TOP

Alumirizza poliisi okumwasa eriiso

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2017

Alumirizza poliisi okumwasa eriiso

Bo1 703x422

Tibesigwa ng’aliko bya nnyonnyola Ssekate.

POLIISI ekutte abaserikale baayo basatu abagambibwa nti beekobaana ne ‘Crime Preventer’ ne bakuba n’okutulugunya omusajja ne bamwasa eriiso era abasawo mu ddwaaliro ne baliggyamu.

Omusajja gwe baakuba alumiriza nti baamuggyaamu eriiso n’okumusaba ssente okumuyimbula mu kaduukulu.

Abaserikale abaakwatiddwa ye, D/ Sgt. Beatrice Anena, Cpl. Alex Opito ne Nelson Natumanya abakolera ku poliisi y’e Kirimanyaga e Zzana nga beekobaana ne ‘Crime Preveter Joseph Kateregga. Wilson Tibesigwa ow’e Naziba -Lubowa ku luguudo lw’e Ntebe gwe baakuba ne bamuggyamu eriiso.

Tibesigwa yagambye nti nga August 25, 2017 bwe yali ali mu nnimiro y’ebikajjo abaserikale baamukwata ne bamukuba n’okumutulugunya. “Nali ndi mu nnimiro yange abasajja ne bajja.

Nnali manyi nti babbi kyokka baatandikirawo okunkuba n’oluvannyuma ne bantwala ku poliisi y’e Kirimanyaga era olwantusaayo ne batandika okuntulugunya nga tebalina kye bannyega era okunyimbula namala kubawa 100,000/- nga ndaba obulamu bugenda”. Omwogezi w’ekitongole kya Professional Standards Unit (PSU), Vincent Ssekate yagambye nti bwe baafunye okwemulugunya okuva ewa Tibesigwa ne bakwata abaserikale be yabadde yeemulugunyako ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okusobola okuzuula ekituufu ekyaliwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...

Abasumba 220x290

Abasumba bye baatudde ne basalawo...

ABASUMBA abakulira abalokole mu Uganda batudde ne bateesa ku nsonga za Paasita Aloysius Bugingo. Olukiiko lwakubiriziddwa...

Dpp 220x290

Omuwaabi wa Gavt. awadde ebiragiro...

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu Mike Chibita asiimye okunoonyereza okwakoleddwa ttiimu ya Vision Group omuli ne Bukedde...

Teddybugingoaloysius 220x290

Enkambi ya Teddy evuddeyo ku by'obugagga...

ENKAMBI ya mukyala wa Bugingo ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo etangaazizza nti, Teddy takkaanyangako kugabana byabugagga...