuwadde lukusa ate n’ogenda mu maaso n’okukisaasaanya kubanga oyagala okulaga nti otambudde naye ku nnyonyi emu. Kino kitegeeza kuyingirira bulamu bwa muntu era nsobola okumukuba mu mbuga z’amateeka. Kyewuunyisa abantu tebakyalina na mpisa.” Juliana bwe yagambye.

Lwasa eyabadde ayogeza obusungu mu kwanuukula ebyawandiikiddwa Juliana amugambye nti waddembe okugenda mu kkooti bwe waba nga waliwo etteeka erigaana omuntu okwekubya ebifaananyi ku nnyonyi.

“Nze nabadde ngenda Dubai kulaba bizinensi zange bwe zitambula twesanze ku nnyonyi nga tutudde okuliraanagana era omuwala ono nabadde simanyi nti ye Juliana okutuusa lw’avuddeyo okumpalampa ye oba omuwala ono anoonyako ki ?

Juliana sirina kye mwagaza era sirina nkolagana naye okuggyako nti gye buvuddeko yannyiiza bwe yannumba n’okumpandiikako ku mikutu gya yintanenti bwe yampaayiriza nti namulanga okuyimba ku bbaala yange eya Tarvan Kick e Masaka nga simugambye, ekitaali kituufu era simanyi gye yabiggya okuggyako okwagala okunnyonoona ne bizinensi yange.

Wano yagasseeko okubuuza nti: “Juliana bw’aba ng’alina ky’anjagaza ambuulire mu kifo ky’okunnumba n’okumpendulira abavubuka abagenda mu maaso n’okunvuma ku mikutu gya yintaneti.”

Era agamba nti Juliana bw’aba ng’ayagala ku muloopa mu kkooti asookere ku muvubuka eyamukuba ebifaananyi n’ebyakawaleke nga bali mu Serena.  

 wasa ne esire gye buvuddeko Lwasa ne Desire gye buvuddeko.

 

Babiyingizzaamu Desire Luzinda

Amangu ddala ng’ekifaananyi ky’oku nnyonnyi kimaze okusaasaana waliwo abantu abaatandise okubityebeka nga Lwasa bw’ageze ne Juliana mu Amerika era nti alese kuno Desire Luzinda gwe bagamba nti gw’apepeya naye ennaku zino abamu kye baayise okutabula Desire ne Juliana.

Wabula Desire bwe yatuukiriddwa yagambye nti ensonga za Lwasa ne Juliana tayagala kuzoogerako kubanga tezimukwato n’abawa amagezi beesootinge!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...