TOP

Zari atabukidde Hamisa, Diamond gwe yazaddemu

By Martin Ndijjo

Added 8th September 2017

OLUTALO wakati wa Zari Hassan ne modo Omutanzania, Hamisa Mobetto ayogerwako okwagala okumusuuza eddya ew’omuyimbi ow’erinnya Diamond Platnumz lulinnye enkadaggo!

Zaridiamond 703x422

Diamond ne Hamisa mu vidiyo y’oluyimba ‘Salome’. Mu katono ye Zari

Bya Martin Ndijjo

OLUTALO wakati wa Zari Hassan ne modo Omutanzania, Hamisa Mobetto ayogerwako okwagala okumusuuza eddya ew’omuyimbi ow’erinnya Diamond Platnumz lulinnye enkadaggo!

Ababiri bano batabuse ne beerangira ebisongovu; Zari alanga Hamisa okwesiba ku bba n’okumuwaayira nti omwana gwe yaakazaala wuwe (wa Diamond) ate Hamisa ajereze Zari emyaka n’okwesiba ku kalenzi akato.

Bino biddiridde ebigambo ebizze byogerwa nti omwana omulenzi Hamisa gwe yazaala gye buvuddeko wa Diamond era okukakasa kino yamutuuma n’amannya ga Diamond ag’ekika Naseeb Dangota.

Kyokka Diamond gye buvuddeko yavaayo n’amwegaana ng’agamba nti enkolagana ye ne Hamisa yali ya bizinensi bwe yamuwa omulimu ogw’okulabikira mu vidiyo y’oluyimba lwe olwa ‘Salome’ ebya laavu n’okumufunyisa olubuto tabimanyi.

Ebigambo bya Hamisa bye yadadde ku Face book ng’alumba Zari.

Ani agamba nti bwe nneegatta n’omusajja omufumbo kinswaza?

Ku mwenna aboogera ani yagenda ku mbaga yaabwe?

Ekirungi simanyiddwa ng’omukazi eyasuulawo obufumbo nnyingirire akalenzi akato ne ntuuka n’okukaawukanya n’omwagalwa waako.

Nze sizaalira musajja buli mwaka nga akamyu okusobola okumukuuma, era simanyiddwa nga nnamwandu ate eyeefuula omufumbo mu kiseera kye kimu.

Mwenna mumanyi omukazi nnakawanga amanyiddwa olw’okweyisa bw’atyo Zari nneesonyiwa!

Zari ayogedde

Bwe yatuukiriddwa ku ssiimu ku bigambo bya Hamisa bwe yawandiise n’ensonga entuufu ebatabula, Zari yasoose kutegeeza nti takakasa oba ddala obubaka buno Hamisa ye yabuwandiise kubanga tamulinaako buzibu ate ne Hamisa gye buvuddeko yategeeza nga bw’atali ku facebook.

“Nkimanyi Hamisa anoonya mawulire na ‘butaala’ era erinnya ayagala kulikolera ku Diamond nange. Naye ekirungi ensonga y’omwana Diamond namubuuza dda ng’omuwala akyali lubuto n’alwegaana.

Hamisa bwe yazaala naddamu ne mbuuza Diamond ne ntuuka n’okumugamba nti bwe kiba nga ddala omwana wuwe tamwegaana tukitwale nti yali nsobi, era Diamond yaddamu n’ankakasa nti omwana si wuwe era tasobola kwegaana musaayi gwe, kati aboogera simanyi gye babiggya.”

Zari agamba nti abantu bagamba nti omwana ayogerwako wa musajja amanyiddwa nga Majje nnannyini leediyo ya E-FM e Tanzania era ng’ono ye taata w’omwana wa Hamisa omukulu.

Yagambye nti omusajja ono ye yalabirira olubuto lwa Hamisa era y’amuwa n’obuyambi nti wabula Majje atya okusembeza ennyo Hamisa kuba baali baayawukana n’afuna omukazi omulala.

Zari yagasseeko nti yeewuunya Hamisa asazeewo okumwonoonera erinnya n’erya bba ng’abayingiza mu katemba we.

Kyokka kigambibwa nti Hamisa bw’aba mu mikwano gye abategeeza nti Diamond ye taata wa bbebi we!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...