TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa North Korea azimbye empuku okwetegekera Amerika

Owa North Korea azimbye empuku okwetegekera Amerika

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2017

Owa North Korea azimbye empuku okwetegekera Amerika

No1 703x422

Omujaasi wa South Korea ng’ali mu kwegezaamu.

PULEZIDENTI wa North Korea Kim Jong-un amaze okusima empuku mw’agenda okwekweka singa olutalo lubalukawo ng’amawanga gakirimaanyi gamulwanyisa okusanyaawo nukiriya gw’akola. Empuku zino zirimu emikwesese egigguka e China mu bukiikakkono bwa North Korea ate ku ludda olw’obukiikaddyo gigguka ku nnyanja ya Yellow Sea. Bw’afulumira wano, w’asalirawo okutoloka ng’ayita ku mazzi oba okubuukira mu nnyonyi n’abulawo.

Okusima empuku zino n’okuzizimbamu ebifo eby’omulembe gy’ayinza okwekweka ng’embeera etabuse, yakozesa abakugu mu magye.

Amakubo agaziggukako galiko obugazi bwa ffuuti 19, baafuna abasibe okuva mu makomera ag’enjawulo be baakozesa okugatema nga baasa enjazi ehhumu. Asobola okuyingira omukwesese ng’oli mu kibuga ekikulu Pyogyang n’otambula olugendo lwa kkirommita 229 okutuuka e Supung Rodongjangu ku nsalo ya North Korea ne China.

Olugendo olwo basobola okuluvuga mu mmotoka nga babalaamiriza mu makubo ag’enjawulo nga bwe bategese ne kitwala essaawa bbiri. Abakugu we baviiriddeyo okubotola ebyama bino ebiri mu mpuku, ng’abakambwe ba Amerika abayitibwa ‘SWAT’ abali mu kibinja ekyalumba ne kitta Osama bin Laden mu 2011 kiri mu kutendekebwa okulumba okutemula Kim.

Ekibinja kino kisobola okutendeka abakambwe ne balumba nga bakozesa ennyonyi ezeevuga zokka oba okukozesa namukanga eziriko bakkomando abalumba nga bagenze kufa na kuwona. Pulezidenti Kim waakoledde enteekateeka zino zonna ng’amawanga gakirimaanyi gamuli bubi olw’okugenda mu maaso n’okujeemera endagaano z’ekibiina ky’Amawanga Amagatte n’agezesa ebyokulwanyisa nnamuzisa ebitakkirizibwa.

 

AMERIKA EMATIZZA UN Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yasitukiddemu n’amatiza ekibiina ky’Amawanga Amagatte, basse akazito ku Kim awerebwe okutambula mu mawanga ageebweru n’ebyobugagga bye bissibweko envumbo. Wabadde waakayitawo ennaku nnya nga North Korea egezesezza ebyokulwanyisa nnamuzisa omulundi ogwomukaaga, Japan n’erangirira nti, North Korea kati ya bulabe eri ensi yonna.

Katikkiro wa Japan Shinzo Abe yabitegeezezza abakulembeze b’amawanga wabula yabadde yaakabimalayo, Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin n’ategeeza nti okusinziira ku ky’amanyi kati kizibu nnyo okutiisatiisa North Korea. Aiden Foster-Carter mukugu mu kunoonyereza ku bikwata ku Korea mu Leeds University, yategeezezza nti okusiziira ku bye bazudde Kim amaze okwetegekera embeera yonna.

Bwe kibeera ng’embeera y’olutalo ebaluseewo ajja kwemulula akke mu mpuku ze kubanga yamala dda okuziteekamu buli ky’ayagala okukozesa mu bulamu. Yayongeddeko nti kino yakigezaako dda n’abulawo emirundi ebiri abantu ne basigala nga beebuuza gy’alaze kubanga tebaamulabako ng’afuluma eggwanga. North Korea tekomye ku kusimira Pulezidenti yekka empuku wabula n’enkambi z’amagye gaayo nnyingi baazizimbira mu ttaka.

Ebifo ebimu otuukawo n’osanga kyerereezi naye nga mu ttaka nkambi y’amagye. Okusinziira ku mawulire agaweebwa abakessi okuva ku batoloseeyo n’ebifaananyi ebikubibwa kamera enkessi eza ‘satellite’, omukugu eyakulirako ekibinja kya Amerika ekikola ennumba ez’omutawaanga, Admiral Lord, yagambye nti okulumba Kim okumutemula kijja kubeera kizibu nnyo bw’ogeraageranya n’engeri gye battamu Bin laden.

Yagambye nti emikwesese gino gibaddewo ebbanga ddene n’egimu gisala ensalo okuyingira e South Korea nga gyonna baagisima ne bagizimba ng’abakessi tebamanyi.

Agamu ku makolero g’ebyokulwanyisa nnamuzisa North Korea egazimba wakati mu nsozi n’ebuzaabuza nti ezimbye makolero agakola ennyonyi.

Kino baakizudde ku kkolero eririnaanye Panghyon air base eriri mu lusozi munda. Ekyeraliikirizza abakugu ne balabula Amerika okulindako okulumba okukuba bagamba nti oyinza okulaba ekkolero ku ngulu n’olikuba n’olowooza nti osaanyizzaawo nnukiriya naye ng’ekitundu ekisinga okubeera ekinene ku kkolero eryo kiri mu ttaka kisigadde kikola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza