TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Nabbi’ akozesa ekibajje okubba abantu bamukutte

‘Nabbi’ akozesa ekibajje okubba abantu bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

‘Nabbi’ akozesa ekibajje okubba abantu bamukutte

Ye1 703x422

Musinguzi bw’afaanana

POLIISI y’e Wakiso ekutte Nabbi omufere e Nansana ng’atunda ettaka n’emmotoka ng’abadde afera abantu nga yeeyita ‘Nabbi John Agaba Obugagga’. Esau Musinguzi omutuuze w’e Naluvule mu Wakiso ye dayirekita wa kkampuni etunda ettaka eya M.E. Genuine Properties esangibwa e Nansana ku Masitoowa.

Yakwatiddwa n’aggalirwa ku poliisi y’ekitebe kya disitulikiti y’e Wakiso ng’okunoonyereza ku musango ogumuvunaanibwa bwe kugenda mu maaso.

Okukwatibwa kwe kyaddiridde nansi Alice Bigaruraho omutuuze w’e Kakiri okumuloopa ku poliisi nga bwe yamunyagako ssente 440,000/- ng’amusuubizza okumuwa obugagga.

Bigaruraho agamba nti, Esau Musinguzi yasooka kumuwulira mu August nga yeeranga ku leediyo ya FM esangibwa e Nabweru ng’ayita abantu abaagala obugagga okumutuukirira nga bamukubira ku ssimu ze naye Bigaruraho kye yakola.

Agamba nti yakubira Musinguzi n’amulagira agende e Nansana bw’atuukayo amukubire essimu. Bwe yatuuka e Nansana n’amulagira alinnye mmotoka ezidda e Wakiso aviiremu e Naluvule atuuke w’akolera. “Bwe natuuka mu kikomera Nabbi John w’akolera nasangayo amayumba amalungi agapangisibwa kyokka nga ye enju gy’akoleramu yeetongodde ku ndala ate nga mu luggya lwayo mulimu emmotoka ez’ebbeeyi okuli Mark X , UAZ 017C, Lexus UAY 152F ne Land Cruiser TX ekyankakasa nti alabika Nabbi ddala agaba obugagga”, Bigaruraho bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti bwe yayingira munda yasanga Musinguzi atudde ku mukeeka n’amulagira okusooka okusasula 90,000/- okutandika okumukolako.

Mu ddiiro w’akolera yasangawo ekibajje ky’akasajja akakadde nga kakutte effumu n’engabo n’akabookisi akalimu ekkanzu gy’akuwa n’oyambalamu okufuna emikisa bw’oba omaze okumuwa ensimbi z’aba akusalidde.

Bigaruraho agamba nti, Musinguzi yamulagira okwongera okusasula 350,000/- ku lunaku lwe yamuwa okuddayo omusambwa gw’ekibajje gusobole okumuwa obugagga. “Bwe naddayo ne nsasula ssente 350,000/- n’annyambaza ekkanzu n’andaga bookisi eyali ejjudde ssente okuli obupapula obwa 50,000/- ne 20,000/- n’antegeeza nti omusambwa gumpadde obukadde bw’ensimbi 100 ne nsanyuka nnyo nga bwe hhamba nti mponye obwavu obunnumidde ebbanga”, Bigaruraho bwe yategeezezza.

Wabula bwe yatuuka okwagala okutwala ssente zino Musinguzi n’amutegeeza nti bw’aba ayagala okutwala ssente alina okusooka okumwongera ssente endala 300,000/- ekintu ekyamutabudde n’akizuula nti bamubbye.

Yaddukidde ku poliisi y’e Wakiso n’aloopa Musinguzi era ku Lwokutaano abaserikale ba poliisi abaabadde mu ngoye ezaabulijjo baazinze ekikomera Musinguzi mw’akolera era bwe yategedde ne yeesibira mu nnyumba okumala essaawa eziwerako okutuusa mukwano gwe eyategeerekeseeko erya Sadaati lwe yazze n’alyoka aggulawo ne yeefubitika mu emu ku mmotoka ekika kya Mark X avuge abaserikale ne bamutegeeza nti omukwate tayinza kubawa biragiro na kubavuga.

Poliisi ng’eyambibwako ssentebe w’ekyalo Naluvule Mulindwa baalagidde Musinguzi okuggulawo enju ye bagyaze era baggyeemu ekibajje ky’omusajja omuzeeyi akutte effumu n’engabo, ensimbi enkalu 12,585,000/-, ekkanzu gy’abadde ayambaza abantu b’akolako, ddoola enfu ne satifikeeti ezimwogerako ng’omusawo w’ekinnansi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu

Jogo 220x290

Engeri Valencia gye yakomezza ejjoogo...

EJJOOGO Barcelona ly'ebadde eyolesa mu mpaka za Copa del Rey, Valencia yalimazeewo bwe yagikubye ggoolo 2-1 ku...

Tip3 220x290

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri...

Bajjukidde lwe baalumba Olubiri ne basabira Obwakabaka