TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba poliisi abamenya amateeka bwe bongedde ku butali butebenkevu

Aba poliisi abamenya amateeka bwe bongedde ku butali butebenkevu

By Patrick Tumwesigye

Added 8th September 2017

Mu bbanga lya mwezi gumu, poliisi yaakakwata abaserikale baayo abasoba mu 40 okuva ku poliisi ez’enjawulo n’ebavunaana emisango egy’enjawulo nga gyonna gyekuusa ku kukwata obubi emisango, okwekobaana n’abamenyi b’amateeka okunyaga abantu baabulijjo wamu n’okulya enguzi!

Musululu1 703x422

Abamu ku bavubuka ba Kifeesi poliisi be yakutte nga beekobaanye okumenya n’okubba embuzzi n’enkoko za bannaabwe abaava mu bubbi, Gen Kayihura bye yabawa.

Bya Patrick Tumwesigye

Mu bbanga lya mwezi gumu, poliisi yaakakwata abaserikale baayo abasoba mu 40 okuva ku poliisi ez’enjawulo n’ebavunaana emisango egy’enjawulo nga gyonna gyekuusa ku kukwata obubi emisango, okwekobaana n’abamenyi b’amateeka okunyaga abantu baabulijjo wamu n’okulya enguzi!

Aba poliisi abaakwatibwa 10 baggyibwa ku poliisi y’e Katwe, abalala baava ku y’e Nateete, Bujuuko, Kasangati, Kiganda ne Kiboga.

Mu baakwatibwa kuliko D/AIP Edward Kasango eyali akulira Poliisi e Katwe, Sulaiman Kato owa Flying Sqaud nga bano okukwatibwa kigambibwa nti beekobaana n’omusumba Bright Muyingo owa Gods’s Healing Power e Nabweru, ne basiba Sany Kyomuhendo eyali azze okuloopa omusumba Muyingo okumunyaga obukadde bwe 20 kyokka ne basalawo okusibamu ye ne baleka Omusumba ng’ayinaayina.

 mu ku bamenyi bamateeka ngannyonnyola mu ofiisi ya en ayihura bwe bakolagana ne poliisi okumenya amateeka Omu ku bamenyi b’amateeka ng’annyonnyola mu ofiisi ya Gen. Kayihura bwe bakolagana ne poliisi okumenya amateeka.

Omwogezi w'ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku nneeyisa ya Poliisi (PSU)Vicent Ssekate yategeezezza wiiki ewedde nti abaserikale abo ekyabakwasizza kyazuuliddwa nti baali bamaze ebbbanga nga beenyigira mu misango egyogeddwako waggulu.

“Tunoonyereza ne ku baserikale abalala 25 abasinze okwenyigira mu mivuyo gy’ettaka naddala mu kitundu kya Luweero, Nakaseke ne Nakasongola.

Bano twakizudde nti baakwata bubi fayiro z’emisango egyekuusa ku byettaka ezisoba mu 30,” bwe yagambye.

Kino okubaawo ng’abavubuka abaaliko abamenyi b’amateeka ab’ekibinja kya Kifeesi baabadde bavuddeyo ne balumiriza wiiki ewedde nti okumanya obumenyi bw’amateeka tebujja kuggwa mu Uganda, aba poliisi be bamu abaabasikiriza okuva mu bumenyi bw’amateeka, ne babawa n’enkoko z’okulunda n’ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo ate be babakanda ssente mu ngeri y’okubawaliriza okudda mu bubbi n’obvunyazi gye baava!

“Twali tugumidde bannaffe be twaddukamu ababadde batutaddeko olukongoolo okutukolako obulabe naye bwe kituuse ku bapoliisi abamu okutusalira omutemwa gwa ssente ze tulina okubawa buli lunaku ne kituyitirirako.

Akusaba omuwe emitwalo 10 ng’akimanyidde ddala nti tozirina, olina kudda mu bubbi gye wava okuzifuna,” omu bwe yagambye.

Bakifeesi bano baabadde ku leediyo emu ne bagamba nti aba poliisi abaagala okubazza mu bubbi banene, si basanyufu olw’okuva ku nkola gye baali bakolamu emirimu luli nga bwe bagenda ne ‘bayigga’ nabo babawa ku ssente!

Wabula bino akulira Bakifeesi abaalokoka obubbi, eyeeyita Kamada yabiwakanyizza n’ategeeza nti basajja be abaayogedde ebyo balabika obubbi tebubavangamu nga noolwekyo bassaawo ebibooziboozi n’ekigendererwa ky’okuddamu okwenyigira mu bubbi nga balemeddwa okukola emirimu emirala okweyimirizaawo.

