TOP
  • Home
  • Amawulire
  • MR Economy atuukirizza obweyamo bwe ku Uganda Cranes

MR Economy atuukirizza obweyamo bwe ku Uganda Cranes

By Martin Ndijjo

Added 9th September 2017

MR Economy atuukirizza obweyamo bwe ku Uganda Cranes

Ec1 703x422

Mr Economy ng'akwasa kaputeeni wa Uganda Cranes ensimbi obukadde 7 ebbiri za Onyango ate 5 za Emma Okwi

OMUGAGGA omuto Abraham Luzzi amanyiddwa nga Mr. Economy owa Ssebo International Group Ltd awadde abazannyi ba Uganda Cranes ssente ze yasuubiza nga bagenda okuzannya ttiimu ya  Misiri mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka za World Cup ne yeeyama okwongera okubawagira mu mbeera y’emu.

Luzzi yawaddeyo ssente obukadde 7 ze yakwasizza Denis Onyango omukwasi wa ggoolo era kapiteni wa ttiimu eyamusisinkanye eggulo akawungeezi ku offiisi ye e Kabalagala.  

Ku ssente zino kuliko obukadde 5 eza Emmanuel Okwi olwa ggoolo gye yateeba e Namboole ate obukadde 2 bwa Onyango olw’okutaasa ennyanda ez’omutawaana za mirundi ebiri kuno yabagattiddeko buli omu ebbaluwa ey’enjawulo ey'okubasiima.

Nga tebanaba kuzannya mupiira gw’e Namboole ogwaliwo ku Lwakuna lwa wiiki ewedde, mu mbeera ey’okuzamu abazannyi amaanyi Luzzi yasuubiza Cranes obukadde 5 buli ggoolo gye bateeba e Namboole ate obukadde 10 buli ggoolo gye bateeba mu Misiri.  

Kuno yagattako akakadde kamu eri buli muzannyi anataasa (save) omupiira ogw’omutawaana ogukubiddwa nga gugenda okunywa mu ggoolo ya Cranes era kino kyawalirizza Luzzi okugenda e Misiri okubawo nga Cranes ezannya n’okulaba abazannyi bye bakola ku kisaawe.

Luzzi era nga ye ssentebe w’ekibiina kya African Business Council mu bubaka obulala bwe yattise Onyango eri abazannyi ba Cranes yabakubiriza okwetanira eby’obulimu n’obulunzi nti kye kimu ku bintu ebiyinza okubagaggawaza n’abbo abawuumudde omupiira oba abafunye obuvune bye bayinza okukola ne basigala nga bafuna ssente era yewaddeyo okuyamba kw’abbo abagala okutandika okulima n’okulunda.

Onyango mukwogera yasiimye  Luzzi olw’omutima omugabi n’okwagala ttiimu y’e ggwanga era yakubirizza n’abantu abalala okuvaayo nga Luzzi bwakoze bazzeemu abazannyi amaanyi era yeeyamye ku lwa banne nti bagenda kulwana masajja okulaba  nga bagoba emipiira gyabwe egisigadde mu kibinja batangaeze emikisa gyawe okuyitamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo