TOP

Abaana bagobezza kitaabwe omukazi

By Saul Wokulira

Added 7th September 2017

Kiirya Moses Ddenge abaana gwe bagobezza omugole nga bagamba nti ayitirizza okukyusa abakazi nga kumpi buli myezi esatu awasa omukazi omupya.

Ddenge1 703x422

Ddenga ne Mutabani we nga bubefuka

 Bya SAUL WOKULIRA  

ABAANA  batabukidde kitaabwe ne bamugobya omugole gw'abadde yakawasa nga bwe bamulangira nti ayitirizza okuwasawasa.      

Omu ku baana akubaganye ne kitaabwe ebikonde okukakkana nga taata bamulindiggudde ennume y'ekigwo n'akaaba.   

 denge ku nju ye mwe bamugobezza omukazi Ddenge ku nju ye abaana mwe bamugobezza omukazi

 

 

Bino bibadde ku kyalo Nakaseeta mu ggombolola y'e Kayunga mu disitulikiti y'e Kayunga.    

Kiirya Moses Ddenge abaana gwe bagobezza omugole nga bagamba nti ayitirizza okukyusa abakazi nga kumpi buli myezi esatu awasa omukazi omupya.    

Kirya bw'asituse  wansi we bamukubye ekigwo n'amenya omuggo nga bw'awera nti omugole we tajja kuseguka nga abaana bwe baagala.   

 ojja kugiyingiraomugole nga gamwesibye oluvannyuma lwabaana okumutabukira Tojja kugiyingira...omugole nga gamwesibye oluvannyuma lw'abaana okumutabukira

 

 

Abaana okuli  Ssemambo Richard, Ssesanga Geofrey ne Harriet Kayaga bebasiiwuse empisa ne batuuka okukuba kitaabwe nga ekyalo kyonna kyerolera.    

Abaana basibye engoye za nyabwe omugole mu mugugu ne bazisuula ku lubalaza era nga obwedda bazifulumya nga kitaabwe bw'aziyingiza.    

 

 aata nomutabani ebifuba bibabugumye Taata n'omutabani ebifuba bibabugumye 

 

Aba LC okubadde ssentebe Lubega Bernard n'owamawulire Kagenda Awali bazze ne bataasa taata n'abaana ababadde balwana olwo omugole n'asooka eddukira mu nnimiro gye bamujje okukomyawo asobole okukung'anya ebibbye alabe eryamuleeta.   

Aba LC basabye abaana okukwata obulungi ensonga era kitaabwe ajjewo omugole we.  

 

 denge ngataamye Ddenge ng'ataamye

 Kiirya akolimidde abaana nga agamba bamuyisizzaamu nnyo amaaso okutuuka okumugobya mukazi we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.

Ministernakiwalakiyingi 220x290

Coronavirus: Baminisita 3 bayomba...

Olutalo olugambibwa okuba wakati wa baminisita basatu nga luva ku ssennyiga wa coronavirus luvuddeyo mu lujjudde...

Bobiwinehavingamusicalmomentwithsingingpartnernubian 220x290

Coronavirus: Bobi Wine afulumizza...

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya ku ssennyiga omukambwe lw’azzizza ku lwa coronavirus alert olubadde lwakasaanikira...

Bigere 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Gavumenti enoonya abantu 900 mu bitundu mwe baazudde abalwadde ba corona.

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...