Kyokka kinajjukirwa nti ku ntandikwa y’omwaka guno, ababbi baalumiriza abapoliisi mu maaso g’omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura nga basajja be bwe babapangisa, ne babassa ku kabangali ne babatwala mu byalo okutema abantu, nga buli gwe batema babawa 20,000/-!

Omu ku bavubuka abamenyi b’amateeka, Juma Muyirwa yayatulira Gen. Kale Kayihura nga aba poliisi bwe babawa obukuumi okukola ebimenya amateeka.

Muyirwa yategeeza nti lumu baatuuza olukiiko lw’okukola emirimu gyabwe mu kifo ekimu e Makerere nga bali ne bakama baabwe BK, ne Senga naye nga bakuumibwa aba poliisi.

Bino byonna bizzeewo ng’obumenyi bw’amateeka bweyongedde mu ggwanga.

E Nansana n’e Ntebe, abakazi babatta mu ngeri etiisa, e Masaka ne Lwengo abatta abantu n’ebijambiya bazzeemu.

Obubbi ne poliisi Nga August 16, 2017 owa poliisi Stephen Toko eyali akola ku poliisi ya Namanve, yakwatibwa nga yeekobaanye n’owa bodaboda eyamanyibwako erya Igeme ne babba zaabu azitowa kkiro bbiri n’ekitundu abalirirwamu obukadde 230.

Zaabu baamubba ku Lazarus Maneno owa kkampuni ya Kibwe Uganda limited.

Mu ngeri y’emu poliisi era yakwata abaserikale baayo 25, okuva mu ggombolola y’e Balatira e Nakaseke ng’ebalanga kwekobaana n’abagagga ne banyaga ettaka ku batuuze.

 a bano bannyonnyola en ayihura ani abawaga okukola ebikolobero mu bantu Na bano bannyonnyola Gen. Kayihura ani abawaga okukola ebikolobero mu bantu.

 

 

 

ABA POLIISI BAWANDIIKIDDE KAYIHURA

Newankubadde nga waliwo aba poliisi abakwatiddwa olw’okwekobaana n’abamenyi b’amateeka, waliwo aba poliisi abamu abakaaba nga beekokkola bakama baabwe nti be bavuddeko obumenyi bw’amateeka okweyongera kubanga bayigganya abaserikale abeesimbu ne bakuza abawagira ebimenya amateeka kubanga bakola nabo okubba ssente!

Mu bbaluwa eyawandiikiddwa eri Gen. Kayihura nga September 4, 2017, abapoliisi baalumirizza n’ekitongole ekikwasisa aba poliisi empisa (PSU) okukolagana n’abamenyi b’amateeka be babeera bakutte ne babassaako emisango ekibaviirako okugobwa mu ofiisi olw’okuba nga babeera bagaanye okukolagana nabo okubba abantu.

ASP Steven Mugarura,  eyawandiikidde Gen. Kayihura aludde ng’alumiriza abanene mu poliisi okwekobaana n’ababbi okutuntuza abantu baabulijjo naddala abasuubuzi.

Yalumirizza aba PSU naddala ku mulembe gwa Fortunate Habyara eyabadde akulira ekitongole kino okussa emisango emijingirire ku ba poliisi ab’enjawulo n’ekigendererwa ky’okubagobesa mu ofiisi olw’okulemesa bannaabwe ababbi okuyisaawo.

Mu bbaluwa eno ASP Mugarura yalaze nti waliwo aba poliisi ku poliisi ya Leerwe abasibiddwa mu buduukulu ebbanga eriri wakati w’ennaku 30 ne 72 era okusibwa kwaba poliisi bano kupangibwa aba PSU n’ekigendererwa ky’okuyisaawo ebintu byabwe abaserikale bano bye babeera balemesezza ababbi.

Kyokka omukulu omu ku poliisi ya Leerwe yagambye nti newankubadde kituufu nti aba PSU basibira nnyo abaserikale ku poliisi eno, naye bonna abatwalibwayo waba wabaddewo okubeemulugunyaako.

Yagambye nti okusooka abaserikale baali babasibira ku poliisi y’e Nsambya, bwe yamenyebwa abamu ne babasengulira e Naggalama, kati abaserikale babasibira awo ku poliisi ya Leerwe.

Abamu ku ba poliisi abazze bakwatibwa olw’okulwanyisa abamenyi b’amateeka kuliko D/Cpl Benjamin Mukula.

Ono agamba nti mu 2015, yakwata ababbi ab’amaanyi bana e Mbarara oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebibbe mu mmotoka yaabwe wabula bwe yagenda mu maka gaabwe okwaza okuzuula oba balinayo emmundu, ekiragiro kyava mu kitongole kya PSU e Kampala nga kimulagira okuwaayo fayiro y’omusango ogwo.

