TOP

Mukomye okweraguza - Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Mukomye okweraguza - Poliisi

Nup1 703x422

Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo Abdu Majidu Tulibagenyi ng’ayogera eri abatuuze.

“MULEKERE awo okweraguza. Buli kimu bwe mukirowooleza eddogo, obutebenkevu mu kitundu temujja kubufuna.” Bwatyo omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo mu Greater Masaka, Abdu Majidu Tulibagenyi ng’ali wamu n’omumyuka we Hajji Yahaya Lyagoba bwe yalabudde abatuuze b’e Kaliisizo mu ggombolola ya Lwengo Rural mu disitulikiti ey’e Lwengo.

Yagenzeeyo okukkakkanya abatuuze abaludde nga bagugulana n’omutuuze gwe balumiriza obulogo. Kino kiddiridde omutuuze Rose Nabisere 60, okwekubira enduulu ku poliisi y’e Lwengo ng’abantu bwe baakoonye ennyumba ye n’okugiteekera omuliro nga bamukonjera okuleeta ebyokoola.

Rose Nabisere zino aziyise mpalana z’abatuuze abakwatiddwa ensaalwa nga balaba abayitako.Aliko n’omusajja gwe yalumirizza okumusaba beesanyuseemu mu kaboozi k’ekikulu kyokka bwe yagaana n’amulabula okumukola ky’atalyerabira!

Abatuuze nga bali wamu ne ssentebe w’ekyalo kino Fred Kalungi balumiriza Nabisere nti yaleeta amajiini ku kyalo ne gamulemerera kwe kusalawo geeyiggire nga gatugumbula abantu.

Abantu musanvu be baakafa ku kyalo ne balumiriza Nabisere okubatta. JANE NAKITTO ATADDE AKAKA Ono y’omu ku bantu Nabisere b’alumiriza okumuwalana olw’okumuyitako. Yagambye nti Nabisere by’amusibako nti amuwalana bikyamu.

Kwe kukikkaatiriza nti, “Abalwadde ebintu bwe bibalinnya ku mitwe, nga byogera nti, “Roza Nabisere ye yatuleeta tubatte tubamalewo.” Nakitto agambye nti obudde bw’okuwalana tabulina okuggyako okuwalana amwagaliza entaana. Poliisi kati enoonya abaayonoonye enju ya Nabisere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...