TOP

Omugagga Kakumba ali ku gwa kufera kawumbi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Omugagga Kakumba ali ku gwa kufera kawumbi

Na1 703x422

Omugagga Kakumba

OMUGAGGA wa Kwagalana Francis Kakumba bamututte mu kkooti ng’entabwe eva ku kufera omuntu akawumbi k’ensimbi kalamba ng’ayita mu ddiiru y’ettaka.

Ettaka lino liwezaako yiika 12 nga lisangibwa Butabika okumpi ne Luzira mu Kampala. Omusuubuzi eyafereddwa ye Muhamood Burwani.

OMUSUUBUZI ANNYONNYOLA Muhamood Burwani agamba nti omwaka oguwedde, Kakumba yamutuukirira n’amutegeeza nga bw’alina ettaka ly’atunda eriweza yiika 12 mu bitundu by’e Butabika. Kakumba yaleeta ekyapa ekyalabika nti kituufu era ddiiru yagenda mu maaso n’okusonjolwa ku kawumbi k’ensimbi kamu n’obukadde 200. Kyokka oluvannyuma, Muhamood yagenda okwetegereza, ng’ettaka eryogerwako kwe kuli eddwaaliro ly’e Butabika era wano we yakitegeerera nti bamufeze.

 

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vicent Ssekate yagambye nti omugagga Kakumba yakola ebyapa bisatu ebya ‘Free Hold’ ku ttaka ly’eddwaaliro ly’e Butabika n’abiguza Burwani ku ssente akawumbi kamu n’obukadde 200 nga yasooka n’afuna obukadde 980 ezaateekebwa obutereevu ku akawunti mu Crane Bank.

Ssekate yagambye nti, Kakumba yagguddwaako emisango 5 okuli; okufuna ssente mu lukujjukujju, okujingirira ebyapa, okufuna obuyinza ku ttaka ng’akozesa olukujjukujju n’emirala nga ku Lwokutaano omusango guno gwatandise okuwulirwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi Norah Kayinza.

Mu kusooka, poliisi yayita Kakumba e Kibuli okunnyonnyola bwe yagendayo yategeeza nti ensimbi zino azimanyi nti, kyokka yali yaziwola Muhamood era noolwekyo yali amusasula bbanja.

Poliisi yalagira Kakumba aleete endagaano kwe yawolera Muhamood ensimbi zino n’ebiwandiiko ebirala byonna kyokka Kakumba bwe yagenda teyadda. Kino kyawalirizza Mohamood okutuukirira bannamateeka ba Katende Ssempebwa & Co. Advocates n’abakwasa ensonga ze okulaba ng’anunula ssente ze.

Mu geri y’emu Betty Kisha okuva mu ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti yawandiikira omuwaabi w’emisango ku kkooti ya City Hall mu August ng’amutegeeza ng’omusango guno oguli ku fayiro CID HQTS E/267/ 2016 bwe gwalina okuwulirwa mu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...