TOP

Bagobezza kitaabwe omugole

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2017

Bagobezza kitaabwe omugole

Li1 703x422

Kirya

TAATA abaana gwe baatabukidde ne bamugobya omugole, alemeddeko ng’agamba nti tagenda kuleka mukazi we. Waasooseewo lutalo abaana bwe baatabukidde kitaabwe ne bamugobya omugole gw’abadde yaakawasa nga bwe bamulangira nti ayitirizza okuwasaawasa.

Omu ku baana yakubye kitaawe ebikonde n’amukuba ekigwo n’atandika okukaaba kyokka nga bw’agamba nti tajja kukkiriza kuleeta mukazi mulala waka kuba ayitirizza okuwasa buli kiseera. Baabadde Nakaseeta mu disitulikiti y’e Kayunga. Kirya Moses Ddenge, abaana be baamutabukidde nga bagamba nti abakazi abeera nabo emyezi esatu n’abagoba n’aleeta abalala nga bagamba nti kyonoonye amaka gaabwe n’abantu babayisaamu amaaso olw’enneeyisa ya kitaabwe.

Kirya olwasituse wansi n’akwata omuggo nga bw’awera nga bw’atajja kuleka mugole we n’agamba nti amaka gage era y’alina okusalawo engeri gye gatambulamu so ssi baana be yazaala.

Abaana okuli Richard Ssemambo, Geofrey Ssesanga ne Harriet Kayaga be baatabukidde kitaabwe. Baafulumizza engoye z’omugole ng’obwedda lwe bassa ebweru nga kitaabwe lw’ayingiza.

Ssentebe wa LC, Bernard Lubega n’owaamawulire Kagenda Awali be baataasizza kitaawe era omugole n’akwatamu ebibye n’agenda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.