TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama Fiina atabuse ne Hajji Kiyimba n’afuna omulenzi

Maama Fiina atabuse ne Hajji Kiyimba n’afuna omulenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2017

Maama Fiina atabuse ne Hajji Kiyimba n’afuna omulenzi

Mum1 703x422

Hajji Kiyimba lwe yali asaasira Maama Fiina ng’afiiriddwa bba, Maj. Kiggundu.

OBUTAKKAANYA wakati wa Maama Fiina ne Hajji Kiyimba bwatandikira ku nteekateeka z’okuwoowebwa ezitaatuukirizibwa nga bwe kyali kisoose okutegekebwa.

Mu nteekateeka eyasooka, Sophia Namutebi (Maama Fiina) yalina okuwoowebwa ne Hajji Abdul Kiyimba ow’e Nsangi ng’ekisiibo ky’omwaka guno tekinnatandika.

Omwezi gwa May 2017 gwatuuka era n’ekisiibo ne kitandika nga May 27, ng’okuwoowa kufuuse kwa jjo…jjuuzi….jjo… jjuuzi…! Kigambibwa nti Hajji Kiyimba yatandika okuwa ensonga ze yalowooza nti zimatiza okwongezaayo omukolo gw’okubawoowa; wabula ku Maama Fiina yabulaba ng’obusongasonga era n’awunzika ng’amulaba ng’eyeebuzaabuza.

Maama Fiina yalowooza nti amangu ddala ng’ekisiibo kiwedde, okuwoowa kwali kwakukolebwa mangu era June 25, 2017 bwe lwaziba ne lukya; yatandikirawo okujjukiza Hajji akole ku nsonga ezo nti kyokka Hajji ng’ensonga tezimuggwaako.

Abamu ku mikwano gya Maama Fiina baategeezezza Bukedde nti kino kyamukosa ng’alaba nga Hajji amumalira ebiseera; era ekkwaano lye yali asitudde ne ligenda nga lyesala mpolampola.

Eyali atwala ekyemisana buli lunaku, yatandikanga obutatwala ku nnaku ezimu olwo n’ategeeza Hajji nti emirimu gimukutte! Ekyamaze eggobe mu kibya, y’emmotoka Maama Fiina gye yali awadde Kiyimba wabula mu ngeri etali ya bulijjo Maama Fiina yasindise abantu ne bakima emmotoka eyo.

Hajji Kiyimba bwe yatuukiriddwa okunnyonnyola ku byabaddewo yategeezezza nti ssi mwetegefu kwogera ku nsonga ezo. Wabula abamu ku mikwano gya Kiyimba abaamubuuzizza ku bigenda mu maaso yabategeezezza nti bakyali bulungi ne Maama Fiina era n’agattako nti; n’emmotoka eyogerwako, Maama Fiina yali agyazise Kiyimba wabula n’agivugamu omulundi gumu n’alaba nga ntono ku ye, kwe kusalawo n’agipaakinga era Maama Fiina kwe kugikima. Wabula kigambibwa nti okukima emmotoka kwabaddemu okusika omuguwa okw’amaanyi, okwalaze abaabaddewo nti enkwatagana wakati wa Kiyimba ne Maama Fiina ntono nnyo.

Obutakkaanya bwabwe baabutegeezaako ku bakulu abamu naddala mu NRM wabula kaweefube w’okubatabaganya n’atavaamu bibala. Mu nsonga ezibatabula baagattamu n’eza buli omu okwekengera munne nti alina abalala b’apepeya nabo.

Mikwano gya Maama Fiina baategeezezza nti wakati mu mbeera ey’okusika Kiyimba naye nga tajja, omukazi yasazeewo n’afunayo omulenzi omulala era wiiki eno ne bakkaanya basisinkane e Dubai. Omusajja ono agambibwa okuba nti ali ku kyeyo e Bungereza wabula baali baasisinkanako dda ne Maama Fiina e Dubai.

Ensonda e Dubai zaategeezezza nti wadde Maama Fiina atera okugenda mu kibuga ekyo okusuubula engoye, wabula ku luno ebyamututte byasusse ku kusuubula.

Baasoose kutegeezebwa nti waabaddewo n’enteekateeka y’okuwoowa Maama Fiina n’omulenzi we ono; kyokka mikwano gya Maama Fiina ne bategeeza nti kino kyabadde kikoleddwa okusindika obubaka eri Kiyimba amanye nti azannyisa “Zzaabu” ayaayaanirwa abantu abangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...

Untitled4 220x290

Ow'emyaka 12 bamusse mu bukambwe:...

ABATEMU abatannategeerekeka bakkakkanye ku mwana abadde yaakawummula ne bamusobyako ne bamutta omulambo ne bagusuula...

Funa 220x290

Recho Rey naye engoye zimusiiwa...

OMUYIMBI Recho Rey yeerabidde okwambala engoye n’agenda mu kivvulu ng’ali mu kawale, akaleega n’agoye akalinga...

Untitled4 220x290

Aba Cryptocurrency babbye abantu...

KKAMPUNI ya Cryptocurrency endala efeze abasuubuzi obutitimbe bwa ssente mu Kampala ababadde bagiddukanya ne badduka...