TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Lipoota y’omupunta yavaako okutwala yiika 240’

‘Lipoota y’omupunta yavaako okutwala yiika 240’

By Benjamin Ssebaggala

Added 8th September 2017

AKAKIIKO akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka katadde omupunta wa disitulikiti y’e Hoima, Dickson Cidiny Busobozi ku nninga baagala asazeemu lipoota gye yakola eyavaako okutwala ettaka lya nnamukadde Joyce Nakyanzi erya yiika 240.

Nakyanzi1 703x422

Nakyanzi

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

AKAKIIKO akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka katadde omupunta wa disitulikiti y’e Hoima, Dickson Cidiny Busobozi ku nninga baagala asazeemu lipoota gye yakola eyavaako okutwala ettaka lya nnamukadde Joyce Nakyanzi erya yiika 240.

Nakyanzi yeekubira enduulu mu kakiiko akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire nga yeemulugunya ku Jonathan Ntambala okukozesa olukujjukujju ne yeekomya ettundutundu ku ttaka lye.

Yasibako ssengenge n’ateekako faamu ng’abaana ba Nakyanzi bwe bagezaako okulundirako ente nga babakwata ne babasiba.

Nakyanzi yannyonnyodde nti yagula ettaka lino erisangibwa e Kabule, Buseruka mu disitulikiti ye Hoima mu 1998 nga ne ssentebe w’ekyalo Jja Gwere waali kyokka bwe waayitawo ekiseera ne bakwatagana ne Ntambala ne bamwefuulira ne balimutwalako.

Enkaayana bwe zaanyinyitira kwekuyita Omupunta Busobozi owa disitulikiti n’alagira Henry Turyamuleeta okulipunta.

Lipooti gye baakola yabadde ebuzaabuza ng’eraga ebipimo ebifu, teraga baliraanwa ba Nakyanzi so nga nabo baanyigirizibwa.

Ng’eraga nti ettaka erimu liyingira mu ddala kyokka nga terambika kitundu kyani ekiyingira ew’omulala.

Wano Omulamuzi we yasinzidde okulagira Busobozi okusazaamu lipoota gye yakola.

Yasoose kuguguba ng’agamba nti basooke bayise okulabula Ntambala kuba emirundi ebiri gye bagenze ku ttaka lino abadde talabikako.

Omulamuzi yamubuuzizza ekigendererwa ky’alina okuba nga buli kadde alinga awolereza Ntambala.

Yamulagidde okufuluma akakiiko ng’amaze okuwandiika ebbaluwa nga yeeyama nga bw’agenda kusazaamu lipoota enfu gye yakola.

Teyakomye awo n’ayongerako nti okutuuka olwaleero (Lwakutaano) ateekwa okuba ng’amaze okuwandiikira kominsona atwala abapunta era avunaanyizibwa ku maapu z’ettaka basazeemu emivuyo gye baakola.

Ntambala yabadde asuubirwa mu kakiiko n’atalabikako. Omulamuzi yayisizza ebiragiro ebimuyita n’amuwa olunaku lumu yeeyanjule bw’alema okulabikako ng’ayisa ekiragiro ekiragira poliisi okumukwata bamuleete yennyonnyoleko ku ttaka ly’abantu ab’enjawulo abamulumiriza okubanyigiriza.

Ekiragiro kino Omulamuzi yakiyisizza ku Lwokusatu. Busobozi baasoose kumubuuza ebimukwatako n’ategeeza nti wa myaka 34, olwamaliriza okusoma mu September wa 2008 ate ku ntandikwa ya 2009 n’aweebwa omulimu okukulira abapunta e Hoima n’okutuusa weyajjidde mu kakiiko nga yaali mu kifo ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...