Baamuggulako omusango gw’okukozesa obubi ofiisi n’okufuna ssente mu lukujjukujju ku nnamba CRV 191/2015, wabula wadde omuwaabi wa Gavumenti e Mbarara yamuggyako omusango ogwo n’alagira n’ababbi abo bavunaanibwe, baali baateebwa dda era na kati tebakwatibwanga kuvunaanibwa!

Ababbi be yali akutte kuliko Barnabas Rwakibwana, Kobusinge Nancy atera okweyita Paasita Hope, Barbara Namara atera okweyita Lakeeri ne Vincent Bakisima. ASP Peter Ssekamate muserikale ku kitebe kya bambega e Kibuli. Ono mu February w’omwaka guno yasibibwa ennaku ssatu ku biragiro by’eyali akulira PSU, Fortunate Habyara oluvannyuma lw’okukwata omufere w’ettaka n’amulemesa okulibba.

ASP Ssekamate yassibwa ku katebe, bamuvunaana okutwala kabangali za poliisi bbiri okukwata omubbi oyo. Ssekamate yagambye nti Kibuli terina kabangali ya poliisi kale tamanyi wa omusango ogwo gye gwava!

Okwongera okukkaatiriza engeri abanene mu poliisi gye bakolagana n’abafere, ASP Mugarura yagambye nti waliwo omufere w’ettaka ayitibwa Robert Mukalazi naye ng’asinga kweyita Bob, eyassa ekifaananyi ky’omuserikale omunene mu ggwanga ku whatsapp ye ng’ali na mu yunifoomu ng’alinga alaga enkolagana gy’alina n’omupoliisi ono.

D/Sgt. Fred Kikawa naye omwaka guno yassibwa ku katebe ka myaka ebiri nga takola. Yagambye nti bwe yaggalira abasajja babiri abaali babba amafuta agaali geeyambisibwa okukola oluguudo lw’e Katosi olwo ebizibu bye ne bitandika.

Yakwata liita z’amafuta 240 wabula Kikawa yasibibwa wiiki bbiri, oluvannyuma n’aweebwa ekibonerezo kya kutuula ku katebe emyaka ebiri olwo lw’akimanya nti yalinnya mu luwombo lw’abanene mu poliisi.

N’omusango gw’okufere Omunigeria eyeeyita Dr. Morgan naye ng’amannya ge amatuufu ye David Okata abeera e Sseguku nagwo gwamulaga nti ababbi bakolagana n’abanene mu poliisi nti kuba Dr. Morgan akwanaganya kyere obufere mu Kampala. “ Dr. Morgan yabba ku Munnakenya Muhamad Ahmad obukadde bwa Uganda 500.

Munnakenya ono yayita mu ba poliisi y’ensi yonna, mu kiseera ekyo eyali ekulirwa Assan Kasingye ne bampa ebiragiro okubayamba okukwata Dr. Morgan.

Namukwata mu nnaku nnya n’atwalibwa e Kenya, naye yapangisa balooya bana okuva mu Uganda. Bwe yatuusibwa mu kkooti e Kenya, yasaba yeeyimirirwe naye abaali bamuvunaana ne basaba kkooti nti temukkiriza kubanga yali ayinza okudduka.

Kkooti yalagira ndayire okulaga obuzibu bwe nayitamu okukwata omufere ono era ne mpita mu mateeka ne nkikola.

Kkooti bwe yamugaana okweyimirirwa, balooya baawandikira Gen. Kayihura ne bawaako ne PSU nga bagamba nti nnali nkikoze mu bukyamu era aba PSU ne bansiba ku biragiro bya CP Habyara!,” bwe yagambye. ASP Denis Kananura yaakamala emyaka etaano ng’ali ku katebe, ku musango gw’agamba nti ogwamusibwako aba PSU ogw’okufuna ssente mu lukujjukujju.

Wabula omwogezi w’ekitongole ekikangavvula aba poliisi ababeera basiwuuse empisa PSU Vincent Ssekate yategezezza nti ebbaluwa eyo yabadde tannaba kugirabako wadde ng’ekitongole kye nakyo ebbaluwa kyagifunyeeko.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Hassan Kasingye yakkirizza nti waliwo aba poliisi abasiwuuka empisa naye bwe babategeera bavunaanibwa.

Ku ky’abaserikale abaawandiikidde Gen Kayihura, Kasingye yategeezezza nti ekyo kituufu nnyo era kye baakoze kye kisinga obulungi, okuwandiikira omuduumizi wa Poliisi n’aweebwa amawulire ku boofiisa be kubanga ajja kubaako ky’akolawo.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo